TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Nyakana ne mukazi we basabye Palamenti ebataase ku Jennifer Musisi

Nyakana ne mukazi we basabye Palamenti ebataase ku Jennifer Musisi

By Kizito Musoke

Added 5th July 2017

SARAH Kizito ne Godfrey Nyakana basabye Palamenti ebayambe ku dayirekita wa Kampala, Jennifer Musisi Semakula kuba tabaagala ng’abantu era y'ensonga lwaki yagaana n’okuzza obuggya liizi yaabwe ku ttaka lya Centenary Park.

Nmb8018 703x422

Nyakana ne mukazi we Sarah Kizito nga bali mu kakiko ka Palamenti

SARAH Kizito ne bba Godfrey Nyakana basabye Palamenti ebayambe ku dayirekita wa Kampala, Jennifer Musisi Semakula kuba tabaagala ng’abantu era y'ensonga lwaki yagaana n’okuzza obuggya liizi yaabwe ku ttaka lya Centenary Park.

Babadde  mu kakiiko ka Palamenti akabuuliriza ku bitongole bya gavumenti aka COSASE gye babadde bayitiddwa  okunnyonnyola obwannannyini bwabwe ku ttaka lya Centenary Bank lye bakaayanira ne KCCA.

Godfrey Nyakaana agambye nti Jennifer Musisi aludde ebbanga ng’abayigganya, yatuuka n’okumumenyera ekizimbe e Bugoloobi nga yeekwasa nti yali akizimbye mu ntobazi.

Kyokka Abdu Katuntu (Bugweri/ Iganga), ssentebe w'akakiiko yabagumizza nti omulimu gwe n’ababaka kwe kuzuula omuntu omutuufu nga bagoberedde amateeka.

Sarah Kizito agambye nti  Jennifer Musisi  olw’okuba abalinako akakuku yatuuka n’okugaana okuzza obuggya liizi baabwe ku ttaka lya Centenary Park, wadde ng’olukiiko lwa KCCA lwali lumaze okuyisa ekiteeso ekiragira addemu afune liizi.

Kyokka ababaka babasabye bannyonnyole etteeka eribawa enkizo ku bwannannyini nga liizi yaggwaako nga tebabulina.  

Kizito agambye nti okusengulwa balina kusooka kuliyirirwa, kuba batadde ssente nkumu mu kukulaakulanya ekifo kya Centenary Park.

Jennifer Musisi ategeezezza nti ye tabalinaako buzibu, wabula abeera agezaako okukwasisa amateeka, olwo abamu ne balowooza nti abalwanyisa ng’abantu.

Ababaka baalagidde Nyakana ne mukazi we Sarah Kizito abaddukanya kampuni ya Nnaalongo Estates Limited obutaddamu kuteekawo mbeera emeresa abakozi b'ekitongole ky'amazzi ekya Nantional Water and Sewerage Corporation okuteeka payipu ku Centenary Park.

Akakiiko kakyagenda mu maaso n’okubuuliriza nnannyini omutuufu, n’okuzuula oba nga ddala Sarah Kizito addukanya Centenary Park asaanidde okuliyirirwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mail 220x290

Muganda w’omubaka eyafa e Iganga...

ABAKYALA munaana be beesoweddeyo okuvuganya ku kifo ky’omubaka omukazi owa Iganga.

Nrmnabiserejenniferlynn 220x290

Aba NRM ababeera ebweru bakoze...

ABA NRM ababeera mu mawanga g’ebweru bakyusizza mu bakulembeze baabwe ne balonda ssentebe w’ettabi lyabwe e Misiri...

Unit 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUTAANO YAFULUMYE...

Mulindwa Muwonge alese ebiragiro 6 ebikakali ebitabudde abakungubazi n’abooluganda. Bato ba Zari boogedde ekisse...

Ziika9 220x290

Mulindwa Muwonge aziikiddwa wakati...

Mulindwa Muwonge aziikiddwa wakati mu biwoobe n'okwazirana okuva mu bannamwandu, abaana n'abooluganda.

Zika3 220x290

Nnyina wa Mulindwa Muwonge ayogedde:...

Nnyina wa Mulindwa Muwonge, Maria Namagembe akungubagidde mutabani we era akumye olumbe mu makaage agasangibwa...