TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Ani yakkirizza omuyimbi Cindy okuzina nga bw’ayawula mu maaso ga Kabaka!

Ani yakkirizza omuyimbi Cindy okuzina nga bw’ayawula mu maaso ga Kabaka!

By Dickson Kulumba

Added 21st April 2017

OLWOKUNA lwa wiiki ewedde ye yali entikko y’ebikujjuko by’Amazaalibwa ga Kabaka era omukolo ogwasembayo gwali gwa kijjulo ekyali mu Lubiri e Mmengo.

Laba1 703x422

Ekimu ku bibeera ku kijjulo kino be bayimbi ab’enjawulo abayitibwa okusanyusa Kabaka n’abagenyi be.

Wabula ennyambala y’abayimbi abamu erekawo akabuuza oba nga ddala bamanya omukolo kwe bajja ne gwe bagenda okusanyusa anti bamanyi okwambala mu ngeri eyeesittaza era eteraga kitiibwa kya mukolo gwe baliko.

Omwaka oguwedde, omuyimbi Sheebah Karungi yajja ng’ayambadde sikaati okuli siriiti ekoma mu bisambi waggulu! Ekyaleka abantu bangi nga batolotooma, nga nno azina bw’ayawula!

Newankubadde nga ku mulundi ogwo minisita w’ebyobuwangwa e Mmengo, Dennis Walusimbi Ssengendo yategeeza Bukedde nga bwe bali mu kaweefube w’okulaba nga badda ku basanyusa Kabaka ab’ennono, naye ne ku mulundi guno omuyimbi Ssanyu Cindy yakoze ekyennyamiza bwe yazze okusanyusa Kabaka mu kawale ak’akatimba akakutte omubiri.

Oli nga bw’abeera ewala ayinza okulowooza nti Cindy tayambadde! Yabadde n’abazinyi be nga bazina bwe baawula, baabadde bakyasanyusa abagenyi Kabaka n’ava ku mukolo nga Nnaabagereka amaze okumukuba akaama.

Wadde ng’abakungu e Mmengo baagambye nti Kabaka yabadde atuusizza okugenda, naye weebuuze nti mazina ki amatuufu okuzina ewa Kabaka?

Bw’aba nga ddala Kabaka yabadde atuusizza okugenda ate kino kibi nnyo kubanga kyoleka nti abazze okusanyusa Omutanda tebaamusanyusizza n’atuuka okubaleka nga n’amazina gaakataba ate n’abategesi ne batabaleka kumaliriza ne babasenza luti!

Sheebah Karungi
naye yayambala
bwati mu
Lubiri mu 2014.

Kuva dda nga Bakabaka banyumirwa amazina era amazina ga Kabaka amatongole bayitibwa Maggunju.

Omutaka Ggunju Mathias Kawere, akulira ekika ky’Obutiko ekizina amazina ga Kabaka amatongole agamba: Amazina Amaggunju bwe baba bagazinira Kabaka tebakiyita kugazina wabula kuba ‘Kugabina’.

Mu kubina kuno wabaawo amazina ag’ebika eby’enjawulo okuli Waggongolo Omutanda nga gano gaakubina ng’oseetuka okufaananamu aga Baakisimba.

Waliwo Kaakikya, gano ogabina amagulu gadda emabega ate mulina kubeera babiri. Eηηoma ezikubwa kuliko Kijoboje, engalabi eyitibwa Nyoolevvubuka n’obutono bubiri bwe bayita Namitongo.

Bw’oba obinira Kabaka, abazinyi balina okuba nga beesibye endege n’ekikuzzi, embeera eno eba teyeesittaza Kabaka.

Amazina Amaggunju gaava dda ku mulembe gwa Ssekabaka Mulondo, kuba ono yafuuka Kabaka nga muto. Bakkojjaabe Aboobutiko bamuyimbiranga okumubeesabeesa ngv’eno bwe babina n’okukiga.

Kabaka ng’akuze yatongoza Amaggunju okuba amazina ge, kyokka ku mulembe guno Omutebi galinga agaadibizibwa. Ggunju Kawere agamba, amazina gano gasaanye gaddewo ku mulembe guno okusanyusa Kabaka kuba ganyuma okufa era tetusobola kugazina n’osigala mu ntebe kubanga ge mazina amatongole agalina okubeera ku mikolo gya Kabaka ate n’okumusanyusa.

AZINIRA KABAKA TOLINA KUSIMBA

Annet Nandujja akulira ekibiina kya ‘The Planets’ ekizina amazina Amaganda yagambye: Ebbanga lye tuzinidde Kabaka, tuzina Baakisimba si Muwogola oba gy’oyinza okuyita ‘Free Style’.

Mu Baakisimba, amazina gaba gagenda mpola, temuba kusimba na kwawula kubanga obeera mu maaso ga Beene.

Mu mazina gano tositula kigere ku ttaka, kwe kugamba ne bwe wabaawo enfuufu tesobola kufuumuuka. Naye mu mulembe gwammwe ebintu bigenze bikyukamu, ky’ova olaba nga ku mazaalibwa ga Kabaka, abazina amazina g’ekinnansi tebakyatuyita!

Ekirala abazinyi bano balina okuba nga bambadde ebikooyi nga bikoma wansi ku bigere, mu mbeera eno tewasobola kubaawo ngeri yonna gye beesittazaamu Mutanda n’abagenyi be.

 mazina agayitibwa aakisimba agazinibwa mu maaso ga abaka Amazina agayitibwa Baakisimba, agazinibwa mu maaso ga Kabaka.

Kyokka minisita w’ebyamawulire era omwogezi w’Obwakabaka, Noah Kiyimba yategeezezza nti, “Cindy ne banne bakyali baana bato era bangi ekitiibwa ky’Obwakabaka bakirabira mu ngeri ndala. Abateesiteesi baabalambika kyokka nabo kyabagwirako awo ng’abamu bazze bambadde bwe batyo.

Noolwekyo obuvunaanyizibwa obuliwo kwe kwongera okuyigiriza abantu bano engeri gye balina okwambala mu maaso ga Kabaka.”

ABATAKA BOOGEDDE

Omukubiriza w’olukiiko lw’Abataka abakulu b’ebika David Frederick Kasibante Kayiira Gajuule yagambye nti, “Ekyo kyabadde kikolwa kya bateesiteesi wabula si Katikkiro oba Abataka nti be baakikoze kubanga mmanyi tebasobola kusalawo kukola ekyo.

Kyandibadde kirungi Katikkiro ne yeddiza obuvunaanyizibwa bw’okutegeka emikolo gy’Obwakabaka gyonna kubanga nzijukira ku mulembe gwa Katikkiro Mulwanyammuli, buli kimu kyateekebwateekebwanga Katikkiro.

Tujja kulwana okulaba ng’emikolo gino giddamu okukolebwa nga bwe girina okukolebwa mu ngeri ey’ennono, ng’esanyusa, teyeesittaza ate ng’etuukana n’omulembe.”

Omutaka Muteesasira , Keeya Ttendo Namuyimba yagambye nti, “Obwakabaka bulina ekitongole eky’ennono okuva mu bika eby’enjawulo ekivunaanyizibwa okusanyusa Kabaka.

Wadde Kabaka buvunaanyizibwa bwe okuyamba okutumbula ebitone by’abantu be naye nabo nga bayitiddwa ku mikolo gye balina okutuukira ku kitiibwa ky’emikolo kwe bayitiddwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ga1 220x290

Baze yatulekawo n’agenda ne muk’omusajja...

NZE Harriet Abigaba 36, mbeera Kirinnya mu Kito Zooni e Bweyogerere.

Ssenga1 220x290

Ntuuka mangu ku ntikko

Nze Umar e Luweero, lwaki ndyako katono eky’ekiro ne ndeeta ag’emugga? Nsaba ompe ku ddagala kubanga omukyala agenda...

Lya 220x290

Sheilla Gashumba agenze mu BET...

SHEILLA Gashumba agudde mu bintu. W’osomera bino ng’ali ku nnyonyi agenda mu kibuga Los Angels ekya Amerika okwetaba...

Bata 220x290

Oba Mary Bata wa langi mmeka!

OMUYIMBI Mary Bata tafaanagana!Alina langi za mirundi esatu era ssinga omutunuulira ku bigere oyinza okulowooza...

Nelson 220x290

Bakunyizza RDC Kyeyune ku by’ettaka...

RDC wa Wakiso, Ian Kyeyune asanze akaseera akazibu omulamuzi w’akakiiko akassibwawo okunoonyereza ku mivuyo gy’ensonga...