TOP

‘Bukedde anfunidde ekijuujuulu’

By Musasi wa Bukedde

Added 21st February 2017

Dawiira Namwanja 31 omutuuze w'e Kyazanga-Masaka akola ogw'okukanika, yayanjuddwa mwana munne Nusifa Nabuufu mu maka ga kitaawe, Zubail Ssebagala e Mpala-Ntebe gye buvuddeko.

Nusifah1 703x422

Namwanja ng’aloola n’ekyebbeeyi kye.

EYALABIKIRA mu Banoonya ba Bukedde ayanjuddwa n’akola n'embaga ennyuvu.

Dawiira Namwanja 31 omutuuze w'e Kyazanga-Masaka akola ogw'okukanika, yayanjuddwa mwana munne Nusifa Nabuufu mu maka ga kitaawe, Zubail Ssebagala e Mpala-Ntebe gye buvuddeko.

Omuko yatuukidde mu kitiibwa ng'awerekeddwaako abeηηanda n'abeemikwano abaavudde e Kyazanga.

 ano ngabagole basala keeki Wano ng'abagole basala keeki

 

Olwamaze okumuyingiza mu nnyumba okumuzaala ekyaddiridde kwabadde kumuwoowa.

Omukolo guno gwakuliddwa Abdarah Ssali Imaamu w'omuzigiti gwa Mpala- Kitala.

Abagole baafulumiziddwa mu nnyumba wakati mu nduulu z'oluleekereeke okuva mu bantu abaabadde babawaana.

Bino olwawedde, basaze keeki gye baagabudde abagenyi baabwe. Omukolo gwetabiddwaako abantu ab'enjawulo omwabadde Ronald Kalema Basamulekkebe, Meeya wa Katabi Town kanso ne Albert Mugambwa.

Abazinyi baasanyusizza abagenyi. Dawiira Namwanja mutabani wa Hajji Twaha Ssemuwemba ow’e Kyazanga- Masaka. Okulabikira mu banoonya agamba nti yalina ekizibu ky'okufuna omuntu omutuufu olw'okuba yalina ekizibu ky'obutayogera bulungi nga yeetaaga omukazi bwe basobola okukwatagana.

'Ndi musanyufu nnyo okuba nti Bukedde asobodde okunfunira omukazi alina bye nneetaaga kuba tekimberedde kyangu.

 bamu ku baasanyusizza abagenyi Abamu ku baasanyusizza abagenyi.

 

Okuva lwe nalabikira ku mu Banoonya nafuna essimu nnyingi ddala ezitamanyiddwa muwendo naye mu bangi ne nnondamu Nusifah kuba tulina bingi bye tufaanaganya ate muwala mubalagavu nga bw’omulaba”, bwatyo bwe yategeezezza.

Ate Nusifah Nabuufu 20 agamba nti omusajja yamusiimako ndabika ye n'embeera ze n’amusuubiza okumulaga omukwano n’okumuzaalira abalongo

 onald alema asamulekkere eeya we atabi ataddeko alubindi lbert ugambwa ne ubairi sebagala taata wa usifah abuufu nga beegeyaamu ku mukolo Ronald Kalema Basamulekkere Meeya w’e Katabi (ataddeko Galubindi), Albert Mugambwa ne Zubairi Ssebagala taata wa Nusifah Nabuufu nga beegeyaamu ku mukolo.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ge1 220x290

Abakima amazzi ku ddaamu ya Ssekabaka...

Abakima amazzi ku ddaamu ya Ssekabaka e Mawogola bibasobedde

Ha1 220x290

Omubaka wa Pulezidenti alabudde...

Omubaka wa Pulezidenti e Masaka alabudde abakola enguudo e Masaka

Hi1 220x290

Abatuuze bavudde mu mbeera ne balumba...

Abatuuze bavudde mu mbeera ne balumba Poliisi Y'e Mpigi

Kcca 220x290

KCCA ekendeezezza ku masannyalaze...

KCCA eyongedde okubunyisa ebitaala by'amaanyi g'enjuba ku nguudo n'eva ku bibadde bikozesa amasannyalaze ga UMEME...

Kiv1 220x290

Embwa zisangiddwa nga zirwanira...

Embwa zisangiddwa nga zirwanira omulambo e Buddo