TOP
  • Home
  • Buganda
  • Omubaka Sseggona ayambalidde abavubuka Abaganda abatamiivu

Omubaka Sseggona ayambalidde abavubuka Abaganda abatamiivu

By Muwanga Kakooza

Added 20th April 2017

Agamba nti abakikola bavumaganyisa Obuganda n’okubuweesa ekifananyi ekibi ennyo.

Kyado1 703x422

Omubaka Sseggona (ddyo) ng’abuuza ku bakulembeze b’abavubuka ba Buganda ab’esaza ly’e Kyadondo Geoffrey Mubiru n’omumbejja Ronah Nakabiri

EYALI minisita w’e Mmengo  nga kati  mubaka wa Busiro East, Edward Lubega Sseggona  alabudde abavubuka mu Buganda okwewala  ettamiiro n’okwambala obubi.

Sseggona agamba nti abavubuka abamu bayitiridde okukeera okutamiirukuka n’okwambala engoye ezaabiridde ebitogi n’agamba nti kino oluusi kye kibammisa n’emirimu n’okuleetera  abazadde olumu okubamma bawala baabwe be bandiwasizza.

Yabadde ayogerera mu musomo  gw’enneeyisa ogutegekeddwa  olukiiko lw’abavubuka ba Buganda ab’essaza ly’e Kyaddondo olwa ‘Buganda Youth Counci’ abakulemberwa Omumbejja Ronah Nakabiri ne Geoffrey Mubiru  nga luli wamu n’ekibiina kya ‘’Ssuubi lya Buganda.’’

Gwabadde ku ssaza e Kasangati okumpi n’e Gayaza. Era gwetabiddwamu  akulira amyuka Kaggo, Agnes  Nakibinge.

Sseggona yavumiridde abavubuka abadda mu kuleebeeta abakulembeze mu kifo ky’okukola n'agamba nti kirungi beetandikirewo emirimu n’oluvannyuma balyoke basabe abakulembeze okubakwasizaako.

Yagambye abavubuka abatakola kyangu okubuzaabuzibwa ne batwalibwa mu bikolwa by’okumenya amateeka.

Yabakunze okwettanira ebifo  by’obukulembeze awatali kusosola bifo n’awa eky’okulabirako ky’ebifo  omuli eby’eddiini, ku  byalo n’ewala byonna ebitalina kusuulibwa muguluka.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

United1 220x290

Bano abavunaaniddwa be batta Andrew...

KU basajja 13 abaaleeteddwa mu kkooti ne basomerwa omusango gw’okutta Kaweesi kuliko bana ababadde babeera ennyo...

Oty 220x290

Ssente ze yeekolera zimutunuzza...

ABASAWO ba poliisi kyabatwalidde akaseera okutaasa obulamu bw’omuvubuka eyanywedde omwenge n’aguyitiriza.

Sula 220x290

Abaamenye edduuka ly’omutuuze balula!...

IVAN Aine 23, ne Ronald Agaba 17, balula. Poliisi ebataasizza ku batuuze ababadde baagala okubamiza omusu.

Mba 220x290

Muwala wa Canon anywedde embwa...

GLORIA Mbabazi muwala muto ng’era bw’atandika okufuuwa Olungereza oyinza okumuyita polofeesa.

Mwoyo0 220x290

Abasumba ne bannaddiini baluηηamiza...

WIIKI okuva lwe yatandika, Paasita Aloysious Bujingo owa House Of Prayer Ministries azze atambulira ku mikutu gya...