TOP

Eyaganza aboomukwano beekobanye ne bamunyaga

By Musasi wa Bukedde

Added 21st April 2017

Muhammed Ssemakula 78 eyaganza abawala aboomukwano ababiri beekobaanye ne bamunyaga ebintu by’omu nnyumba.

Semakula 703x422

Nalubega ( ku kkono) ne Mutesaasira nga bali ku poliisi e Kireka.

Bya MADINAH NALWANGA NE TONNY KAYEMBA MUSAJJAMUKULU

Muhammed Ssemakula 78 eyaganza abawala aboomukwano ababiri beekobaanye ne bamunyaga ebintu by’omu nnyumba.

Jennifer Nalubega ne Juliet Mutesaasira be baateesezza ne banyaga Ssemakula obutamulekera kantu ne bamuleka ng’akaaba era ensonga kwe kuzitwala ku poliisi y’e Kireka.

Ssemakula ow’e Kinnawattaka e Kireka ng’asobeddwa yategeezezza nga bwe yasooka okuganza Nalubega ne babeera bonna.

Wabula buli lwe baabeeranga bacakala ng’ajja ne mukwano gwe Mutesaasira nga balya n’okunywa kumpi kwagala kumukaliza n’anoonya engeri y’okwesasula ssente ze kwe kusalawo naye okumuganza.

Bombi abadde abakyaza mu maka ge nga buli omu ajja lunaku lwe kyokka nga takimanyi nti abawala bano omukwano gwe balina gwa nnamaddala ogwatuusa Mutesaasira okubuulira Nalubega nga naye bwe yali amuganzizza.

Nalubega abadde talina kabonero konna kalaga nti amanyi enkolagana yange ne mukwano gwe”, Ssemakula bwe yagambye.

Olunaku lw’eggulo abawala bano baakwataganye ne bayingira mu nnyumba ne babba ebintu okuli ttivvi, ppaasi n’ebintu ebyamasannyalaze ebirala era nga Ssemakula yasoose kulowooza nti ababbi be baamuyingiridde ne bamunyaga.

Abawala bano okukwatibwa Nalubega yasangiddwa ng’atunda ttiivvi era Ssemakula bwe baamutemezzaako n’agenda okuziraba kwe kuzuula nga ze zize.

Nalubega yakwatiddwa n’agamba nti ttivvi baazibbye ne Mutesaasira nga baagala okusasula musajjamukulu olw’okubajooga n’abaganza ng’ate akimanyi nti bamukwano.

Poliisi yabakutte kyokka Ssemakula n’agaanira ku poliisi y’e Kireka ng’agisaba esonyiwe bakyala be kuba bombi abaagala nga tayagala babonaabonere mu kkomera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bombersbrazeville2copy 220x290

Tikiti ezitwala ttiimu y'ebikonde...

Wade ng'ebula ennaku 4 empaka za Africa Boxing Championships ziggyibweeko akawuuwo e Congo Brazeville, ekibiina...

Musevenipik 220x290

Museveni alagidde layini z'amasimu...

Pulezidenti Museveni alagidde amasimu gazzibweko: Ayongezzaayo okwewandiisa okutuusa nga 30 August.

Africain01 220x290

Owa Tunisia kufiira ku KCCA FC...

Omutendesi wa Club Africain eya Tunisia Chiheb Ellili aweze nga bwe bazze n'ekigendererwa kimu kyokka kya kukuba...

Mwebe 220x290

Fayinolo ya Uganda Cup eyongeddwaayo...

AKAKIIKO ka FUFA akategeka empaka kajjuludde olunaku olubadde olw’okuzannyibwako fayinolo y’empaka za Uganda Cup...

Duka1 220x290

Ssebatta awonye ddukadduka w’amabanja:...

FRED Ssebatta awonye ddukadduka w’amabanja, Gen. Salim Saleh bw’amuwadde kavvu oluvannyuma lw’okumusindira ennaku...