TOP

Omuyimbi Martin Angume afudde

By Musasi Wa

Added 6th May 2013

Omuyimbi Martin Angume amaze ekiseera nga mulwadde mu ddwaliro e Mulago afudde.

2013 5largeimg206 may 2013 144845090 703x422

 

 

 

 

Bya Catherine Lutwama

Omuyimbi Martin Angume amaze ekiseera nga mulwadde mu ddwaliro e Mulago afudde. Angume afudde mu ttuntu lya leero era omulambo gwe gukyali mu ddwaliro lino.

 

Angume yayatiikirira nnyo mu myaka gye 2000 ng’ayimbira mu Diamonds Production ekulirwa Kato Lubwama.

Angume ye yayimba “Guli mu ggiya nnene”, “Switch” Ekadde lyange kikumi ku kinakyo, Kwat, Tubeere Babiri,Yagala Musajjawo Nkola zange,Tinkuula n’endala nnyingi ezaamufuula omuganzi ennyo mu Bannakampala,era nga waafiiridde abadde ayimbira mu Comprehensive Band. Nga tanayingira bbandi yasooka kuyimba mu kkwaya za Kkanisa ng’atendereza Mutonzi.

Namwandu wa Angume ng'ayaziraana, Ekif; Deborah Nanfuka.

Angume waafiiridde ng’ensiike y’ebyokusanyuka yakaviibwako DJ Moses Nsereko (DJ Momo) abadde akubira mu Club Rouge.

Ebirala ku Angume;

Omu ku bakyalabe abaddewo nga Angume afa tasobodde kwogerako na Bukedde Online kuba abadde azirise.

Angume alese bannamwandu n’abaana. Tujja kukutuusaako ebirala ku Angume nga bwe binajja. Kitalo!

 

 

 

Omuyimbi Martin Angume afudde

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mukiibi1 220x290

Polofesa Lawrence Mukiibi afudde...

Polofesa Lawrence Mukiibi abadde akulira amasomero ga St. Lawrence schools afudde

Annet10 220x290

Okusabira omwoyo gw'omugenzi Kaweesi...

Okusabira omwoyo gw'omugenzi Kaweesi e Namugongo

Whatsappimage20170528at35703pm 220x290

Okuzza omulambo gwa Ivan Ssemwanga...

Gibadde miranga na kwazirana ng'omulambo gwa Ivan Ssemwanga gutuusibwa ku kisaawe Entebbe.

Nekesa2 220x290

Uganda nnene kwenkana wa omwabulira...

Nsisimuka ekiro ne ndowooza omwana wange Annet okufa nga embwa n’abulako n’awondera!

Njaga1 220x290

Omutunzi w'enjaga akwatiddwa ng'agitundira...

Ono abadde y’ettika enjaga ye okuva ku kyalo Wampala gyasula nagiretera ku bodaboda ne nnyama ye olwo nagitundira...