TOP

Swiriri ayimba ku basajja abakwabula abakazi

By Musasi Wa

Added 31st January 2013

OKUMANYA oluyimba ‘Swiriri’ olw’Omuzambia Mampi lukutte Bannayuganda omubabiro, bw’osanga abalugeegeenya olowooza bye bayimba by’ebituufu.

2013 1largeimg231 jan 2013 113835310 703x422

Bya JOSEPHAT SSEGUYA

OKUMANYA oluyimba ‘Swiriri’ olw’Omuzambia Mampi lukutte Bannayuganda omubabiro, bw’osanga abalugeegeenya olowooza bye bayimba by’ebituufu.

Waliwo be twawulidde bayimba mu ngeri ez’enjawulo. “Swiririri, mwana muwala onyirira omubiri, yii swiririri, ahh nnyaffe wangaala…” Obeera okyatenda ono, ate n’owulira amuwakanya nti y’amanyi bwe lugenda. Olwo n’asuulamu nti; Swiririri, tambula n’okugumya omubiri, ehh… swiririri, abafere mwandaaza...

Ono abeera tannamalayo ne zireeta ayimba; Swiririri, abatambuza obugulu obutono…

Bwe tulabye buli muntu ayogera bibye, Bukedde kwe kusalawo ayogere ne Mirriam Mampi Mukape 26, abeera mu kibuga Lusaka ekya Zambia n’atunnyonnyola by’ayimba.

Mampi yavuganyako ne mu mpaka za Big Brother Afrika 7. Mampi yategeezezza ku Lwomukaaga ku ssimu nti ye ayimba ku basajja abalimba abakazi nti babaagala naye nga kye baagala kya kubambulamu ngoye era bwe bamala okubakozesa
n’okumanya bwe baakula, nga babaleka.

Ekigambo ‘Swiriri’ kitegeeza ‘Mukwano’ era akikozesa nga bw’oyita omuntu gw’oyagala nti, ‘mukwano’. Ekitundu abantu
kye bayimba buli omu mu ngeri ye, Mampi yakiwandiikidde Bukedde mu Lungereza kyokka bw’okivvuunula kitegeeza nti, “Mukwano swiiti, bwe wanjagala ne nzikiriza twali babiri mu mukwano omuzibu era siryerabira olunaku lwe wannyambula nga tuli ffekka naye ate bwe wamala by’oyagala n’onneefuulira...”

Mampi agamba nti ky’ayimbako ky’ekimu ku bimulwisizza okufumbirwa kubanga abasajja balimba bwe balina laavu naye
baba baagala kubakozesa n’oluvannyuma ne badduka.

Ekivvulu kye kitegekeddwa KT Promotions ne kiwagirwa Bukedde Fa Ma 100.5 ne 106.8. Kyakubaawo ku Valentayini
nga February 14, 2013 ku Hotel Africana ate ku Ssande nga 17 agende ku Resort Beach e Ntebe.

Swiriri ayimba ku basajja abakwabula abakazi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sejusa1 220x290

Kkooti ekkirizza Sejusa okuwummula...

MUNAMAGYE Gen. David Sejusa afunye ku buwerero kkooti enkulu bw’esazeewo nti takyali munnagye era amagye galina...

Mirable 220x290

Bukedde Ku Ssande yatuuse dda mu...

Ebya Maneja w’abayimbi Jeff Kiwanuka byongedde okwonooneka, poliisi bw’etandise okutaganjula essimu ye okuzuula...

Gitawo1 220x290

Gitawo yeeyiyeemu enzirusi ey'omulembe...

Cameroon Gitawo akulira ekibiina kya ‘The Money Team Africa” (TMT) yeeyiyemu enzirusi ey’omulembe kati ‘mw'avimbira’...

Funa 220x290

Bakutte bamalaaya 30 abasendasenda...

POLIISI y’e Kira mu Wakiso ekoze ekikwekweto n’eyoola bamalaaya 20 n’ebibinja by’ababbi okuli abeeyise bakifeesi...

Pale1 220x290

Bannaddiini bavuddeyo ku bya Illuminati...

ABAKULEMBEZE b’eddiini bavumiridde ebikolwa by’okusaddaaka omwana, muganda we gwe yatemyeeko omutwe ng’agamba nti...