TOP

Famire bagiwadde obutwa

By Musasi Wa

Added 17th June 2013

FAMIRE y’abantu bataano bagiteeredde obutwa mu nva ne batwalibwa e Mulago nga bataawa.

2013 6largeimg217 jun 2013 084908757 703x422



 

Bya DEBORAH

FAMIRE y’abantu bataano bagiteeredde obutwa mu nva ne batwalibwa e Mulago nga bataawa.

Abalidde obutwa kuliko taata Mohammed Kigongo 36, mukyala we Shanita Nakyazze 22, n’abaana baabwe Rahim Musoke 9, Sumahiya Namagembe 7, ne Joweria Nannyanzi 7.

Ambyulensi y’e Kawempe yabaggye mu nnyumba gye bapangisa mu Dungu Zooni e Kawempe nga basesema n’okuddukana era ng’ennyumba yonna ecuuma butwa.

Nakyazze agamba nti yalese enva z’empuuta ku kyoto nga zitokota n’agenda ku dduuka okubaako by’agula era kiteeberezebwa okuba nti wano omutemu we yasuuliddemu obutwa.

“Bwe nakomyewo buli kimu kyabadde nga bwe nakirese kwe kuyingiza enva ne ngabula abaawaka era olwamaze
ne twebaka.

Ku ssaawa nga 7:00 ez’ekiro omwana Joweria yampise ng’asesema nange we natandikidde.”

Mohammed agamba nti yagenze okuwulira nga naye olubuto lumuluma n’atandika okusesema nga bw’afuluma mu kaabuyonjo ekyaddiridde abaana bonna.

Zagenze okuwera ssaawa 9:00 ez’ekiro nga tutaawa ne nkubira muganda waffe Rose Nassuuna eyayise nannyini nnyumba n’aleeta Ambyulensi eyatuleese e Mulago.

Twategeezeddwa nti twabadde tulidde butwa era baabutunuunyeemu ne tuba bulungi”.

Famire bagiwadde obutwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Funa 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA YATUUSE DDA...

Ofiisa wa poliisi aleese obujulizi ku batemu abasse Andrew Felix Kaweesi.

Waiswa1 220x290

Musaayimuto awonyezza Uganda okuswalira...

MUSAAYIMUTO Moses Waiswa awonyezza Uganda okuswala bw'agitebedde Uganda ggoolo ey’ekyenkanyi n'eremagana ne Kenya...

Ke1 220x290

Ke nfunye ggwe siriddamu kutagala-Chris...

Ke nfunye ggwe siriddamu kutagala-Chris Evans

Bu1 220x290

Olutalo lubaluseewo mu Kadongo...

Olutalo lubaluseewo mu Kadongo kamu nga bategeka okujaguza emyaka 60 ku Freedom City;Ssempijja ayambalidde DJ kikoofiira...

Stand 220x290

Omukazi yaggyeeyo ekiso anzite...

MOSES Tulyatemba 26, omusuubuzi, ng’abeera Nabulagala asabye ofiisi ekola ku nsonga z’amaka emuyambe emutaawuluze...