TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Gwe baasanze ng'akaalakaala n'emmundu bamukubye essasi

Gwe baasanze ng'akaalakaala n'emmundu bamukubye essasi

By Henry Nsubuga

Added 21st April 2017

POLIISI e Mukono ekubye omusajja essasi eyasangiddwa ng’akaalakaala n’emmundu ku kyalo Kigombya mu Mukono Central Divizoni mu Munisipaali y’e Mukono.

Kaala 703x422

Bashir Ssentongo, eyasangiddwa ng'akaalakaala n'emmundu ne bamukuba essasi

RDC w’e Mukono, Maj. David Matovu yategeezezza nti Bashir Ssentongo, 26 ow’e Kyambogo mu Nakawa divizoni yasangiddwa abatuuze ku Lwokusatu ku makya ne bamuteebereza okuba n’emmundu ne batemya ku poliisi.

Matovu yagambye nti Ssentongo omukuumi mu kkampuni y’obwannannyini eya Tiger Security emmundu yabadde agizinze mu kaveera ekyaleetedde abatuuze okumwekengera.

Umar Ssebuyongo akulira ba Crime preventer mu disitulikiti y’e Mukono yagambye nti ono yayagadde okudduka ne bamukuba essasi mu kifuba n’akwatibwa.

Yasangiddwa n’emmundu ekika kya SMG nnamba UGPSO 340270906719 ne kkaadi y’amagye mu mannya ga Private Saturday T. Moses nnamba, RA/192700.

Yagguddwaako omusango ku fayiro SD: 19/19/04/2017 ng’ajjanjabirwa mu ddwaaliro lya Mukono Health Centre IV. Bw’anaaba awonye waakuvunaanibwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kcca 220x290

kcc a ekendeezezza ku masannyalaze...

KCCA eyongedde okubunyisa ebitaala by'amaanyi g'enjuba ku nguudo n'eva ku bibadde bikozesa amasannyalaze ga UMEME...

Kiv1 220x290

Embwa zisangiddwa nga zirwanira...

Embwa zisangiddwa nga zirwanira omulambo e Buddo

Gali0 220x290

Omukuumi w’awaka ayiiyizza eggaali...

OKUYITA mu mbeera y’ebyenfuna ekaluba buli lukya, omuntu yenna akubirizibwa okuyiiya okulaba ng’abaako ky’akola...

Bak1 220x290

Poliisi etongozza enkola y'okulwanyisa...

Poliisi etongozza enkola y'okulwanyisa obumenyi bw'amateeka e Kyengera

Pamba 220x290

Ennaku ennumidde ewa Lulume......

Nze Rose Namataka 38, nga nkola gwa kutembeeya butunda mu bitundu eby’enjawulo mu Kampala.