TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ab’e Makindye baloopedde RCC abamenyi b’amateeka

Ab’e Makindye baloopedde RCC abamenyi b’amateeka

By Musasi Wa

Added 18th June 2012

Bassentebe ba LCI ne LC2 ku byalo Buziga, Katuuso ne Konge mu Ggombolola y’e Makindye bakubye olukung’aana lw’ekyalo mwe bayitidde RCC w’e Makindye, Hussein Lukyamuzi Kyeyune ne bamuloopera abamenyi b’amateeka mu kitundu kyabwe.

2012 6largeimg218 jun 2012 084425393 703x422

Bassentebe ba LCI ne LC2 ku byalo Buziga, Katuuso ne Konge mu Ggombolola y’e Makindye bakubye olukung’aana lw’ekyalo mwe bayitidde RCC w’e Makindye, Hussein Lukyamuzi Kyeyune ne bamuloopera abamenyi b’amateeka mu kitundu kyabwe.

Ssentebe wa Upper Konge era nga y’akulira ebyokwerinda mu muluka gw’e Buziga, Frederick Nkirirehe yategeezezza nti waliwo bannaabwe babiri ku kakiiko ka LC okuli eya Upper Mawanga n’e Mudde zooni abeenyigira mu bumenyi bw’amateeka n’okuzibira ababbi.

Abaayogeddwaako mu lukiiko luno tebaalubaddemu kwewozaako. Yagambye  nti e Buziga we wasinga obumenyi bw’amateeka omuli abavubuka okufuuweeta enjaga, okukuba obutayimbwa, okusobya ku bakazi n’okunyakula ensawo zaabwe.

Mu lukiiko mwabaddemu n’akulira poliisi y’e Buziga, Alfred Kwebaza.  yategeezezza nti waakulondoola ensonga eno.
 

Ab’e Makindye baloopedde RCC abamenyi b’amateeka

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mass1 220x290

Embaga eyekikungo ku Miracle Center...

Pr. Robert Kayanja agasse emigogo gy'abagole mukaaga ku kkanisa ya Miracle Center Cathedral e Lubaga

Wesley1 220x290

Mumbere: Ekkomera kitaawe gye yafiira...

W’osomera bino nga Mumbere atemeza mabega wa mitayimbwa, mu kkomera e Kirinnya- Jinja gy’ali ku limanda ku musango...

Katozigoti1 220x290

Abakulembeze bakungubagidde Kato...

Esther Ndyanabo Meeya wa Mityana Munisipalite yategeezezza nti Zigoti y’omu ku bantu abazimbye Mityana Munisipaali...

Sebatta 220x290

Kkooti eragidde Fred Ssebatta asasule...

Baagenda mu kkooti nga 29 November, 2016 era n’eragira Sebatta asasule obukadde 35 mu bwangu.

Mamafinakiggundu1 220x290

Ekika ky’emmundu eyasse bba wa...

Poliisi ezudde obujulizi ku bantu musanvu abateeberezebwa okwenyigira mu ttemu lino ssaako n’ebika by’emmundu ze...