TOP

Poliisi eyodde abagwira abatalina biwandiiko

By Musasi wa Bukedde

Added 18th April 2017

Poliisi eyodde abagwira abatalina biwandiiko

Ki1 703x422

POLIISI y’e Kabowa ekoze ekikwekweto ku bagwira abatalina bisaanyizo, n’ekwata 20 okuli Abasudan n’Abasomaali n’ebaggalira. Ekikwekweto kino ekyakoleddwa mu bitundu bya Kabowa ebitali bimu, kyakulembeddwaamu Abdu Nasser Hidujah, akulira ebikwekweto ku poliisi y’e Kabowa wamu n’abaserikale ba poliisi nga bayambibwako abakulembeze ku byalo.

Hidujah yategeezezza nti ekikwekweto kino kyavudde ku batuuze okwemulugunya ku Basudan abasusse mu kitundu kyabwe ng’ate bangi bakola effujjo ne basigala nga bayinaayina.

Baagasseeko nti obumenyi bw’amateeka bweyongedde mu kitundu nga bateebereza kiva ku bantu abatakola abasiiba nga bataayaaya ku kitundu. Kwe kunokolayo Abasudan abasiiba nga bataayaaya ku kitundu kyokka nga tebamanyi bibakwatako.

Oluvannyuma lw’abantu bano okukwatibwa, abakungu okuva ku kitebe kya Sudan mu Uganda, bazze ku poliisi y’e Kabowa ne bategeeza nti abantu baabwe baaleetebwa kuno okwewogoma embeera enzibu eri mu ggwanga lyabwe, ne basaba babasonyiwe.

Poliisi yakkirizza okubayimbula wabula ne balagirwa badde ku byalo beewandiise era ne balabulwa okukomya okukola effujjo ku batuuze. Yadde baayimbuddwa, fayiro yaabwe yabadde emaze okuggulwawo ku poliisi ku SD: 37/05/04/17.

Ben Mugerwa, ssentebe wa Zooni ya St. Anne e Kabowa mu munisipaali y’e Lubaga, abantu bano gye baggyiddwa agamba; “Mbadde sibamanyi mu kitundu kyange, wabula nafuna okwemulugunya okuva mu batuuze nti Abasudan bazinze ekitundu ate basula bangi mu nnyumba emu.

Abatuuze babalumiriza okubuuka ebikomera n’okunywa enjaga. Nange kwe kwekubira enduulu mu poliisi etuyambeko okubakwata.” Ssentebe Mugerwa yakubirizza abatuuze abatannaba kwewandiisa nabo okukikola kiyambe abakulembeze okunyweza ebyokwerinda mu kitundu kyabwe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bombersbrazeville2copy 220x290

Tikiti ezitwala ttiimu y'ebikonde...

Wade ng'ebula ennaku 4 empaka za Africa Boxing Championships ziggyibweeko akawuuwo e Congo Brazeville, ekibiina...

Musevenipik 220x290

Museveni alagidde layini z'amasimu...

Pulezidenti Museveni alagidde amasimu gazzibweko: Ayongezzaayo okwewandiisa okutuusa nga 30 August.

Africain01 220x290

Owa Tunisia kufiira ku KCCA FC...

Omutendesi wa Club Africain eya Tunisia Chiheb Ellili aweze nga bwe bazze n'ekigendererwa kimu kyokka kya kukuba...

Mwebe 220x290

Fayinolo ya Uganda Cup eyongeddwaayo...

AKAKIIKO ka FUFA akategeka empaka kajjuludde olunaku olubadde olw’okuzannyibwako fayinolo y’empaka za Uganda Cup...

Duka1 220x290

Ssebatta awonye ddukadduka w’amabanja:...

FRED Ssebatta awonye ddukadduka w’amabanja, Gen. Salim Saleh bw’amuwadde kavvu oluvannyuma lw’okumusindira ennaku...