TOP
  • Home
  • Ag’eggwanga
  • Bajeti ya 2017/18 ewadde amaka ga Pulezidenti obukadde 551 buli lunaku

Bajeti ya 2017/18 ewadde amaka ga Pulezidenti obukadde 551 buli lunaku

By Ahmed Mukiibi

Added 21st April 2017

BAJETI empya ey’amaka g’Obwapulezidenti bw’enaaba eyisiddwa Palamenti nga tekyusiddwa, Gavumenti ejja kusaasaanya obukadde 551 buli lunaku okuyimirizaawo amaka gano.

State703422 703x422

Amaka g'Obwapulezidenti e Ntebe

Ku bukadde 551 ez’okusaasaanya ku maka g’Obwapulezidenti, kuliko 86,747,134/- ez’entambula ya Pulezidenti munda mu ggwanga mu lunaku.

Bino biri mu kiwandiiko ekya bajeti y’Amaka g’Obwapulezidenti ey’omwaka 2017/18 ogutandika nga July 1, 2018 ekyayanjuddwa Minisita w’Ensonga z’Obwapulezidenti, Esther Mbayo.

Bajeti empya ey’amaka g’Obwapulezidenti ya buwumbi 233 n’obukadde 228 nga mu kiseera kino ababaka ab’akakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku nsonga z’Obwapulezidenti bali mu kugikubaganyaako ebirowoozo.

Okusinziira ku kiwandiiko ekya Bajeti eno, amaka g’Obwapulezidenti gaabaliridde okusaaasaanya obuwumbi 233 mu bintu eby’enjawulo 36 okwetooloolera emirimu egy’Obwapulezidenti.

Eno ye bajeti eyookubiri ey’Amaka g’Obwapulezidenti ey’ekisanja ‘Hakuna Mucezo’ ekya Pulezidenti Museveni kye yatandise mu May 2016 oluvannyuma lw’okuwangula ekisanja ekyokutaano.

OBUWUMBI 18 ZAAKUTAMBULA KWA PULEZIDENTI EBWERU W’EGGWANGA

Mu bajeti eno, entambula za Pulezidenti n’abakungu ba State House mu mawanga ag’ebweru ziweereddwa omutemwa gwa buwumbi 18 n’obukadde 495.

Kino kitegeeza nti Gavumenti egenda kusaasaanya akawumbi kamu n’obukade 541 buli mwezi ( bwe bukadde 50 n’emitwalo 67 buli lunaku) ku kutambula kwa Pulezidenti n’abakungu be mu mawanga ag’ebweru.

Entambula za Pulezidenti munda mu ggwanga zissiddwaako omutemwa gwa buwumbi 31 n’obukadde 662 mu bajeti eya 2017/18.

Mu kubala okwangu, entambula za Pulezidenti munda mu ggwanga zigenda kuwemmenta obuwumbi 2 n’obukadde 662 buli mwezi nga zino bw’ozitemaatemamu, kitegeeza nti ensimbi obukadde 86 n’emitwalo 74 ez’omuwi w’omusolo ze zigenda okusaasaanyizibwa buli lunaku ku ntambula za Pulezidenti munda mu ggwanga.

OBUKADDE 9 ZA BYAKUNYWA N’OKULYA BULI LUNAKU

Ebyokulya n’okunywa mu maka g’Obwapulezidenti biweereddwa omutemwa gwa buwumbi 3 n’obukadde 497 mu bajeti ya 2017/18.

Kino kitegeeza nti mu mwezi, Gavumenti egenda kusaasaanya obukadde 291 n’emitwalo 45 ku by’okunywa n’okulya by’omu maka g’Obwapulezidenti bye baayise ‘Special meals & drinks’.

Ssente ezo bwe zitemwatemwa, kitegeeza nti buli lunaku amaka g’Obwapulezidenti gaakusaasaanya obukadde 9 n’emitwalo 58 ku by’okulya n’okunywa.

OBUKADDE 19 ZA KUDDAABIRIZA MMOTOKA BULI LUNAKU

Amaka g’Obwapulezidenti gateekateeka okusaasaanya obukadde 19 n’emitwalo 88 buli lunaku mu kuddaabiriza mmotoka.

Ssente ezo ze zikola bajeti ey’obuwumbi 7 n’obukadde 256 ez’okuddaabirizza mmotoka ez’omu maka g’Obwapulezidenti mu bajeti ey’omwaka 2017/18.

Omutemwa ogusinga obunene mu bajeti y’amaka g’Obwapulezidenti gwa buwumbi 78 ez’ebigwa bitalaze nga ssente ezo bwe zigabanyaako ennaku 365, kitegeeza nti ebigwa bitalaze bigenda kuwemmenta obukadde 213 buli lunaku.

Waliwo n’omutemwa gwa buwumbi 38 n’obukadde 400 ez’ebyokwerinda kwa Pulezidenti nga zino bw’ozitemaatema kitegeeza nti obukadde 105 n’emitwalo 20 za byakwerinda kwa Pulezidenti buli lunaku.

EBY’AMASANYU BYA BUWUMBI 4

Eby’amasanyu n’embeera mu maka g’Obwapulezidenti biweereddwa obuwumbi 4 n’obukadde 707 mu bajeti eya 2017/18.

Ssente ezo bw’ozigabanya mu nnaku 365, kitegeeza nti buli lunaku eby’amasnnyu by’omu maka g’Obwapulezidenti bigenda kuwemmenta obukadde 12 n’emitwalo 89.

OBUWUMBI 17 ZA NSAKO Y’ABAKOZI

Amaka g’Obwapulezidenti gagenda kusaasaanya obukadde 46 n’emitwalo 97 buli lunaku ku kusasula ensako y’Abakozi abakola ewa Pulezidenti Museveni.

Ssente ez’ensako y’abakozi zonna awamu ziri obuwumbi 17 n’obukadde 143 mu mwaka 2017/18 nga zino zikola akawumbi kamu n’obukadde 428 buli mwezi.

Okutendeka n’okubangula abakozi b’omu maka g’Obwapulezidenti kugenda kuwemmenta obuwumbi 2 n’obukadde 95, ze nsimbi obukadde 174 buli mwezi ez’okutendeka n’okubangula abakozi.

Akakiiko ka Palamenti akakola ku nsonga z’Obwapulezidenti akakulirwa Col. Fred Mwesigye (Nyabushozi) kateekateeka okusisinkana Minisita w’ensonga z’Obwapulezenti Esther Mbayo n’abakungu b’amaka ga Pulezidenti okuyita mu bajeti eyo nga tebannakola lipoota ey’okwanjulira olukiiko lwa Palamenti.

Ababaka ab’enjawulo beemulugunyizza ku nsimbi ennyingi amaka g’Obwapulezidenti ze gasaasaanyizibwako nga Minisitule ezikola ku mbeera ez’abantu nga Minisitule ey’Ebyobulamu, Ebyobulimi, eby’Ebyenjigiriza n’endala nga bajeti zaazo zisaliddwa kinene.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Yaga 220x290

Omusajja ayagala kunzigyako mwana...

NZE Uwineza Adiah nnina emyaka 26 nga mbeera Lubaga. Okuva lwe nafuna olubuto, baze yagaana okuddamu okundabirira...

Ssenga1 220x290

Nina bulwadde ki?

NINA emyaka 25 naye seegattangako na mukazi yenna kuba buli lwe ngezaako okwegatta nkoma ku mulyango ne njiwa....

Leka 220x290

Owapoliisi yesse lwa bwavu

OMUSERIKALE wa poliisi eyawummula, Robert Mugume asangiddwa nga yeetuze.

Kadi2 220x290

Kadaga awabudde ku bbula ly'emirimu...

SIPIIKA Rebecca Kadaga ategeezezza nti ebbula ly’emirimu mu bavubuka ky’ekimu ku bisinze bikwatagana butereevu...

Dhyljrxcaaw1zm 220x290

Museveni asisinkanye minisita wa...

MINISITA wa German ow’ensonga z’ebweru asisinkanye Pulezidenti Museveni n’asaba amawanga g’ebweru okuyamba Uganda...