TOP

Poliisi etandise omuyiggo gw’abasse Kaweesi

By Musasi wa Bukedde

Added 20th March 2017

POLIISI efulumizza ebifaananyi by’abasajja babiri abateeberezebwa okutta Andrew Felix Kaweesi bwe yabadde ava mu makaage e Kkulambiro ku Lwokutaano.

Pala 703x422

Ebifaananyi by’abatemu ebisiige abanoonyezebwa.

Kaweesi yabadde n’omukuumi we ne ddereeva mu mmotoka era bonna baafudde omulundi gumu nga n’emirambo gyabwe gyasogonyoddwasogonyoddwa amasasi agaabadde gayiika ng’enkuba ku mmotoka Ekika kya Toyota VX eya bbululu eyamuweebwa poliisi mwabadde atambulira.

Bwagenze okukya ku Lwomukaaga nga poliisi emaze okufulumya ebifaananyi ebisiige eby’abatemu abaabadde ku bodaboda bbiri nga bwe baabadde bafaanagana era nga baabitimbye okwetooloola ekibuga kyonna n’ebweru waakyo nga bataddeko n’ennamba z’essimu abantu kwe balina okukuba yenna abalabyeko.

Omuduumizi wa poliisi ya Kampala n’emiriraano Frank Mwesigwa yategeezezza Bukedde nti kituufu ebifaananyi poliisi ye yabifulumizza nga basinziira ku baabadde mu kifo bwe baalabye abatemu nga bwe baabadde bafaanana.

Bano abaalabye baabatutte ew’omukugu wa poliisi mu kusiiga ebifaananyi ne babatuuza wansi olwo ne batandika okunnyonnyola ng’abatemu bwe baabadde bafaanana ng’omukugu bw’asiiga era olwamaze okusiiga ebifaananyi by’absajja babiri ne babitwalira abanene ne babuuza abaalabye abatemu oba nga ddala be baalabye baabadde bafaanana nabo ne bakkiriza.

Mangu ddala poliisi yatandise okukubisa ebipande nga bwe baakola ku kifaananyi ky’omusajja eyatta Joan Kagezi eyali omuwaabi wa Gavumenti mu musango gw’abaatega bbomu e Lugogo n’e Kabalagala nga July 11, 2010 era ne bitimbibwa wonna.

Kuno baawandiiseeko nti ono yeetaagibwa poliisi ku musango gw’obutemu ogwabadde e Kkulambiro nga March 17, 2017 ne bateekako n’ennamba z’essimu 0717777070 ey’omuduumizi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, 0718452613 ey’omuduumizi w’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku misango egya naggomola e Kireka.

Endala kuliko, 0714667787 ey’omuduumizi wa poliisi ya Kira Road, 0715986956 ey’akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango mu Kampala East n’abakungu abalala mu Poliisi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Budu 220x290

Busiro eyigga ttiimu ewangula ekikopo...

ESSAZA lya Busiro litegese empaka z’amagombolola okusunsulamu ttiimu eneevuganya mu mipiira gy’Amasaza.

Nkalu 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUSATU TOSAANA KUMUSUBWA...

Tukulaze engeri Museveni gy’akunyizza Kayihura ku bya Kaweesi. Waliwo n’enkalu ku kunoonyereza ku banene mu poliisi...

Mazzi1 220x290

Omukozi atuuse okwezza omwami wo...

Ky‛olina okumanya, abaana abo be muleeta ng‛abakozi abamu babeera n‛ebigendererwa eby‛okufumbirwa naye ng‛abasajja...

Liz1 220x290

Abanoonya; Njagala musajja Muzungu...

Obutabeera na musajja kye kisinze okumalako emirembe

Baagalana1 220x290

Munno muyambeko ku mirimu gy’awaka...

Omulundi oguwedde nnabalaga nga bwe mwesuuliddeyo ogwannaggamba ku buvunaanyizibwa bwammwe.