TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Okukuba ekyeyo e Buwarabu: Teri kuddamu kusasuza bagendayo ssente

Okukuba ekyeyo e Buwarabu: Teri kuddamu kusasuza bagendayo ssente

By Musasi wa Bukedde

Added 19th May 2017

Gavt' eragidde kkampuni ezitwala abantu ebweru naddala mu kyondo kya Buwarabu obutaddamu kuggya ku bantu ssente.

Pius4 703x422

Pius Bigirimana

BYA MARY NAMBWAYO

Bino byayogeddwa omuwandiisi w’enkalakkalira mu Minisitule y'abakozi n’ekikula ky’abantu, Pius Bigirimana mu lukung'aana lwa bannamawulire ku Media Centre mu Kampala.

Bigirimana yagambye nti abavubuka bonna abagenda ebweru tebagenda kuddamu kusasula ssente za viza wamu ne tikiti z'ennyonyi ezibatwala n'okubazza kuba Gavumenti yatuuse ku nzikiriganya n'amawanga g'Abarabu okukkiriza Bannayuganda okukolerayo, n'olwekyo kkampuni zisasulira entambula y'abagendayo okukuba ekyeyo.

Wabula Bigirimana yasabye abantu okwewala okukozesa kkampuni ezitabasasulira tikiti kuba kuba singa omukozi amala n'afuna obuzibu naddala okutulugunyizibwa, oluusi kiba kizibu okulondoola.

Yayongeddeko nti Gavumenti egenda kukola kyonna ekisoboka okulondoola abakolera ebweru, okulaba nga bayisibwa bulungi, basasulibwa bulungi

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Zika3 220x290

Nnyina wa Mulindwa Muwonge ayogedde:...

Nnyina wa Mulindwa Muwonge, Maria Namagembe akungubagidde mutabani we era akumye olumbe mu makaage agasangibwa...

Si 220x290

Minisitule etongozza akuuma akakebera...

MU kaweefube wa Gavumenti ne minisitule y’ebyobulamu okulwanyisa obulwadde bwa mukenenya mu ggwanga, Gavumenti...

Mao1 220x290

Poliisi yezoobye n'aba DP: Mao...

Pulezidenti wa DP, Nobert Mao bamuggalidde.

Bre 220x290

Eyakubwa poliisi amasasi mu kwekalakaasa...

KYADDAAKI omukazi eyakubwa poliisi amasasi mu kwekalakaasa kwa ‘Walk to Work’ e Kajjansi afunye ku ssanyu kkooti...

Dfgkithwsaqxwrojpglarge 220x290

Aboogera ku by'ekkomo ku myaka...

PULEZIDENTI Museveni ayanukudde abagamba nti ayagala kukyusa Ssemateeka w’eggwanga aggye ekkomo ku myaka 75, n’ategeeza...