TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Boogedde aboomutawaana 3 abatulugunya abasibe e Nalufeenya: Baabano

Boogedde aboomutawaana 3 abatulugunya abasibe e Nalufeenya: Baabano

By Musasi wa Bukedde

Added 19th May 2017

EBIPYA bizuuse ku ngeri ey’esisiwaza abantu gye batulugunyizibwamu e Nalufenya.

Tata 703x422

Abamu ku basibe abali ku gw’okutta Kaweesi. Owookubiri ku kkono mu maaso ye Osman Mohamed Omar, Musa Ntende, Majid Ojerere ne Ibrahim Kissa.

Nalufenya alina abasajja basatu, abasinga okwesigibwa mu kutulugunya era abasibe abamu bwe bawulira ku mannya gaabwe, basobola n’okutobya empale wakati mu kutya.

Bino bizuuliddwa omubaka Muwanga Kivumbi nga ye Minisita ow’Ebyokwerinda mu Gavumenti ey’oludda oluwabula mu Palamenti eyavuddeyo n’ategeeza nti mwetegefu okufuuka ssadaaka bwe kiba nga kye kinaataasa Bannayuganda okutulugunyizibwa.

Muwanga yategeezezza omusasi waffe nti ebikwata ku Nalufenya yabizudde okuva mu basibe abenjawulo abayiseeyo n’abamu ku bantu mu Poliisi n’ebitongole ebyokwerinda abatali basanyufu ku bikolebwayo.

AB’OMUTAWAANA BAABANO

Muwanga yamenye abantu basatu be yagambye nti e Nalufenya buli musibe abalabako kumpi azirika olw’obukambwe bwabwe.

  • Francis Olugo eyakazibwako erya ‘Mutoto wa Acholi’, y’asinga obukambwe n’ettima mu kutulugunya abasibe. Ono, Muwanga yagambye nti musajja muddugavu ng’entamu, amaaso mamyufu nga kaamulali alina enswiriri, taseka era tasaaga. Emirundu egisinga e Nalufenya bamweyambisa ng’asembayo ku musibe abeera omugumu era ‘Mutoto wa Acholi’ bw’alemwa okwogeza omusibe tewali ayinza kumwogeza mulala. Wabula Muwanga yagambye nti ‘Mutoto wa Acholi’ w’atuukira okulemwa omusibe, ekyo kitegeeza nti omusibe abeera aweddemu omukka.
  • Omulala ye ‘Kanaala’ ng’eno atwalibwa nga nnamba bbiri e Nalufenya. Ono agambibwa okuba ng’alina erinnya eddala ettuufu, Muwanga lye yagambye nti akyalinoonya wabula kafulu mu kutulugunya era bwe bakussa mu kasenge mw’ali, ojulirira okufa.
  • Owookusatu ye Magada ng’ono asooka kweyambisa akakodyo ak’okwefuula nti musajja mulungi eri abasibe, ng’asendasenda bamubuulire amazima abawonye obuzibu obuyinza okubatuukako singa bakwasibwa Kanaala oba ‘mutoto wa Acholi’. Wabula naye mubi nnyo, mu kutulugunya.

Muwanga yalumirizza nti abantu abo abatulugunya abasibe Boogedde abatulugunya abasibe e Nalufenya, bakolera wansi wa Geofrey Musana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ivannamirembendijjo19 220x290

Ssemwanga aweerezza Buganda n'omutima...

Charles Bwenvu, minisita wa Kabaka omubeezi ow’ensonga za Buganda ebweru, yategeezezza nti Ssemwanga yawaako Obwakabaka...

E0a830087c06467f84a8750da60b2ba9 220x290

Entaana ya Ssemwanga ewedde okuyooyootebwa:...

Ekiri e Kayunga: Entaana ya Ssemwanga ewedde okuyooyootebwa, abakungubazi bakyesomba okwetaba mu kuziika

Kayungadorahnajjembamukiragalanessengawassemwangacissynakiwalangabakaaba 220x290

Ebyabaddewo ng'omulambo gwa Ssemwanga...

Ebyabaddewo ng'omulambo gwa Ssemwanga gutuusibwa ku biggya e Kayunga: Biwoobe

Pala 220x290

Ebyobugagga bya Ssemwanga biwuniikirizza...

Rashid Nsimbe, avunaanyizibwa ku mutindo gw’ebisomesebwa mu masomero ga Ssemwanga, yategeezezza nti mu byobugagga...

Semwanganamirembe30 220x290

Omugagga Kirumira addiza omuliro...

Omugagga Godfrey Kirumira olwakutte omuzindaalo n’akoma ku booluganda lwa Ssemwanga babikke ku mpisa zaabwe ensiiwuufu...