TOP

Mbadde mmanyi Chameleone Mujamaica- Swiriri

By Musasi Wa

Added 13th February 2013

OMUYIMBI Mirriam Mampi Mukape eyakazibwako erya Swiriri asesezza bannamawulire mu lukiiko mwe yabadde yeyanjulira bwe yagambye nti ekigambo ky’ayimba mu luyimba lwe nti, Omubiri’ ddala kitegeeza mubiri mu lulimu lwe bayita Bemba olw’e Zambia lwe yayimbamu oluyimba luno.

2013 2largeimg213 feb 2013 091416430 703x422

Bya JOSEPHAT SSEGUYA

OMUYIMBI Mirriam Mampi Mukape eyakazibwako erya Swiriri asesezza bannamawulire mu lukiiko mwe yabadde yeyanjulira bwe yagambye nti ekigambo ky’ayimba mu luyimba lwe nti, Omubiri’ ddala kitegeeza mubiri mu lulimu lwe bayita Bemba olw’e Zambia lwe yayimbamu oluyimba luno.

Yagambye nti yeegomba mu Uganda abayimbi nga Cindy, Bobi Wine ne Jose Chameleone gwe yagambye nti bulijjo awulira ennyimba ze nga tamanyi nti Munnayuganda ng’alowooza nti oba w’e Jamaica.

Swiriri naye yewuunyizza nti Munnayuganda bw’ayogera, Omuzambia asobola okutegeera by’ayogera kubanga yali tamanyi nti ekigambo ekyo kiyinza okubeera nga kye kimu mu Uganda.

Yagambye nti yayimba ku musajja eyali ayagala ennyo omukazi ng’amuyita Swiiti-swiiti-(swiriri kye kitegeeza) kyokka bwe yamala okusumulula omubiri gwe gwonna ate n’amwefuulira ebya laavu teyabitwala mu maaso.

Yagambye nti asonyiye Ragga Dee eyakyusa oluyimba lwe luno kubanga alabika yakikola lwa kumatira nnyimba ze.

Swiriri ng’ayambibwako Bukedde Fa Ma 100.5 ne 106.8 Fa Ma e Masaka, ategese ekivvulu ku lw’abaagalana ku Hotel African we yakoledde olukiiko luno eggulo

Mbadde mmanyi Chameleone Mujamaica- Swiriri

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Today 220x290

Bakkansala muddeyo musome ku Luzungu...

BAKKANSALA b’amagombolola; Nyenga ne Wakisi mu Buikwe baakubye ebiraka mu Lungereza mu kulayira, ekyavuddeko abalonzi...

Baka 220x290

Omuwala abuliddwaako amayitire...

BAZADDE b’omuwala Brendah Nambatya babuliddwa amayitire ge nga kirowoozebwa nti waliwo abaamuwamba.

Manya 220x290

Sarah Nakafeero: Anoonya mubeezi...

Sarah Nakafeero: Anoonya mubeezi anaamussa amapenzi

Paddy 220x290

Abadigize e Bugiri beecanze lwa...

Abadigize e Bugiri beecanze lwa Ziza Bafana butayimba: Poliisi ebakubyemu amasasi babiri ne bafiirawo okuli n'omuyizi...

Bafana 220x290

Ziza Bafana abotodde ebyama! "Nnina...

Omuyimbi Ziza Bafana, eyayimba Guluma Asomye abotodde ebyama nga bw’alina abaana babiri buli omu ne Maama we nga...