TOP

Ab’e Bwaise basomesa abawala okukola paadi

By GODFREY LUKANGA

Added 20th April 2017

ABAKYALA b'e Bwaise mu munisipaali y'e Kawempe bayiiyizza paadi ezisobola okukozesebwa abawala okumala omwaka mulamba ssinga zirabirirwa bulungi ekinaabakuumira mu masomero.

Paadi1 703x422

A bakyala nga balaga paadi eziwedde okukola.

Bya GODFREY LUKANGA

ABAKYALA b'e Bwaise mu munisipaali y'e Kawempe bayiiyizza paadi ezisobola okukozesebwa abawala okumala omwaka mulamba ssinga zirabirirwa bulungi ekinaabakuumira mu masomero.

Saluwa Nabuule, mmemba w'ekibiina ky'abakyala ekya Tusitukirewamu Group agamba nti embeera y'ebyenfuna by’abantu mu Bwaise y’ebawalirizza okutandika okukola paadi ennyangu okukozesa abawala n'abakyala abatalina busobozi bwa kugula eziri ku buseere ezikozesebwa olumu n’osuula.

ENKOLA YA PAADI ZINO

Nabuule annyonnyola nti, ku bye bakozesa mulimu ppamba gwe bagula mu bulwaliro n’amaduuka agatunda eddagala ku ssente z'obeera nazo kuba atandikira ku 3,000/- ng'ono avaamu paadi eziri wakati wa 20 ne 25.

Goozi naye bamugula mu bifo bye bimu nga naye atandikira ku 3,000/- ng'ono akozesebwa ku paadi nnyingiko kuba agenda kitono. Engoye eza ppamba agonda bazigula mu katale ka St. Balikuddembe nga kisinziira ku ssente z'obeera nazo.

Oyinza okugula olwa 2,000/- n'osalamu ebiwero ebikola paadi eziri wakati wa 15 ne 18 kuba babutungira mu maaso n'emabega wa paadi.

Ekidondi kya wuzi n'empiso bigula 500/-.

Akaveera akakozesebwa nako okagula ku bulwaliro buno nga katandikira ku 5,000/-, naye kano kakozesebwa ku paadi ezisukka mu 30 kuba nako kagenda kitono. Mu buli paadi muteekebwamu kamu.

l Sala obutundu bwa ppamba ne goozi mu sayizi entonotono n'akagoye ka ppamba akagonvu mu bipimo eby'ekigero. l Bw’oba ozinga paadi osooka ppamba asaliddwa n’omuzinga mu kitundu kya goozi gw'osaze obulungi.

Goozi n'akaveera biyamba okukwata omusaayi ne gutayitamu. l Bw’omaliriza, teeka akawero k'olugoye lwa ppamba agonda wansi oteekeko akaveera ke wasaze, zzaako ppamba gwe wazinze mu goozi osembyeyo akawero akalala akakoleddwa mu ppamba agonda kungulu awo otandike okutunga paadi n'empiso ey'engalo.

Ku paadi batungirako obuwuzi obutono obukozesebwa okusiba paadi ku mpale.

Akulira ekibiina kino, Florence Masuliya agamba nti batandise okutalaaga mu masomero nga bayigiriza abawala okuzeekolera nga batungisa empiso ez'engalo kuba amaka mwe bava tegaliimu by'alaani ate nnyangu okwekolera nga bakozesa ssente entono.

ENDABIRIRA YAAZO

Paadi zino okwawukanako n'eza bulijjo, bwe bamala okuzikozesa bazooza n'amazzi amabisi n'oluvannyuma ne bazinyumunguza mu mazzi agalimu omunnyo omutono okutta obuwuka.

Omuwala kimwetaagisa okubeera ne paadi mukaaga kuba buli lunnaku abeera alina kukosesa waakiri ssatu olwo bw'azooza n'aleka ng'azaanise mu musana okukala obulungi kuba bw'azambala nga tezikaze zizaala obuwuka obumulwaza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ga1 220x290

Baze yatulekawo n’agenda ne muk’omusajja...

NZE Harriet Abigaba 36, mbeera Kirinnya mu Kito Zooni e Bweyogerere.

Ssenga1 220x290

Ntuuka mangu ku ntikko

Nze Umar e Luweero, lwaki ndyako katono eky’ekiro ne ndeeta ag’emugga? Nsaba ompe ku ddagala kubanga omukyala agenda...

Lya 220x290

Sheilla Gashumba agenze mu BET...

SHEILLA Gashumba agudde mu bintu. W’osomera bino ng’ali ku nnyonyi agenda mu kibuga Los Angels ekya Amerika okwetaba...

Bata 220x290

Oba Mary Bata wa langi mmeka!

OMUYIMBI Mary Bata tafaanagana!Alina langi za mirundi esatu era ssinga omutunuulira ku bigere oyinza okulowooza...

Nelson 220x290

Bakunyizza RDC Kyeyune ku by’ettaka...

RDC wa Wakiso, Ian Kyeyune asanze akaseera akazibu omulamuzi w’akakiiko akassibwawo okunoonyereza ku mivuyo gy’ensonga...