TOP

Kati ntunuulidde za Confederations Cup - Mutebi

By Musasi wa Bukedde

Added 20th March 2017

Kati ntunuulidde za Confederations Cup - Mutebi

Mu1 703x422

Mike Mutebi

OMUTENDESI wa KCCA, Mike Mutebi agumizza abawagizi ba ttiimu eno nti wadde baawanduse mu CAF Champions League, tebaggwaamu maanyi agenda kuwangula ttiimu gye banaagwako kw’ezo ezaayiseewo mu CAF Confederations Cup.

Ku Lwomukaaga, KCCA yalemaganye ne Mamelodi eya Denis Onyango (1-1) e Lugogo n’ewandukira ku mugatte gwa (3-2) kyokka Mutebi agamba nti ekyo kyawedde kati atunuulidde kutwala ttiimu mu bibinja bya Confederations Cup kuba si kizibu.

Amateeka ga CAF gagamba nti ttiimu ewandukidde ku luzannya olusembayo okugenda mu kibinja kya CAF Champions League, ettunka n’ewangudde ogusembayo mu Confederations Cup okulabako eyeesogga ekibinja kya Confederations Cup. “Mamelodi okutukuba tekitegeeza nti twavudde mu mpaka.

Kati ekyo kyawedde obwanga tubwolekezza Confederations Cup era ttiimu gye batuwa yonna ejja kutuwuliramu kuba ekigendererwa kyaffe kikyali kya kugenda mu bibinja,” Mutebi bwe yategeezezza.

Emipiira gino gyakubeerawo wakati wa April 7 ne 9 era akalulu kasuubirwa kukwatibwa wiiki eno nga KCCA y’erina okusooka okukyaza. Ttiimu KCCA z’eyinza okusanga; JS Kabylie, MC Alger (Algeria), Recreativo do Libolo (Angola), Al- Masry, Smouha (Misiri), IR Tanger, MAS Fez (Morocco), Rayon Sports (Rwanda), Platinum Stars (South Africa), Club Africain, Sfaxien (Tunisia) ne ZESCO Utd (Zambia).

Ttiimu okuli; SuperSport (South Afrika), Azam (Tanzania), ASEC Mimosas (Ivory Coast) ne SM Sanga Balende DR ezaazannye eggulo zaawangule emipiira agyazo egyasooka.

TTIIMU ZA UGANDA EZIZZE ZIWANDUKIRA mu maAnyi; Mu 2014, KCCA yalemagana ne Nkana (2-2) ku bugenyi kyokka mu gw’okudding’ana e Namboole ne bagikuba (2-1) n’ewanduka.

Mu 1995, Express bwe yagenda e South Afrika, Orlando Pirates n’egikuba (1-0) n’ekomawo ng’erowooza nti egenda kuwangula ogw’okudding’ana wabula gwalemagana 1-1 Express n’ewanduka.

Mu 2003, Villa yakuba Atletico Aviacao mu Angola (2-1), mu gw’okudding’ana nga Villa eyagala maliri e Namboole, wabula baagikuba (2-0) n’ewanduka

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Koz1 220x290

Kintu Nnyago awadde ab'e Kyaddondo...

Kintu Nnyago awadde ab'e Kyaddondo East amagezi

Ba7 220x290

Ebyokwerinda binywezeddwa mu kuziika...

Ebyokwerinda binywezeddwa mu kuziika Ivan Ssemwanga: Aba 'Rich Gang' batudde mu tenti yaabwe bokka

Zari1 220x290

Zari n'abaana batuukidde mu byokwerinda...

Zari n'abaana batuukidde mu byokwerinda ebyamaanyi: Beebulunguddwa bakanyama

Scan1 220x290

Baze okukwana nga ndi lubuto kyankuba...

Dr. Innocent Kalamagi Magezi agamba nti omukazi bw’abeera olubuto abasinga obwagazi bwabwe bukendeera nga tayagala...

Kuwuliziganya 220x290

By’olina okukola okuwuliziganya...

OKUWULIZIGANYA mu kaboozi y’engeri emibiri gy’abaagalana gye gikwataganamu naye kino okukitegeera oba olina okuba...