TOP

Dr. Watuwa agezesezza abakazi 130

By Musasi Wa

Added 30th June 2012

DR. Watuwa eyeeyogerako nti tasaaga mu mukwano, afunye abakazi 132 n’abagezesa wabula n’abulwako amumatiza era ategeezezza nti ayagala balala alabe oba afunako amugyaamu batandike obufumbo.

2012 6largeimg230 jun 2012 072938437 703x422

 Bya Martin Ndijjo ne Joseph Mutebi

DR. Watuwa eyeeyogerako nti tasaaga mu mukwano, afunye abakazi 132 n’abagezesa wabula n’abulwako amumatiza era ategeezezza nti ayagala balala alabe oba afunako amugyaamu batandike obufumbo.

Dr. William Watuwa 52, alina kalina e Makindye wabula yaakawasa abakazi musanvu nga banoba era eyasembyeyo Natasha Najjuma 25, ow’e Luzira yategeezezza Bukedde nti abadde asula ku budde, ng’omusajja asusse obuzito!

Abakazi naddala Bannakampala bwe baalabye nti omugagga Watuwa anoonya mukazi gw’anaateeka mu makaage amatiribona agali mu Wasswa Zooni ne batandika okumweyunira era agamba nti muno mwajjiddemu abakuze mu myaka n’abalala abaabadde beemesse Ambi abayambe okweruka nga bakitegedde nti asinga kwettanira bakyala beeru, nti era bano yabawandulidde ku mutendera ogusooka.

‘ABAYIMBI BAGUDDE EBIGEZO’

Yagambye nti ku bakazi 132 be yafunye, kuliko 20 abaagezezzaako wabula era n’atamatira bulungi nti kyokka abalala 110 baagudde ebigezo n’enkoona n’enywa.

Mu baagezezzaako kuliko abayimbi babiri (amannya galekeddwa) ng’omu asula mu Kampala ate omulala asula ku luguudo lw’e Ntebe wabula Watuwa yagambye nti bombi ‘yintaviyu’ esembayo yabalemye okuyita.

Abalala babadde bamusanga mu bimu ku bivvulu by’abadde atera okugendamu okuli n’ekyabadde ku Obligatto (eyali Little Flowers ku Bat Valley) mwe yalabikidde n’omu ku bawala nga balya obulamu wabula Watuwa yagambye nti tebaagenze mu maaso ng’omuwala tali ‘siriyaasi’.

Abakazi abalala babadde bamulumba mu makaage ate abamu nga bamukubira masimu nti n’abawa ‘apoyintimenti’ era ezisinga abadde azibaweera mu makaage ate endala mu wooteeri.

EKIGEZO EKISOOKA

Yagambye nti ekigezo ekisooka kibeera kya ndabika omuli ennyambala, obweru, obuwanvu, emyaka omukazi gy’alina era abalabika nti basussizza emyaka 30 wano we bakoma.

Abakazi abatono mu ‘sayizi’ n’abawanvu b’asinga okuwa enkizo era ku bakazi 20 abaagezezzaako kuliko 16 abatono era abawanvu nga ku banene n’abampi yayisizzaawo 4 bokka.

EKIGEZO EKYOKUBIRI

Omutendera ogwokubiri gwa kwekebejja lususu n’ennyonyoogeze era agamba nti ayagala nnyo ab’ensusu empeweevu, abagonda engalo n’ebigere n’abalina ennyonyoogeze nga kumpi buli w’omukwata abuuka! Nti era wano abeeyerusa n’abakoowu mu mukwano we yasinze okubazuulira n’abasuula ettale.

EKIGEZO EKYOKUSATU

Ekigezo ekyokusatu akigabira mu kifo ekyekusifu era kyetooloolera ku bukodyo bw’omukwano era yagambye nti ku bakazi 42 abaabadde bayise ku mitendera ebiri egyasoose, yazuddeko 20 abaatereeza ebya Ssenga era bano be yatutte ku mutendera ogwokuna.

EKIGEZO EKYOKUNA 

Omutendera ogwokuna kw’agezesereza ‘okumalako’ abakazi 19 baagezezzaako wabula ne balemwa nti wabula omu yekka ye yasobodde okumalako kyokka bwe yamutegeezezza nti asiimye bakole amaka, omuwala kwe kumuddamu nti, “Ku kye ndabye, sisobola kukufumbirwa; okuggyako nga tusisinkana omulundi gumu buli mwaka.”

Watuwa yagambye nti yafubye okumatiza omuwala ono nti waakumuwa buli kye yeetaaga, naye yadduse awaka n’amasimu n’agaggyako.

Yasinzidde Norway gye yagenze okutereeza bizinensi ze n’ategeeza Bukedde nti akomawo mu bwangu attukize kaweefube w’okufuna omukyala amanyi omukwano era ng’amalako amukube embaga n’ebyenda bimwetokote.

Ebirala ku Dr. Watuwa

....................................................................................................................................................................................................................

....................................................................................................................................................................................................................

Dr. Watuwa agezesezza abakazi 130

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sserwadda1 220x290

Serwadda aggudde olutalo ku Bujingo,...

Serwadda yategeezezza nti abantu bangi abazze babatuukirira nga bye bayiseemu biwaawaaza amatu, babafeze ebintu,...

Molly2 220x290

Afande munsonyiwe ‘amayembe’ ge...

Oluvannyuma bombi baggyiddwaawo ne batwalibwa mu ofi isi ya Hassan Musooba eno ebigambibwa okuba amayembe gye byamukwatidde...

Nanki1 220x290

Embwa gwe yaloopa mu ttemu lya...

Emyaka gigenda kuwera esatu ng’omusajja agambibwa okusobya ku muwala ono oluvannyuma n’amutta, ali ku kyalo ayinaayina....

Ssekayombya1 220x290

Ssekayombya eyali owa KCCA FC akubye...

Andrew Ssekayombya eyaliko omuzannyi wa KCCA yakubye mwana munne Angel Businge empeta ku nkomerero ya wiiki eno...

Kazibwekapo11 220x290

Kazibwe Kapo aleppuka na gwa mmundu...

KAZIBWE Kapo avudde gy’abadde yekwese oluvanyuma lwa poliisi okumuyita annyonyole gye yagya emmundu gye yekubya...