TOP

Gavt' ekalambidde ku ky'okusalako amasimu leero

By Musasi wa Bukedde

Added 19th May 2017

GAVUMENTI esazeewo okusalako amasimu gonna agatannaba kuwandiisibwa, wadde nga Palamenti yabadde eyisizza ekiteeso ekisaba okwongezaayo.

Courtesyofgoogle 703x422

Ekiragiro kya gavumenti ekyateekeddwaako omukono wa Minisita w’ebyempuliziganya Frank Tumwebaze kyalambise bwe kiti:

  • Essimu zonna ezitawandiisiddwa zisalwako ku ssaawa 6:00 ez’ekiro ky’Olwokutaano Nga May 19, 2017 nga bwe kyasooka okulangirirwa.
  • Essimu ezitawandiisiddwa zigenda kuba tezisobola kuyitamu ng’okubye oba nga bakukubidde.
  • Essimu ezitawandiisiddwa zigenda kuweebwa akaseera ng’osobola okuggyako ssente ku Mobile Money kyokka ogenda kuba tosobola kuteekako ssente za Mobile Money. Kino kikoleddwa okusobozesa abantu obutafiirwa nsimbi zisangiddwa ku Mobile Money ku layini z’amasimu gaabwe agatawandiisiddwa. Ekiseera ekiweereddwa abantu okuggyako ssente ku Mobile Money tekirambuluddwa.
  • Okuwandiisa kwakugenda mu maaso era essimu enaaba esaliddwaako esobola okuddamu okukola singa nnyiniyo agiwandiisa.
  • Ekitongole ekigaba densite (NIRA) kiragiddwa okugenda mu maaso n’okuwandiisa abantu bafune densite ezinaabasobozesa okuwandiisa amasimu gaabwe.
  • Omuntu eyewandiisizza kyokka nga tannafuna densite, ekitongole kya NIRA kiragiddwa okussaawo embeera esobozesa omuntu oyo okuwandiisa essimu ng’akozesa ennamba eri ku ffoomu kwe yeewandiisirizza.
  • Amakampuni g’amasimu galagiddwa okusigala nga gawandiisa layini z’abantu n’okulekawo enkola y’okwewandiisa ng’okozesa *197#
  • Abaakawandiisibwa okufuna densite babateereddewo ennamba *126# okumanya okuwandiisibwa kwabwe we kutuuse.

Tumwebaze annyonnyodde nti baatunudde mu kiteeso kya Palamenti, wabula ne kisalwawo ku lw’okunyweza eby’okwerinda n’obutebenkevu, essimu ezitannawandiisibwa zisalweko kubanga ky’azuulwa nti abamenyi b’amateeka ze bakozesa.

Kampuni z’amasimu zaalagiddwa okussa mu nkola byonna ebyasaliddwaawo.

Tumwebaze yagasseeko nti baafunye lipoota okuva mu kitongole ky’eby’empuliziganya (UCC) eraga nti layini z’amasimu ezikozesebwa ebitundu 92 ku 100 zaabadde zimaze okuwandiisibwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Zika3 220x290

Nnyina wa Mulindwa Muwonge ayogedde:...

Nnyina wa Mulindwa Muwonge, Maria Namagembe akungubagidde mutabani we era akumye olumbe mu makaage agasangibwa...

Si 220x290

Minisitule etongozza akuuma akakebera...

MU kaweefube wa Gavumenti ne minisitule y’ebyobulamu okulwanyisa obulwadde bwa mukenenya mu ggwanga, Gavumenti...

Mao1 220x290

Poliisi yezoobye n'aba DP: Mao...

Pulezidenti wa DP, Nobert Mao bamuggalidde.

Bre 220x290

Eyakubwa poliisi amasasi mu kwekalakaasa...

KYADDAAKI omukazi eyakubwa poliisi amasasi mu kwekalakaasa kwa ‘Walk to Work’ e Kajjansi afunye ku ssanyu kkooti...

Dfgkithwsaqxwrojpglarge 220x290

Aboogera ku by'ekkomo ku myaka...

PULEZIDENTI Museveni ayanukudde abagamba nti ayagala kukyusa Ssemateeka w’eggwanga aggye ekkomo ku myaka 75, n’ategeeza...