TOP

Massa bamugaanyi okuddayo e South Afrika

By Musasi wa Bukedde

Added 17th July 2017

MASSA yasoose kutegeeza mukazi we nga bw’agenda okuddayo e South Afrika ku nsonga ezeekuusa ku mupiira ne bizinensi.

Massa 703x422

Marjoline Nabulime muka Geoffrey Massa, yatandikiddewo okwefumiitiriza ku kya bba okugenda ebweru w’eggwanga, mu kiseera kino nga poliisi emunoonyerezaako.

Poliisi enoonyereza ku Massa ku misango esatu okuli: Okwonoona pikipiki ya poliisi, okugezaako okutomera abaserikale mu bugenderevu n’okweyisa mu ngeri eweebuula bwe yasangiddwa n’omuwala Josephine Maliza mu mmotoka ku ssaawa 9:00 ez’ekiro nga beesanyusaamu e Namboole.

Ogw’okugezaako okutomera abaserikale, poliisi ekyebuuza ku muwaabi wa Gavumenti okulaba oba gusobola okuvaamu omusango omunene ogw’okugezaako okutta omuntu. Nabulime mu kulemwa okusalawo ku kya bba okuddayo e South Afrika, yategeezezza Massa nti basooke beebuuze ku ba famire ku nsonga eno.

Wadde kino Massa yabadde takyagadde, wabula Nabulime yamusinzizza amaanyi era abamu ku booluganda lwa Massa n’abooluganda lwa Nabulime bwe baabeebuuzizzaako, abasinga ne bakiwakanya okukkakkana nga Massa bamugaanyi okuddayo e South Afrika nga bwe yabadde ategese.

Abamu beesitudde ne bajja mu maka ga Massa agali e Kisaasi mu Kampala okutuusa okuwabula kwabwe ku nsonga eno.

Ensonda mu famire ya Massa zaategeezezza Bukedde nti mu kumulemesa baamuwadde ensonga eziwerako.

Baamutegeezezza nti kijja kuwa ekifaananyi nti alina ky’adduka ate abalala ne bamugamba nti wadde poliisi yabadde egambye nti wa ddembe okutambula, kiyinza okuba eky’obulabe ennyo ssinga abaserikale beekyusa ne bamukwatira ku kisaawe e Ntebe.

Massa yakomawo mu Uganda mu February wa 2017 ng’ava e South Afrika oluvannyuma lwa Morgan Mammila akulira ttiimu ya Baroka FC okumusalako. Ttiimu eno Massa gye yasembye okusambira omupiira gw’ensimbi.

Omwogezi wa poliisi, Emilian Kayima yagambye nti Massa wa ddembe okutambula era bamwetaagako ekintu kimu kukolagana ne poliisi nga buli lw’alina okweyanjula atuukiriza kubanga mu kiseera kino ali ku kakalu ka poliisi.

Kyokka Nabulime bwe yabuuziddwa ku nsonga zino yagambye nti bba yali yategeka dda olugendo, wabula yasazeewo aluyimirizeemu olw’ebiriwo.

Kyokka yagaanyi okubaako by’annyonnyola ebisingawo. Massa yawonedde watono mu kiro ekyakeesezza Olwokuna, abaserikale ba poliisi; PC Alfa Gawaya ne Augustine Atyang bwe baakubye emmotoka ye amasasi ne galumya Josephine gwe yabadde naye mu kiro nga banyumya.

Emmotoka ya Massa, Land Cruiser TX nnamba UAY 627B baagitadde ku poliisi e Bweyogerere w’ekyakuumirwa. Abaserikale abaakubye amasasi baavudde mu mbeera nga balumiriza Massa okutomera pikipiki yaabwe UP 5134 n’agyonoona.

Massa ng’agezaako okudduka yatomedde ekifunvu e Kakajjo – Bweyogerere n’atwalibwa mu ddwaaliro lya Ggwatiro, wabula n’avaayo ku makya g’Olwokuna n’alekayo Josephine eyabadde alumiziddwa ennyo.

POLIISI ESASUDDE EZ’EDDWAALIRO

Ku Lwomukaaga akawungeezi, Josephine yasiibuddwa mu ddwaaliro lya Ggwatiro gy’abadde ajjanjabirwa era poliisi n’emukkiriza addeyo eka era naye kati ali ku kakalu ka poliisi.

Dr. Joseph Katumba akulira eddwaaliro lya Ggwatiro yategeezezza nti, Josephine Maliza baabadde bamubanja 270,000/- era yasiibuddwa nga zimaze okusasulwa.

Poliisi ye yasasudde ssente zino kubanga okuva Massa lwe yagenda ku ddwaaliro n’omuwala ono, teyaddayo era Josephine yatuuse kusiibulwa nga Massa tazzeemu kulabikako.

Omuwala ssente zaamubuze n’alaajanira poliisi era kwe kuzisasula. Dr. Katumba yagasseeko nti, Josephine baamuwadde ennaku ttaano ng’agenda buli lunaku n’afuna empiso oluvannyuma n’adda awaka era ekiwundu bwe kinaawonera ddala, ajja kuddayo bamuggyemu wuzi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mail 220x290

Muganda w’omubaka eyafa e Iganga...

ABAKYALA munaana be beesoweddeyo okuvuganya ku kifo ky’omubaka omukazi owa Iganga.

Nrmnabiserejenniferlynn 220x290

Aba NRM ababeera ebweru bakoze...

ABA NRM ababeera mu mawanga g’ebweru bakyusizza mu bakulembeze baabwe ne balonda ssentebe w’ettabi lyabwe e Misiri...

Unit 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUTAANO YAFULUMYE...

Mulindwa Muwonge alese ebiragiro 6 ebikakali ebitabudde abakungubazi n’abooluganda. Bato ba Zari boogedde ekisse...

Ziika9 220x290

Mulindwa Muwonge aziikiddwa wakati...

Mulindwa Muwonge aziikiddwa wakati mu biwoobe n'okwazirana okuva mu bannamwandu, abaana n'abooluganda.

Zika3 220x290

Nnyina wa Mulindwa Muwonge ayogedde:...

Nnyina wa Mulindwa Muwonge, Maria Namagembe akungubagidde mutabani we era akumye olumbe mu makaage agasangibwa...