Munnansi wa Jamaica eyatutte omusango gw'obubbi poliisi emwefuulidde n'emusiba

Joan Nakate
Journalist @Bukedde
Apr 19, 2024

MUNNANSI wa Jamaica agudde ku kyokya, bw'addukidde ku poliisi e Mukono n’aloopa omusango gw’okumubbako ssente ne ttiketi y’ennyonyi mu wooteeri mwe yabadde agenze okusula ate poliisi n’emwefuulira n’emuggalira.

Audrey Williams (29) enzaalwa y’e Jamaica ng’agamba nti abeera Canada ye yeekubidde enduulu ng’ayagala okuyambibwa olw’abasirikale ku poliisi e Mukono okumwefuulira ne batamuyamba bwe yagenzeeeyo nga bamubbyeko ensimbi ezisoba mu mitwalo 90 ne ttiketi y’ennyonyi eyabadde ey’okumuzza e Canada ng’eno ebalirirwamu obukadde bw’ensimbi za Uganda 7.

Williams agamba nti yatuuka ku Star Gardens e Mukono gy’abadde amaze emyaka musanvu nga buli lw’ajja mu Uganda gy’asula nga n’abamu ku bakozi mu kifo kino bamumanyi wabula ku Mmande ku makya, yafunye obuzibu abakozi mu kifo kino bwe baamulabirizza ne bamubba ensimbi ezaabadde mu kasawo k’omu ngalo.

“Nnasabye ennamba y’essimu ya maneja w’ekifo ne mmutegeeza ebyabaddewo. Mu bbanga ttono, Maria Kafeero ng’ono bantegeezezza nti ye mukyala wa nnannyini kifo yatuuse n’akazakkaza abakozi be wabula nga buli omu asonga mu munne olunwe. Poliisi yatuuse n’ekwatako babiri be nnategeddeko nga Resty ne Isma. Bano oluvannyuma baabatadde,” bw'anyonnyodde.

Williams agamba nti yasabye Maria batunule mu kkamera n'agaana.

“Oluvannyuma abasirikale baakitegedde mbu ekifo kya Star Gardens kya mukama waabwe mbu kkamisona wa poliisi Moses Kafeero ne batandika okuncangacanga n’okutuusa olwaleero nga sinnafuna kuyambibwa. Baagasseeko okuntiisatiisa nga bwe bajja n’okunkuba amasasi ssinga siva ku nsonga zino,” bw'annyonnyodde.

Williams yeekubidde enduulu eri ab’amawulire abaamutuusizza ewa DPC w’e Mukono, Edrisa Kyeyune atudde mu nsonga zino n’alagira omusirikale eyabadde akoze ku ffayiro ye okugenda naye batunule mu bifaananyi naye nga kino mbu bwe baatuseeyo agamba nti ye baamugaanye okulaba ebyabadde mu bifaananyi.

Abaserikale bategeezezza DPC ng'akatambi bwe baakalabye wabula nga kalaze era bwe yabadde ng'agezaako okwemoola n’abamu ku bakozi abakyala abakola wano ne basalawo okumuggulako omusango era ne bamuggalira.

Bano eby’omusango gw’okubbibwa kwa Williams we baabikomezza.

Ab’amawulire baategeezezza DPC ebyabadde mu katambi n’alagira omukyala bamute olw'okubulwa obukakafu obumulumika ku bye babadde bamuteebereza era nga n'akatambi kaalaze nga ddala bwe yabbiddwa omu ku bakozi mu kifo kino.

Mu kwogerako n’omwogezi wa poliisi atwala ebitundu bya Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango ategeezezza nti bwe yeebuuzizza ku batwala poliisi y’e Mukono baamugambye nti Williams yateereddwa.

Eby’embi, eby’omusango gwe ogw’okumubbako ssente tebalina kye baamutegeezezzaako. Williams anyonyodde nga bw’atalina kya kuzzaako kuba ttiketi gye baamubbyeko n’ensimbi bye bibadde bigenda okumuzzaayo.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});