TOP

Nfa ku mutindo, si bungi oba bunene

By Musasi wa Bukedde

Added 7th August 2017

OMULIMI ayagala okufuna obulungi mu kulima olusuku waliwo ebintu eby’enjawulo by’osaanye okugoberera kyokka okulunda n’okulima ssinga obigatta olwo olusuku oba olumaze.

Mukasa1 703x422

Mukasa mu nte z’alunda.

KKAMPUNI ya Vision Group efulumya Bukedde, ekwataganye ne bbanka ya DFCU, ekitebe kya Budaaki mu Uganda ne kkampuni y’ennyonyi eya KLM okunoonya omulimi n’omulunzi asinga mu Uganda omwaka gwa 2017.

Abanaavuganya mu mpaka zino mujja kutuweereza amannya gaabwe ku omulimiasinga@newvision.co.ug oba 0752628931 tubatuukirire tubawandiikeko buli Mmande.

EDWARD SSERINNYA NE EMMANUEL SSEKAGGO leero bawandiise ku Michael Mukasa, omulimi w’e Nakatyaba mu Buikwe ng’akulaga bw’afunye mu lusuku.

MULIMI KI ASINGA MU UGANDA?

OMULIMI ayagala okufuna obulungi mu kulima olusuku waliwo ebintu eby’enjawulo by’osaanye okugoberera kyokka okulunda n’okulima ssinga obigatta olwo olusuku oba olumaze.

Gano ge gamu ku magezi Micheal Mukasa 37, omulimi ku kyalo Nakatyaba mu disitulikiti y’e Buikwe ge yasala okusobola okufuna mu lusuku era teyejjusa.

Alima ebitooke okuli Kisansa, Nakitembe, Kibuzi n’ebika ebinnansi ebirala kubanga yakizuula nga bino ebika bigumira embeera y’obudde okusinga Mpologoma ate tebyetaaga nnyo kukozesa nkondo.

Kuno agattako okutema ensalosalo, zino za mugaso okukuuma awamu ettaka ne bw’oba olusuku lwo walusimba ku kasozi mukoka tasobola kutwala ttaka olw’ensalosalo okukwata mukoka. Ate era olusuku ne bwe luba terunanbikibwa era amazzi tegasobola kukuluggusa ttaka anti ensalosalo ziba zigakwata.

 ukasa ngasalira olusuku temamu engegere okukwata amazzi obutakuluggusa ttaka Mukasa ng’asalira olusuku. Atemamu engegere okukwata amazzi obutakuluggusa ttaka.

 

NTANDIKA FFAAMU Anyumya:

Ekirowoozo ekyo nakifuna okuva e Wakiso gye nali nkola ku ffaamu ya mukama wange, wabula nga bw’omanyi eby’okukozesebwa nga ndaba nfuna kitono wano we nava okusalawo okudda ku ttaka lya jjajjange okulikozesa kuba buli kino nali nkimanyi.

Mu 2012 nasalawo okutandika okukola ebyangeObuyiiya Okwekolera nnakavundira okuva mu muddo ogw’enjawulo okusobola okufunamu ekigimusa ate n’obusa obuva mu nte n’enkoko nabwo sibusuula, mbuzza mu lusuku.

Wabula nga kati ngenda na kukola ggaasi, kuba ndabye nga kisoboka okukozesa ente zino okuvaamu amasannyalaze agafumba.

Ffaamu eno etudde ku bugazi bwa yiika nnya, nnundirako enkoko ehhanda 500 kyokka nazimanyiiza era nzita ne zitaayaaya, ente za maleeto ssatu nga za mu kiyumba okwo gattako yiika z’olusuku ssatu.

Ennima ey‘omulembe Amaanyi gange nagassa mu kulima olusuku, mu nnima ey’omulembe.

Ekimu ku bye nkola okulaba ng’olusuku lwange luba lulungi kwe kuba ng’ebitooke mbisimba mu mabanga ga ffuuti 12 ku 12 kubanga wano bisobola okwegazaanya obulungi ne bissa enkota ennene.

Ekirala kye nteekako amaanyi kwe kulaba nga ntema ensalosalo mu nnimiro okukwata amazzi ne kinnyamba okuba nga mu biseera by’ekyeya sifuna buzibu bw’amaanyi.

Wabula ekirala ekikulu kye nkola kwe kulaba nga nzitira bulungi ebitooke, ne mba nga mbirekako endu ssatu buli kitooke ekitegeeza nti omwaka buli kikolo nsobola okukifunako enkota ssatu. Kino kinnyamba okwongeza ku nnyingiza.

Nkozesa okubikka olusuku, wano ekisinga okutawaanya abalimi kwe kubulwa ebisubi, naye ssinga ofuna ebisubi kikulu nnyo okubikka kuba bikuuma amazzi mu ttaka n’okuba ng’omuddo tegumera nnyo. Wabula ssinga kiba kisoboka kirungi okusimba emiti mu lusuku ng’emisizi, emituba n’emigavu gino nagyo giyambako okukwata empewo.

 mu ku mbizzi ze zalunda Emu ku mbizzi ze z’alunda.

 

Ebaddewo kumala bbanga ki?

Ffaamu emaze ebbanga lya myaka etaano, ate nnina essuubi nti ejja kubaawo ekiseera kyonna kubanga ffaamu eno si yange, omukyala n’abaana nabo bagirinamu omukono nga ne bwe mba siriiwo esobola okubaawo n’etambula.

Ekimu ku bye nkola kwe kukuuma emiti ku ffaamu, kino kiyamba okukuuma obutonde bw’ensi.

Kyokka mwattu ne bannasaayansi batugamba nti ebitooke nabyo birina engeri gye bikuumamu obutonde bw’ensi, mu ffaamu nninamu ensalosalo nga zikwata amazzi ettaka ne litakulugguka.

Akatale Akatale kansanga waka ekiseera kyonna, amatooke bbeeyi bw’eba nga ya wansi bagagula 10,000/- kyokka olumu galinnya ne gatuuka ku 20,000/- ku mugogo.

Wabula ntera n’okuguza ebitongole nga World Vision. Ate olumu abasuubuzi bava Kampala ne bajja okugula n’abantu bennyini ku kitundu nabo bakasitoma bange.

Mu yiika zange essatu buli mwaka mba nsobola okufunamu obukadde 18.

Kino kijja kuba nze mbala nti buli kikolo nkifunako enkota ssatu ate nga buli yiika ngibalamu ebikolo 400, nga nziseeko ebikolo 50 nga gano ga kulya n’okuwa ku mikwano n’oluganda.

Ekiteegeza nti ebitooke 800 bw’okubisaamu emirundi esatu obeera mu 2,400 ze ntema buli mwaka.

Kyokka nze era mbala nti nfuna obukadde 18. Kuba buli yiika omwaka ngizzaamu obukadde bubiri n’ekitundu ku bakozi n’ebigimusa.

Weerinda otya akatyabaga?

Obuzibu obusinga mbufuna ku bulwadde ate kuba waliwo n’olumu lwe nafiirwako ente yange gye nali nasooka okugula, naye kino tekyammalaamu maanyi kuba nali nterese ssente okuva mu lusuku era ze nakozesa okuzzaawo ente ate ku luno nagula bbiri. Mu kiseera kino zombi ziri ggwako.

Ffaamu yange erina erinnya, ate nange agiddukanya ndi mwesigwa. Kituufu olumu ebintu bisobola okusikattiramu naye sinnaba kutandika kugenda mu bbanka wabula ngenda mu bbanka yaffe (sacco) ey’oku kyalo, basobola bulungi okumpola ne nnyongera amaanyi mu ffaamu yange.

Kino tekiyamba nzekka wabula n’abantu abalala ku kyalo nga ffe tetulekayo n’okuggyayo ssente.

Okwata otya ebintu by’okungudde okuva mu nnimiro Olw’okuba nga nkungula okusinga mmere mbisi, kale ekikulu kuba kugikuuma nga tewaguse mu kuyunja, kino nfuba okukikola ekiseera kyonna kuba mmanya nti buli lwe gafa ate nze nfiirwa ssente.

Kyokka engeri gye naatera okutandika okukama amata ate nga nsuubira okufunanga liita 30 buli lunaku, wano ekikulu kwe kukuuma obuyonjo ate amata kyakulya.

 ukasa alaga ekinnya wansi gyaziika ebigimusa Mukasa alaga ekinnya wansi gy’aziika ebigimusa.

 

Okufuna amagezi n’okugasa abalala

Ekimu ku bye nazuula nti tosobola kwongera ku mutindo gw’ebintu by’olima bw’oba oba okulunda nga tofunye magezi, nfuna obudde obukyala ku ffaamu za bannange n’embaako byenjiga ate nange ne mbireeta ewange.

Kyokka ne ku ffaamu yange waliwo abajja ne babaako bye bayigirawo.

Sikoma awo wabula ngenda ne mu myoleso egy’enjawulo nga kye nnoonya kuyiga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ji1 220x290

Poliisi eggalidde abasirikale baayo...

Poliisi eggalidde abasirikale baayo 10 ku misango egy'enjawulo

C111a580e9174d5997f3a6a40439e2b818 220x290

Raila Odinga addukidde mu kkooti...

RAILA Odinga yeefukuludde n’addukira mu kkooti ensukkulumu okuwakanya obuwanguzi bwa Uhuru Kenyatta ku bwapulezidenti...

Yaga 220x290

Omusajja ayagala kunzigyako mwana...

NZE Uwineza Adiah nnina emyaka 26 nga mbeera Lubaga. Okuva lwe nafuna olubuto, baze yagaana okuddamu okundabirira...

Ssenga1 220x290

Nina bulwadde ki?

NINA emyaka 25 naye seegattangako na mukazi yenna kuba buli lwe ngezaako okwegatta nkoma ku mulyango ne njiwa....

Leka 220x290

Owapoliisi yesse lwa bwavu

OMUSERIKALE wa poliisi eyawummula, Robert Mugume asangiddwa nga yeetuze.