TOP
  • Home
  • Ag’eggwanga
  • Kabaka asasudde ebbanja ly'obukadde 27 ezaatwazizza Nnaalinnya Namikka e Luzira: Ayimbuddwa

Kabaka asasudde ebbanja ly'obukadde 27 ezaatwazizza Nnaalinnya Namikka e Luzira: Ayimbuddwa

By Musasi wa Bukedde

Added 19th May 2017

SSAABASAJJA Kabaka asasudde ebbanja lya ssente obukadde 27 ezaasibisizza Nnaalinnya Beatrice Namikka mu nkomyo e Luzira yeebakeyo emyezi 6. Omumbejja bamuyimbudde.

Namikka3 703x422

Nnaalinnya Namikka ng'atwalibwa mu kkomera e Luzira gye yasuze mu kiro ekikeesezza olwa leero ku Olwokutaano

Eggulo ku Lwokuna, Omumbejja Namikka yasuze Luzira oluvannyuma lw’okukwatibwa n’atwalibwa mu kkooti nga bamuvunaana okulemwa okusasula ensimbi ze yaggya ku bantu be yaguza ettaka ery’empewo.

Bawannyondo ba kkooti aba Waka Associates baakutte Nnaalinnya Beatrice Namikka ku Lwokuna nga beesigama ku kiragiro kya kkooti.

Namikka ye Nnaalinnya w’Amasiro g’e Kasubi. Nga May 11, 2017 Kkooti Enkulu yayisizza ekiragiro ekikwata Namikka we bamusanze wonna era kino bawannyondo ba kkooti kye baakozesezza okumuvumbagira n’atwalibwa mu kkooti amangu ago era n’asindikibwa e Luzira gye yasuze ekiro ekyakeesezza Olwokutaano.

Ab'olulyo Olulangira bakadde kusala mpenda okulaba ng'ayimbulwa

Ku makya ga leero ku Lwokutaano, aboolulyo Olulangira n’emikwano gye baakedde kusala mpenda ziggyayo Namikka mu kkomera aleme kusulayo kiro kirala, kyokka tebyabadde byangu.

Ng’asindikibwa e Luzira, kkooti yamulagidde okusasula obukadde 27 ezimubanjibwa abakyala babiri; Juilet Namiiro ne Faridah Kinene be yaggyako ssente ng’abaguza ettaka eryazuulwa oluvannyuma nti teryali lirye.

Namiiro ne Kinene baddukira mu kkooti nga bagamba nti Namikka baamuwa obukadde 24 ng’abaguzizza ettaka yiika emu ku kyalo Katadde mu Wakiso ku poloti 17 Block 94 mu Kyaddondo.

Namiiro yagambye nti bino byaliwo nga January 5, 2016 era ssente baazimusasulira mu Masiro e Kasubi n’akola nabo endagaano ebaguza nga waliwo n’Omulangira Namugala Mawanda naye eyateekako omukono ng’omujulizi wabula baakizuula oluvannyuma nti ettaka si lya Namikka lya ssenga we, kwe kudda ewa Namikka abaddize ssente zaabwe.

Namiiro yagambye nti Namikka abazunzizza ebbanga ddene era kkooti yasooka n’eyisa ekiragiro ekimukwata mu April w’omwaka guno wabula ne kiggwaako ng’akyabalemye okukwata, ne baddayo ne bafuna ekirala ekyafulumiziddwa nga May 11 2017 nga we basinzidde okumukwata n’atwalibwa mu kkooti.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kaaba1 220x290

Zari atulise n'akaaba bw'akubye...

Zari atulise n'akaaba bw'akubye ku mulambo gwa Ssemwanga eriiso: Abaana bamuwooyawooyezza

Lwana1 220x290

Balwanidde emmere ku mukolo gw'okuziika...

Balwanidde emmere ku mukolo gw'okuziika Ivana Ssemwanga e Kayunga

Koz1 220x290

Kintu Nnyago awadde ab'e Kyaddondo...

Kintu Nnyago awadde ab'e Kyaddondo East amagezi

Ba7 220x290

Ebyokwerinda binywezeddwa mu kuziika...

Ebyokwerinda binywezeddwa mu kuziika Ivan Ssemwanga: Aba 'Rich Gang' batudde mu tenti yaabwe bokka

Zari1 220x290

Zari n'abaana batuukidde mu byokwerinda...

Zari n'abaana batuukidde mu byokwerinda ebyamaanyi: Beebulunguddwa bakanyama