TOP

Pass PLE acamudde abayizi n’abasomesa

By Musasi Wa

Added 13th March 2012

EBIBUUZO BYA Pass PLE ebyatandise okufuluma eggulo bicamudde abasomesa n’abayizi abali mu P.7 ne bawera okulaba nga tebasubwa buli katabo akafuluma.

2012 3largeimg212 mar 2012 210616683 703x422

Bya MUSASI WAFFE

EBIBUUZO BYA Pass PLE ebyatandise okufuluma eggulo bicamudde abasomesa n’abayizi abali mu P.7 ne bawera okulaba nga tebasubwa buli katabo akafuluma.

Akulira essomero lya  St. Anthony G.J Kyampisi mu disitulikiti y’e Kayunga, Charles Kibirige yagambye nti Pass PLE abayizi bwe bamunyikirira abayamba  okuyita obulungi ebigezo bya PLE eby’akamalirizo.

“Ekisookera ddala abayizi bw’obawa akatabo ako kibayamba okumanyiira ebibuuzo olwo ne baba nga tebakyatya bibuuzo byonna,” Kibirige bwe yategeezezza.

Yannyonnyodde nti ekirungi ku katabo kano basooka ne bafulumya ebibuuzo n’oluvannyuma ne ku Mmande eddako ne bafulumya eby’okuddamu ne kiyamba omuyizi okulaba ekibuuzo bwe bakitegeka n’engeri y’okukiddamu era nga kino kyayamba nnyo abaana be yatuuza omwaka oguwedde kubanga be baasinga mu disitulikiti yonna okukola obulungi n’awa ab’amasomero amalala amagezi nabo bakettanire.

Omuyizi Joyce Nanziri owa P.7 yagambye nti agenda kwekwata akatabo kano buli Mmande asobole okuyitira waggulu P.7 nga be yalabye abaafulumidde mu mawulire nga balaga nti ke baakozesa omwaka oguwedde okuyitira waggulu.

Omukung’aanya wa Bukedde, Ssaalongo Kaggwa yagambye nti ebyayogeddwa abayizi abaamaze P.7 omwaka oguwedde nti Pass PLE yabayamba nnyo okuyita ebibuuzo kye kibawalirizza okutandikirawo amangu okufulumya ebibuuzo bino.

Abakulira amasomero abandyagadde okwekwata kkopi zaabwe abawa amagezi okuweereza obubaka ku subscription@newvision.co.ug oba okukuba essimu 0772439786 bafune ebisingawo.

Pass PLE acamudde abayizi n’abasomesa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Roseakolokullu703422 220x290

Ebbanja lya buwumbi 8 lye livuddeko...

Minisita w’ensonga z’omunda, Rose Akol Akullu yagambye nti kkampani ya De La Rue okuva e Bungereza ekola paasipooti...

Sula1 220x290

Omusomesa wa Pick Hill bamukutte...

Hood Kisenene 34, omumyuka w’akulira Pick Hill Day and Boarding P/S e Kawempe Mbogo, yakwatiddwa olw’okusobya ku...

No2 220x290

Mike Mutebi ali ku kigezo

Mike Mutebi ali ku kigezo

Nsi2 220x290

Villa egenze mu nkambi

Nsimbe tatidde Ttiimu ya Ennyimba

Kuba1 220x290

Ssessanga bamukutte lwa kufera...

Ssessanga, agambibwa nti, asuubula n’okutunda ettaka n’amayumba mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo ye yakwatiddwa...