TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Kagina asabye Gavt. ku kuliyirira ettaka omuyisibwa enguudo

Kagina asabye Gavt. ku kuliyirira ettaka omuyisibwa enguudo

By Benjamin Ssebaggala

Added 19th May 2017

AKULIRA ekitongole ekivunaanyizibwa ku nguudo mu Uganda Allen Kagina asabye gavumenti ekole ennongoosereza mu Ssemateeka ku ngeri gye balina okuliyirira n’okweddiza ettaka mu bitundi omuba muyisiddwa enguudo.

Kagina2 703x422

Akulira UNRA, Allen Kagina ng'ayogerera mu kakiiko. EBIFAANANYI BYA BENJAMIN SSEBAGGALA

Okugenda mu kakiiko awerekeddwaako William Matovu, avunaanyizibwa ku kufuna ettaka mu bitundu we bagenda okuyisa enguudo ne Titus Kamya akulira ebyamateeka mu UNRA.

Kagina ategeezezza akakiiko nti ofiisi y’omubalirizi wa gavumenti omukulu teriiwo mu mateeka ekiviirako abantu be babeera babaliridde okuwakanya ebikoleddwa ne bagenda mu kkooti.

Yategeezezza nti obuzibu obulala bwe basinga okusanga kwe kubeera nti waliwo abaafuna ettaka mu bukyamu kyokka bwe batuuka okuyisaawo enkulaakulana abantu bano bakaayana nnyo nga tebaliyiriddwa.

Ayagala ofiisi y’omubalirizi wa gavumenti ekuzibwe efuuke kitongole nga UNRA, ebeere nga yeetengeredde okuyambako mu kwanguya emirimu.

Bwe babeera bagereka emiwendo gy’ebintu bye baliyirira kibabeerera kizibu okuzuula omuwendo omutuufu kubanga enkiiko za disitulikiti ezimu tezirina bikwata ku ttaka mu bitundu omubeera mugenda okuyisibwa enguudo.

 

Asabye akakiiko kateekewo enkola ennambulukufu era etondewo ensawo eyinva okuvaamu ssente ezikozesebwa mu kuyambako abantu abateesobola mu by’amateeka babeere nga bafuna obwenkanya okuliyirirwa mu kifo kyonna awayisiddwa oluguudo.

Annyonnyodde nti ekizibu ekirala ekiriwo, etteeka terirambika bbanga lirina kumala nga beekenneenya abo abalina okuliyirirwa so nga lirambika nti ekitundu ekiyisiddwaamu oluguudo tebatandika kukola ng’omuntu akoseddwa tannaba kuliyirirwa.

Ebifo ebirimu ab’ebibanja bibatawaanya nnyo mu kuliyirira abantu kubanga babeera balina okuliyirira ow’ekibanja ne nannyini ttaka olumu ne kibeera kizibu okukakasa ani gwe balina okuliyirira.

Kamya yategeezezza nti bakyalina okusomoozebwa ku nnyingo eya 26 mu ssemateeka erambika ku ngeri y’okweddizaamu ettaka kubanga etteeka terirambika ludda wa we balina okutwala ssente singa basanga ekitundu ekirimu enkaayana nga betaaga okuliyirira oyo gwe babeera tebakkaanyizza naye.

Kagina yawadde amagezi nti gavumenti ya Uganda ekoppe enkola egobererwa mu mawanga amalala nga baliyirira abantu nga bwe kiri mu Buyindi; bwe bazuula nga betaaga okuyisaawo oluguudo bayambako omuntu oyo okusenguka okumuzza mu kifo gy’alaga n’akkalira era bwe wayitawo emyaka etaano ng’ettaka tebalikozesezza nga balisitula nga baliddiza nannyini lyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nrmnabiserejenniferlynn 220x290

Aba NRM ababeera ebweru bakoze...

ABA NRM ababeera mu mawanga g’ebweru bakyusizza mu bakulembeze baabwe ne balonda ssentebe w’ettabi lyabwe e Misiri...

Unit 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUTAANO YAFULUMYE...

Mulindwa Muwonge alese ebiragiro 6 ebikakali ebitabudde abakungubazi n’abooluganda. Bato ba Zari boogedde ekisse...

Ziika9 220x290

Mulindwa Muwonge aziikiddwa wakati...

Mulindwa Muwonge aziikiddwa wakati mu biwoobe n'okwazirana okuva mu bannamwandu, abaana n'abooluganda.

Zika3 220x290

Nnyina wa Mulindwa Muwonge ayogedde:...

Nnyina wa Mulindwa Muwonge, Maria Namagembe akungubagidde mutabani we era akumye olumbe mu makaage agasangibwa...

Si 220x290

Minisitule etongozza akuuma akakebera...

MU kaweefube wa Gavumenti ne minisitule y’ebyobulamu okulwanyisa obulwadde bwa mukenenya mu ggwanga, Gavumenti...