TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kaweesi abadde mukozi nnyo atazzikawo - Kayihura

Kaweesi abadde mukozi nnyo atazzikawo - Kayihura

By Musasi wa Bukedde

Added 20th March 2017

Kayihira agambye nti Poliisi esaaliddwa nnyo Kaweesi kubanga abadde musajja mukozi nnyo gwe bagenda okulwawo okuzzaawo.

Wanda1 703x422

Kaweesi ng'awulira mukama we, Gen. Kale Kayihura by'amugamba gye buvuddeko

Kayihira agambye nti Poliisi esaaliddwa nnyo Kaweesi kubanga abadde musajja mukozi nnyo gwe bagenda okulwawo okuzzaawo.

“ Bannange bonna mu Poliisi bakkiriziganya nange nti Kaweesi abadde wa njawulo mu buweereza bwe.

Nze mbadde mpewuseeko nnyo ku mirimu kubanga abadde akola ebintu bingi bye nnandikoze”, Kayihura bwe yagambye.

Yagasseeko nti ebbanga libadde liweze nga yenna takyamenyeka na mirimu ng’obuvunaanyizibwa abuwa Andrew Kaweesi ate n’abutuukiriza bulungi wabula abatemu bakyusizza Pulaani ze.

Okusabira omugenzi kwawedde ku ssaawa nga ziyise mu 11:00 ez’olweggulo, omulambo ne gutwalibwa mu maka ge e Kulambiro mu kwerinda okwamaanyi , Pulezidenti gye yeegasse ku bakungubazi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

No Matching Document

Emboozi endala

Yaga 220x290

Omusajja ayagala kunzigyako mwana...

NZE Uwineza Adiah nnina emyaka 26 nga mbeera Lubaga. Okuva lwe nafuna olubuto, baze yagaana okuddamu okundabirira...

Ssenga1 220x290

Nina bulwadde ki?

NINA emyaka 25 naye seegattangako na mukazi yenna kuba buli lwe ngezaako okwegatta nkoma ku mulyango ne njiwa....

Leka 220x290

Owapoliisi yesse lwa bwavu

OMUSERIKALE wa poliisi eyawummula, Robert Mugume asangiddwa nga yeetuze.

Kadi2 220x290

Kadaga awabudde ku bbula ly'emirimu...

SIPIIKA Rebecca Kadaga ategeezezza nti ebbula ly’emirimu mu bavubuka ky’ekimu ku bisinze bikwatagana butereevu...

Dhyljrxcaaw1zm 220x290

Museveni asisinkanye minisita wa...

MINISITA wa German ow’ensonga z’ebweru asisinkanye Pulezidenti Museveni n’asaba amawanga g’ebweru okuyamba Uganda...