TOP
  • Home
  • Agawano
  • Eyasimatukka tulansifooma asiibuddwa: Yakutuka embiriizi 5, n'amawugwe gaaseseetuka

Eyasimatukka tulansifooma asiibuddwa: Yakutuka embiriizi 5, n'amawugwe gaaseseetuka

By Joseph Mutebi

Added 21st April 2017

EMBEERA ya Rose Muyinza Ssebaggala omusomesa wa Kabojja International School eyasimattuka okubetentebwa tulansifooma ya UMEME eyamukubira mu mmotoka ye mu kibuga ezzaamu ku maanyi wadde akyali mu bulumi bungi. Era akabenje kano akalojja bwati; “Ebya Katonda byewuunyisa!

Ssebaggalawifebyjmutebi9 703x422

Tulansifooma eyagwiira Muyinza (mu katono0 ng'avuga mmotoka ye ku Dewinton mu Kampala. EBIFAANANYI BYA JOSEPH MUTEBI

Nakeera kutwala muwala wange Martin Nampala ku ssomero ne mpitirako ku ofiisi ya baze John Kigozi Ssebagala ku Dewnton okumpi ne Spear Motor okusoma ku bitabo kubanga nnali ηηenda mu kibuuzo ku yunivasite e Nkozi.

Ku ssaawa nga 4:30 nava ku ofiisi ya baze okwolekera yunivasite kyokka nga sinnasalawo we hhenda kuyita. Nga mmaze okufuluma paakingi ya Walusimbi Garage ku Dewinton nayagala okwambuka ku National Theatre kyokka nga mmotoka zikutte nnyo.

Nasalawo okukkirira mpite ku Yusuf Lule kubanga nalaba nga mmotoka zitambula. Wabula mbeera nserengeta ne ndaba emiti ebiri egiriko tulansifooma gusiguse gijja ne nsobeerwa!!

Nalowooza nkube ‘livansi’ oba nnyongeze omuliro naye ng’obudde buweddeyo. Akataayi tekaasala ekintu ne kibwatuka era olwo tulansifooma yali emaze okubyabyataza mmotoka yange nga egifunyizzafunyizza”, Muyinza bw’atenda bwe yasimattuka.

 uyinza ali ku ndiri awaka e uteete Muyinza ali ku ndiri awaka e Luteete

Ayongerako nti, “Wadde nnali wakati mu ntiisa era mu kufa nasigala ntegeera. Nalaajana bannyambe kyokka nga buli omu atya amasannyalaze okumukuba.

Ate endabirwamu za mmotoka yonna nnali nzisibye olwo nga n’omukka ntandise okubaka omubake. Ekyaddako kutanaka okutuusa poliisi bwe yaleeta ekimotoka ekyasintulako tulansifooma ne ntwalibwa mu ddwaaliro.”

OBUVUNE BWE YAFUNA

Muyinza baamusiibudde ku Paasika n’adda ewuwe e Luteete ku lw’e Gayaza . Agamba nti yakutuka embiriizi ssatu ku ludda olwa kkono n’endala bbiri ku ddyo.

Ekifuba kyamenyeka, amawugwe nago gaaseesetuka era abasawo baamugambye nti yeetaaga akuuma akayitibwa ‘Spirometer; okumuyambako okuzza amawuggwe mu kifo kyago kyokka mu Uganda tekaliimu!

Omukono gwe ogwa kkono gwasannyalala ate agamba nti, ebisambi byombi nabyo byasannyalala, era tabuwulira.

 uyinza ali ku ndiri awaka e uteete Muyinza ali ku ndiri awaka e Luteete

 

Kuno kw’agatta obulumi bw’amabwa agasoba mu 30 ku bitundu by’omubiri eby’enjawulo.

Muyinza alina abaana bana era ekisinga okumuluma tamanyi lw’anaatereera kubanga okuwona obulungi yeetaaga okutwalibwa ebweru w’eggwanga.

ABA UMEME BAANUKUDDE

Muyinza si musanyufu eri aba UMEME b’agamba nti, okuggyako lwe baamukyalira ng’akyali ku ‘Oxygen’ ate nga tategeera ne baleka ekimuli ku kitanda abadde taddangamu kubawuliza.

Omwogezi wa UMEME Stephen Ilongole yagambye nti, bakimanyi nti ensobi yaliwo era babadde baagala okulaba Muyinza naye ng’abamu ku ba famire n’abeeyita balooya nga bamutaddeko olukomera era nti ebimufaako nga babiggya ku basawo.

Illongole yagambye nti, ke bakitegedde nti asiibuddwa bagenda kumukyalira.

EMBEERA ya Rose Muyinza Ssebaggala omusomesa wa Kabojja International School eyasimattuka okubetentebwa tulansifooma ya UMEME eyamukubira mu mmotoka ye mu kibuga ezzaamu ku maanyi wadde akyali mu bulumi bungi. Era akabenje kano akalojja bwati; “Ebya Katonda byewuunyisa! Nakeera kutwala muwala wange Martin Nampala ku ssomero ne mpitirako ku ofiisi ya baze John Kigozi Ssebagala ku Dewnton okumpi ne Spear Motor okusoma ku bitabo kubanga nnali hhenda mu kibuuzo ku yunivasite e Nkozi. Ku ssaawa nga 4:30 nava ku ofiisi ya baze okwolekera yunivasite kyokka nga sinnasalawo we hhenda kuyita. Nga mmaze okufuluma paakingi ya Walusimbi Garage ku Dewinton nayagala okwambuka ku National Theatre kyokka nga mmotoka zikutte nnyo. Nasalawo okukkirira mpite ku Yusuf Lule kubanga nalaba nga mmotoka zitambula. Wabula mbeera nserengeta ne ndaba emiti ebiri egiriko tulansifooma gusiguse gijja ne nsobeerwa!! Nalowooza nkube ‘livansi’ oba nnyongeze omuliro naye ng’obudde buweddeyo. Akataayi tekaasala ekintu ne kibwatuka era olwo tulansifooma yali emaze okubyabyataza mmotoka yange nga egifunyizzafunyizza”, Muyinza bw’atenda bwe yasimattuka. Ayongerako nti, “Wadde nnali wakati mu ntiisa era mu kufa nasigala ntegeera. Nalaajana bannyambe kyokka nga buli omu atya amasannyalaze okumukuba. Ate endabirwamu za mmotoka yonna nnali nzisibye olwo nga n’omukka ntandise okubaka omubake. Ekyaddako kutanaka okutuusa poliisi bwe yaleeta ekimotoka ekyasintulako tulansifooma ne ntwalibwa mu ddwaaliro.” OBUVUNE BWE YAFUNA Muyinza baamusiibudde ku Paasika n’adda ewuwe e Luteete ku lw’e Gayaza . Agamba nti yakutuka embiriizi ssatu ku ludda olwa kkono n’enddala bbiri ku ddyo. Ekifuba kyamenyeka, amawugwe nago gaaseesetuka era abasawo baamugambye nti yeetaaga akuuma akayitibwa ‘Spirometer; okumuyambako okuzza amawuggwe mu kifo kyago kyokka mu Uganda tekaliimu! Omukono gwe ogwa kkono gwasannyalala ate agamba nti, ebisambi byombi nabyo byasannyalala, era tabuwulira. Kuno kw’agatta obulumi bw’amabwa agasoba mu 30 ku bitundu by’omubiri eby’enjawulo. Muyinza alina abaana bana era ekisinga okumuluma tamanyi lw’anaatereera kubanga okuwona obulungi yeetaaga okutwalibwa ebweru w’eggwanga. ABA UMEME BAANUKUDDE Muyinza si musanyufu eri aba UMEME b’agamba nti, okuggyako lwe baamukyalira ng’akyali ku ‘Oxygen’ ate nga tategeera ne baleka ekimuli ku kitanda abadde taddangamu kubawuliza. Omwogezi wa UMEME Stephen Ilongole yagambye nti, bakimanyi nti ensobi yaliwo era babadde baagala okulaba Muyinza naye ng’abamu ku ba famire n’abeeyita balooya nga bamutaddeko olukomera era nti ebimufaako nga babiggya ku basawo. Illongole yagambye nti, ke bakitegedde nti asiibuddwa bagenda kumukyalira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bombersbrazeville2copy 220x290

Tikiti ezitwala ttiimu y'ebikonde...

Wade ng'ebula ennaku 4 empaka za Africa Boxing Championships ziggyibweeko akawuuwo e Congo Brazeville, ekibiina...

Musevenipik 220x290

Museveni alagidde layini z'amasimu...

Pulezidenti Museveni alagidde amasimu gazzibweko: Ayongezzaayo okwewandiisa okutuusa nga 30 August.

Africain01 220x290

Owa Tunisia kufiira ku KCCA FC...

Omutendesi wa Club Africain eya Tunisia Chiheb Ellili aweze nga bwe bazze n'ekigendererwa kimu kyokka kya kukuba...

Mwebe 220x290

Fayinolo ya Uganda Cup eyongeddwaayo...

AKAKIIKO ka FUFA akategeka empaka kajjuludde olunaku olubadde olw’okuzannyibwako fayinolo y’empaka za Uganda Cup...

Duka1 220x290

Ssebatta awonye ddukadduka w’amabanja:...

FRED Ssebatta awonye ddukadduka w’amabanja, Gen. Salim Saleh bw’amuwadde kavvu oluvannyuma lw’okumusindira ennaku...