TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Hajjat bamunyaze obukadde 60 ez'okugula ennyumba

Hajjat bamunyaze obukadde 60 ez'okugula ennyumba

By Musasi wa Bukedde

Added 12th August 2017

Hajjat Zahara Nkinzi 70, ow’e Gayaza asobeddwa oluvannyuma lwa babbulooka abanoonya amayumba okumutwala okugula ettaka kyokka ne bamwefuulira ne bamukuba kalifoomu ne bamunyagako obukadde 60.

Noonya 703x422

Ennyumba y’e Matugga gye baali baguza Hajjati Nkinzi mu katono

Nkinzi agamba nti yatunda ennyumba ye e Gayaza ku bukadde 60 ng’ayagala afune ekifo ekigazi era n’atandika okukinoonya.

Yagambye nti waliwo omusajja eyamutuukirira nga bamuyita Sheikh ne batandika okutambula naye nga banoonya ettaka.

Baatambula mu bifo ebyenjawulo omuli, Kisaasi ne Ntinda nga buli we batuuka ng’ennyumba ziri ku buseere okutuusa bwe yamutwala e Matugga ku Mabanda nga baagenda okutuukaayo ng’obudde buwungedde.

Nkinzi yagambye nti ennyumba yagisiima n’amutegeeza nga bw’agenda okusasula enkeera okuva ssente bwe yazirina.

Twali tulambula ennyumba omusajja n’aggyayo akatambala mu nsawo n’akasembeza okumpi nange era we nakoma okutegeera nga ndowooza mwalimu kalifoomu era nagenda okudda engulu nga ssaawa ziri mu 6:00 oz’ekiro nga ndi mu nnyumba yange nzekka.

Saamanya ngeri gye natambula okuva ku nnyumba gye twali tulambula okutuuka awaka wange.

Olwadda engulu nasooka kukebera mu kifo we nnali ntadde ssente zange obukadde 60 nga teziriiwo.

Ensonga nnazitwala ku poliisi y’e Matugga ne bagezaako okunoonya omusajja ono ne banne be yali nabo kyokka nga babbuloka b’amayumba tebabamanyi mu kitundu kino.

Ennyumba gye yatunda mutabani we Frank Nsubuga eyafa ye yagingulira nga kati asula mu maka ga muwala we Jalia Namuyimbwa e Bukoto.

“Waliwo we ntuuka ne ndaba ng’embeera enkaluubiridde, ng’olumu nnali nziggyeyo akambe ne saleko obulago kyokka ne bantaasa”, bwe yagambye.

Jonathan Luwaga, ssentebe wa Lwadda B e Matugga yagambye nti ennyumba gye baali baguza Nkinzi bagamba nti ya mugagga kyokka abantu abasulamu tebategeerekeka

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Speaker703422 220x290

Kadaga ayambalidde Gavt' ku kwonoona...

SIPIIKA Rebecca Kadaga ayambalidde minisitule y’obutonde bw’ensi n’alumiriza nti tekoze kimala kussaawo kaweefube...

Gaana703422 220x290

Mutebile yeerwanyeeko ku kuggalawo...

GAVANA wa bbanka Enkulu Tumusiime Mutebile agambye nti ssi kituufu nti Bank of Uganda yayanguyiriza okweddiza Crane...

Ge1 220x290

Abakima amazzi ku ddaamu ya Ssekabaka...

Abakima amazzi ku ddaamu ya Ssekabaka e Mawogola bibasobedde

Ha1 220x290

Omubaka wa Pulezidenti alabudde...

Omubaka wa Pulezidenti e Masaka alabudde abakola enguudo e Masaka

Hi1 220x290

Abatuuze bavudde mu mbeera ne balumba...

Abatuuze bavudde mu mbeera ne balumba Poliisi Y'e Mpigi