TOP

Baminisita ba Museveni batabuse!

By Musasi wa Bukedde

Added 21st April 2017

Ekyasinze okuggya Namuganza mu mbeera, ye Betty Amongi okwesitula ne Nantaba ne bagenda ku mukolo gw’abakyala be Namutumba ku nkomerero y’omwezi oguwedde nga takimanyiiko ye ky’agamba nti baali bamusoomooza.

Namuganza1 703x422

Minisita Namuganza eyaloopye minisita munne Amongi ne Nantaba ewa Museveni. Mu katono ku kkono ye Amongi ate ku ddyo ye Nantaba

Bya MUSASI WAFFE

PERSIS Namuganza, minisita omubeezi ow’ebyettaka asisinkanye Pulezidenti Museveni n’amusaba amwawukanye ne minisita munne Betty Amongi, asobole okuwona okulinnyirirwa Aidah Nantaba bwe baludde nga tebalima kambugu.

Ensonda ezeesigika zaategeezezza nti Namuganza yasisinkanye pulezidenti n’amulombojjera ebizibu by’ayitamu mu minisitule.

Yategeezezza pulezidenti nti mukama we Betty Amongi, minisita w’ebyettaka omujjuvu alabika ng’amaliridde okumulemya emirimu ng’akolagana ne Nantaba gw’amanyidde ddala nti talina kalungi k’amwagaliza era nti amulemesezza.

Ekyasinze okuggya Namuganza mu mbeera, ye Betty Amongi okwesitula ne Nantaba ne bagenda ku mukolo gw’abakyala be Namutumba ku nkomerero y’omwezi oguwedde nga takimanyiiko ye ky’agamba nti baali bamusoomooza.

Namuganza yasabye pulezidenti bwe kiba kisoboka akole enkyukakyuka mu minisitule gy’alimu.

Yasabye ku ye ne Amongi kubeeko akyusibwa, ku lw’obulungi bwa minisitule.

Ensisinkano eno Namuganza yagivuddemu nga musanyufu, oluvannyuma lwa pulezidenti okumusuubiza nga bw’ajja okubaako ky’akolawo okusalira embeera eno amagezi.

Mikwano gya Namuganza gyategeezezza nti basuubira ng’omuntu waabwe ajja kufuna ku buwerero mu kiseera ekitali ky’ewala.

Baagambye nti Amongi talina kweyinula nnyo kutuuka kulowooza nti wa kitalo, kuba wa UPC!

Minisita Namuganza bwe twamutuukiridde yagaanye okwogera ku by’okuloopera pulezidenti embeera gy’akoleramu emirimu.

Minisita Aidah Nantaba yategeezezza nti ye okugenda e Namutumba ku mukolo gw’abakyala yayitibwa ng’omugenyi omukulu.

Yagambye nti kyali tekimwetaagisa kusooka kufuna lukusa okuva ewa Namuganza kuba naye bw’aba agenda e Kayunga gy’akiikirira tasooka kumusaba wadde okumutegeezaako.

Nantaba azze akiggumiza nti Namuganza aliko abamuli emabega omuli n’abanene mu bitongole by’ebyokwerinda. Bano agamba nti azze abalwanyisa ng’abalemesa okubba ettaka e Kayunga.

Mu February wa 2017 Namuganza ne Nantaba baawaanyisiganya ebisongovu ku Hotel Africana bwe baali mu lukiiko lw’ababaka abava mu Buganda nga boogera ku nsonga z’ettaka.

Kyaddirira Namuganza eyali akubiriza olukiiko okugamba Nantaba afunze ku bigambo bye yali ayogera kuba obudde bwali buyise. Minisita Betty Amongi ye yakkakkanya embeera ne yeetondera n’ababaka ba Buganda ku kyali kituuseewo. Amongi bwe yatuukiriddwa yagaanye okwogera ku nsonga eno n’ategeeza nti Namuganza y’aba abyogerako. Esther Mbayo Mbulakubuza, minisita w’ensonga za pulezidenti yategeezezza nti pulezidenti y’alina obuyinza obusembayo era ng’asobola okukola ku butakkaanya bwonna obuba buliwo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Yaga 220x290

Omusajja ayagala kunzigyako mwana...

NZE Uwineza Adiah nnina emyaka 26 nga mbeera Lubaga. Okuva lwe nafuna olubuto, baze yagaana okuddamu okundabirira...

Ssenga1 220x290

Nina bulwadde ki?

NINA emyaka 25 naye seegattangako na mukazi yenna kuba buli lwe ngezaako okwegatta nkoma ku mulyango ne njiwa....

Leka 220x290

Owapoliisi yesse lwa bwavu

OMUSERIKALE wa poliisi eyawummula, Robert Mugume asangiddwa nga yeetuze.

Kadi2 220x290

Kadaga awabudde ku bbula ly'emirimu...

SIPIIKA Rebecca Kadaga ategeezezza nti ebbula ly’emirimu mu bavubuka ky’ekimu ku bisinze bikwatagana butereevu...

Dhyljrxcaaw1zm 220x290

Museveni asisinkanye minisita wa...

MINISITA wa German ow’ensonga z’ebweru asisinkanye Pulezidenti Museveni n’asaba amawanga g’ebweru okuyamba Uganda...