TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Abalimi b'emmwaanyi e Bukomansimbi beenyigidde mu kutumbula ebitone

Abalimi b'emmwaanyi e Bukomansimbi beenyigidde mu kutumbula ebitone

By Musasi wa Bukedde

Added 20th March 2017

Abalimi b'emmwaanyi e Bukomansimbi beenyigidde mu kutumbula ebitone

Hi1 703x422

Abawunguzi nga babambaza emidaali

AB'EKIBIINA ekigatta abalimi b'emmwaanyi, okuzisunsula,okuzitunda ssaako n'okuzinoonyeza akatale ebweru w'eggwanga aba kibinge Coffee Farmers association batandise kaweefube wookulwanyisa obwavu wamu n'okutumbula ebitone mu Disitulikiti y'e Bukomansimbi.

 

Bano batandiseewo empaka mu kuvuganya okwenjawulo omuli omupiira gw'ebigere mu bakalu ssaako n'abato wamu n'empaka z'abakyala ez'okubaka nga bino byonna bigendereddwaamu okutumbuula ebitone mu Bukomansimbi. 

Akulira emirimu mu kibiina kino  Lukwata David agambye nti abavubuka basusse okuba ba kirereese mu byalo n'agamba nti okuteekawo empaka zino kigenda kuyambako abavubuka okusitula ebitone byabwe bafunemu ensimbi n'okwongera okujjumbira okulima emmwaanyi.

 

ku team 12 ezeetaba mu kikopo ky'empaka za Kibinge ttiimu ya Katolerwa yeyasitukidde mu kikopo ne sseddume w'ente oluvannyuma lw'okkuba Maleku ggoolo 2-1.

Ez'okubaka ziwanguddwa Kiyooka Fc bano nabo baweereddwa ekikopo n'esseddume w'ente ate ez'abali wansi w'emyaka 14 mu bawala ziwanguddwa Katolerwa ate mu balenzi ziwanguddwa Maleku nga bano bombi baweereddwa kimeeme w'embuzi.

 

Bw'abadde akwasa abawanguzi ebirabo,Ssentebe w'eggombolola y'eKibinge Sowed SSerwadda asabye abavubuka okweyambisa ebitone byabwe basitule ekirime ky'emmwanyi mu Bukomansimbi nga kye kimu ku bigendererwa ebyokutegeka empaka zino nga zigenda kutegekebwa buli mwaka okuzzaamu abavubuka amaanyi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ji1 220x290

Poliisi eggalidde abasirikale baayo...

Poliisi eggalidde abasirikale baayo 10 ku misango egy'enjawulo

C111a580e9174d5997f3a6a40439e2b818 220x290

Raila Odinga addukidde mu kkooti...

RAILA Odinga yeefukuludde n’addukira mu kkooti ensukkulumu okuwakanya obuwanguzi bwa Uhuru Kenyatta ku bwapulezidenti...

Yaga 220x290

Omusajja ayagala kunzigyako mwana...

NZE Uwineza Adiah nnina emyaka 26 nga mbeera Lubaga. Okuva lwe nafuna olubuto, baze yagaana okuddamu okundabirira...

Ssenga1 220x290

Nina bulwadde ki?

NINA emyaka 25 naye seegattangako na mukazi yenna kuba buli lwe ngezaako okwegatta nkoma ku mulyango ne njiwa....

Leka 220x290

Owapoliisi yesse lwa bwavu

OMUSERIKALE wa poliisi eyawummula, Robert Mugume asangiddwa nga yeetuze.