SSAALONGO Francis Bbanda yasoose mu bbaala gye bamuweeredde olugambo nti abalongo mukaziwe be yazaala si babe, wabula ba musajja mulala.
AMASASI ne tiiyaggaasi byakubiddwa mu lukung’ana lwa Dr. Kiiza Besigye ku Kaleerwe okugumbulula abawagizi be abaabadde bakasukira abapoliisi amayinja.
OMUSANGO gw'obuttemu oguvunaanibwa George Agaba n'omukuumi we Santos Makmot gwongezedwayo okutuusa nga 7 March omwaka guno.
MEEYA w’e Mukono, Johnson Muyanja Ssenyonga ataddewo obukwakkulizo bw’agamba nti bulina okumala okutuukirizibwa entambula ya bbaasi eryoke ekkirizibwe okugenda mu maaso mu kitundu kye.
CAROLINE Nakayiza Kyomuhendo abeng’anda ze baakomye okumulabako ku makya g’Olwokubiri, baagenze okuddamu okumulabako olunaku lw’eggulo ku makya nga mufu.
Laavu baze gy’ampa endeese aka