TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Abawagizi ba Villa n'Express beerangidde ebisongovu mu mpaka za Junior liigi

Abawagizi ba Villa n'Express beerangidde ebisongovu mu mpaka za Junior liigi

By Musasi wa Bukedde

Added 20th March 2017

Abawagizi ba Villa n'Express beerangidde ebisongovu mu mpaka za Junior liigi

Vi2 703x422

Omuwagizi wa Express ng'awanyisiganya ebisongovu n'abawagizi ba Villa

Bya Joseph Zziwa

Sc Villa Jogoo 1-1 Express Fc

ABAWAGIZI ba Villa ento ne Express ento baavudde ku mulamwa ne batandika okwerangira ebigambo ebisongovu ku mupiira ogwa zannyiddwa wakati wa ttiimu zino zombi.

Zaabadde mpaka za FUFA Junior liigi ku kisaawe kya Villa Park era ng'omupiira guno gw'agenze okuggwa ng'obubonero babugabanye ku ggoolo 1-1 wakati mu kuyomba n'okwejerega wakati w'abawagizi ba Tiimu zino zombi.

 

Aba Villa obwedda balangira aba Express nti baababbako omutendesi amanyiddwanga nga Wasswa Bbosa eyeegatta ku sports Club Villa enkulu oluvannyuma lw'okugobwa ku ttiimu ya Express kyokka nga n'Aba Express obwedda babalangira obutabeera na bisaawe nga mu kiseera kino Villa enkulu emipiira gyayo egya liigi egikyaliza ku kisaawe kya Masaka Recreational Grounds e Masaka.

Goolo ya Villa yateebeddwa Lwanga Charles ate eya Express yateebeddwa Sulaiman Farah era nga mu kiseera kino Villa eri mu kifo kya kubiri ate Express eri mu kifo kya mukaaga mu kibinja ekya ttiimu omusanvu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kaaba1 220x290

Zari atulise n'akaaba bw'akubye...

Zari atulise n'akaaba bw'akubye ku mulambo gwa Ssemwanga eriiso: Abaana bamuwooyawooyezza

Lwana1 220x290

Balwanidde emmere ku mukolo gw'okuziika...

Balwanidde emmere ku mukolo gw'okuziika Ivana Ssemwanga e Kayunga

Koz1 220x290

Kintu Nnyago awadde ab'e Kyaddondo...

Kintu Nnyago awadde ab'e Kyaddondo East amagezi

Ba7 220x290

Ebyokwerinda binywezeddwa mu kuziika...

Ebyokwerinda binywezeddwa mu kuziika Ivan Ssemwanga: Aba 'Rich Gang' batudde mu tenti yaabwe bokka

Zari1 220x290

Zari n'abaana batuukidde mu byokwerinda...

Zari n'abaana batuukidde mu byokwerinda ebyamaanyi: Beebulunguddwa bakanyama