TOP

‘Serugga nkooye okukubanja embaga’

By Musasi wa Bukedde

Added 12th August 2017

OMUYIMBI Catherine Kusasira eyakazibwako erya maama kabina asabye bba Fred Sserugga amukube embaga kiggwe kubanga akooye okumuyimbira.

Manya 703x422

Bino Kusasira yabyogeredde ku kabaga k’amazaalibwa ke baamukoledde ku Hotel Triangle ku Lwokuna ekiro ng’ajaguza emyaka 35 era ono yeewaanye nti ye muyimbi yekka atalimba myaka n’agattako nti Katonda yamutonda bulungi kubanga asinga n’abalina 20 okunyirira.

Okumala emyaka, Kusasira ne Sserugga bazze basuubiza abawagizi baabwe okwanjula n’embaga ne batakituukiriza nga ne ku ntandika y’omwaka guno baalangirira okwanjula mu August gwe tulimu ekyawaliriza bannaabwe Doreen Mutiibwa ne Michael Kinene nabo abaali bateeseteese okwanjula mu mwezi gwe gumu okwongezaayo omukolo ogwabwe kyokka n’okutuusa kati tewali kabonero kalaga nti omukolo gwa ba Kusasira ne Sserugga gugenda kubaayo.

Ababali ku lusegere bagamba nti wadde Kusasira emikolo gino agyagala nnyo era buli lukya agyesunga, Sserugga y’akyalemesezza olw’obutasalawo.

Nga bino tebinnabaawo abantu abeetabye ku kabaga kano okwabadde abayimbi, ab’oluganda, ab’emikwano wamu ne minisita Godfrey Kiwanda Ssuubi eyabadde omugenyi omukulu baasoose kwerabira katemba atali musasulira, omu ku mikwano gya Kusasira eyabadde amuwerekerako ng’abuuza ku bantu nga yakatuuka bwe yamusindise nagwa mu kidiba ekiwugirwamu ekiri mu kifo kino.

Wakati mu kutya Kusasira yayolesezza obukugu mu kuwuga. Mu mbeera ey’okulaga laavu, Sserugga alina oluyimba lwe yayiiyirizza Kusasira lwe yamuyimbidde nga lulimu obubaka obumusiima nga mu luyimba agamba nti ekimu ku bintu by’asinga okumwagalako butamukyawa ne bwe bamuwa emmotoka ez’ebbeeyi asigala amwagala era wano abantu abamu baawuuliddwa nga bagamba nti yandiba ng’akoona Afande Titus eyaganzaako Kusasira n’amuwa n’emmotoka ekika kya Prado kyokka oluvannyuma baayawukana era Kusasira n’addayo ewa Sserugga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ge1 220x290

Abakima amazzi ku ddaamu ya Ssekabaka...

Abakima amazzi ku ddaamu ya Ssekabaka e Mawogola bibasobedde

Ha1 220x290

Omubaka wa Pulezidenti e Masaka...

Omubaka wa Pulezidenti e Masaka alabudde abakola enguudo e Masaka

Hi1 220x290

Abatuuze bavudde mu mbeera ne balumba...

Abatuuze bavudde mu mbeera ne balumba Poliisi Y'e Mpigi

Kcca 220x290

KCCA ekendeezezza ku masannyalaze...

KCCA eyongedde okubunyisa ebitaala by'amaanyi g'enjuba ku nguudo n'eva ku bibadde bikozesa amasannyalaze ga UMEME...

Kiv1 220x290

Embwa zisangiddwa nga zirwanira...

Embwa zisangiddwa nga zirwanira omulambo e Buddo