TOP

Kabaka alaze ekisibye abavubuka mu bwavu

By Musasi Wa

Added 20th November 2011

LYABADDE ssanyu nga Ssaabasajja alabikako eri Obuganda ku mbuga ya Kaamuswaga mu Ssaza lya Kkooki ku bikujjuko by’okujaguza olunaku lw’abavubuka.

2011 11largeimg220 nov 2011 175309537 703x422

Bya Ali Mambule ne  Lillian Nalubega

LYABADDE ssanyu nga Ssaabasajja alabikako eri Obuganda ku mbuga ya Kaamuswaga mu Ssaza lya Kkooki ku bikujjuko by’okujaguza olunaku lw’abavubuka.

Ng’ayingira Kooki e Ssanje yayaniriziddwa Kaamuswaga Ssansa Kabumbuli II n’abakungu be ku Lwokutaano akawungeezi.

Yatuseeko ku New Hope Primary School, ettendekero lya Rakai Nursing School, Rakai Hospital ettendekero ly’e Byobulimi erya DATIC wamu n’okulambula abantu abakola emirimu egy’enjawulo.

Ku mbuga e Kooki yayaniriziddwa Kaamuswaga ne Katikkiro wa Buganda Ying. J.B.Walusmbi, era ng’omukolo gwetabiddwaako Namasole Zzirimbuga, Maama wa Kaamuswaga, abakungu okuva e Mmengo, ababaka ba Palamenti, Bannaddiini n’abakungu abalala bangi.

Kaamuswaga n’ab’olulyo olubiito baakakasizza Ssaabasajja nga bo ab’omulembe guno bwe batayinza kwetantala n’okweteekako ekikwa okumenyawo endagaano eyakolebwa bajjajjaabwe okwekutula ku Buganda era bwe ne basaba wabeewo ensisinkano ne Kabaka bongere okumukakasa.

Kabaka yasiimye Abakooki olwokumwaniriza obulungi. Kabaka yalabudde abavubuka ku mulabe wa Buganda ow’olulango ‘Obwavu, butamanya n’endwadde’  era ne yeeyama n’akikkaatiriza nti mwetegefu okuteesa n’omuntu yenna aba n’ekigendererwa eky’okutereeza n’okukulaakulanya Buganda.
 


Kamuswaga (akutte omuggo) n’abakungu be e Ssanje  ku kiyitirirwa nga balindirira Kabaka okuyingira mu Kooki.

Kabaka ng’ayanirizibwa Kamuswaga.

Bannaddiini nga basabira omukolo.

Omukulu w’abavubuka ng’akwasa Kabaka ekiwandiiko.

Kabaka (mu tenti y’oku kkono) ne Kamuswaga (ku ddyo)  ku mukolo.\

 

Kabaka alaze ekisibye abavubuka mu bwavu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Amutebi 220x290

Omukadde gwe baakoonedde enju e...

Effujjo lino lyabaddewo ku Ssande ku ssaawa nga 6:00 ez’ekiro era poliisi yawaliriziddwa n’okukuba amasasi mu bbanga...

Wakiso 220x290

Bazudde ‘kacica’ mu ofiisi y’ebyettaka...

EMIVUYO egiri mu ofiisi ya minisitule y’ebyettaka esangibwa e Wakiso ku kitebe kya disitulikiti giwuniikirizza...

Traore 220x290

Wenger yeebalamye eby’okutendeka...

OMUTENDESI wa Arsenal, Arsene Wenger yagambye nti musanyufu olwa ttiimu ye okuwangula FC Basel eya Switzerland...

Vipers 220x290

Vipers erinze KCCA

Ng’oggyeeko ttiimu okuwangula n’etwala obubonero obugiyamba okwenywereza mu bifo ebirungi, ogwa Vipers ne KCCA...

Goatknock 220x290

Abadde atendeka embuzi emwefuulidde...

SWAHABA atendeka embuzi naddala zisseddume okutomera awuuniikirizza ab’e Kammengo bwe bamuleetedde embuzi n’atandika...