TOP

KCCA FC ewanuddeyo SC Villa ku ntikko

By Hussein Bukenya

Added 20th April 2017

URA FC, ey'ekitongole ky'emisolo mu ggwanga, eggulo yayingidde mu byafaayo nga ttiimu ya Uganda esoose okulumba KCCA FC mu kisaawe kyayo ekya kkapeti e Lugogo n’egiremesa obuwanguzi mu liigi.

Bata 703x422

Musaayimuto wa KCCA FC, Allan Okello (ku ddyo) ng'ayiribya Said Kyeyune eggulo e Lugogo. URA yawangudde ggoolo 2-1.

KCCA 2-2 URA

Enkya (Lwakutaano):

Vipers - Soana e Kitende

Saints - Proline e Bombo

Semi za Uganda Cup:

Paidha Black Angels - Sadolin

Express - Police/KCCA

Mu kisaawe kino kye yatandika okuzannyiramu sizoni eno, KCCA esambiddemu emipiira 9 nga gyonna egiwangula okutuusa eggulo bwe yalemaganye (2-2) ne URA mu liigi.

URA, yakulembedde omupiira guno emirundi ebiri nga bagiyunga. Moses Feni ye yasoose okuteeba KCCA kyokka Isaac Muleme n'ateeba ey'ekyenkanyi.

Mu kitundu ekyokubiri, Hamis ‘Diego’ Kiiza yateebedde URA wabula Geoffrey Serunkuuma n'ateebera KCCA peneti. Ne ku gwa Bright Stars, Serunkuuma yateeba peneti.

Okulemagana kyayambye KCCA okuwanula SC Villa ku ntikko nga zombi zirina obubonero 47 kyokka nga KCCA esingako ggoolo.

Ku Lwomukaaga, KCCA ekyalira Villa e Masaka KCCA

YANDIKWATA EXPRESS

Obululu bwa semi za 'Uganda Cup' obwakwatiddwa ku kitebe kya FUFA e Mengo eggulo, bwawedde nga Express erinze awangula wakati wa Police ne KCCA, abattunka nga April 30.

Mu semi endala, Sadolin Paints yaakuttunka ne Paidha Black Angels, eyaggyamu Vipers, ng'eno ye yawangula empaka zino omwaka oguwedde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

No Matching Document

Emboozi endala

Gali0 220x290

Omukuumi w’awaka ayiiyizza eggaali...

OKUYITA mu mbeera y’ebyenfuna ekaluba buli lukya, omuntu yenna akubirizibwa okuyiiya okulaba ng’abaako ky’akola...

Bak1 220x290

Poliisi etongozza enkola y'okulwanyisa...

Poliisi etongozza enkola y'okulwanyisa obumenyi bw'amateeka e Kyengera

Pamba 220x290

Ennaku ennumidde ewa Lulume......

Nze Rose Namataka 38, nga nkola gwa kutembeeya butunda mu bitundu eby’enjawulo mu Kampala.

Ssenga1 220x290

Embaluka ewona?

Ssenga obulwadde bw’embaluka buwona butya? Nze Nyombi J e Kasese.

Saddamjuma2680490 220x290

Express ekukkulumidde KCCA ku Saddam...

EXPRESS ekukkulumidde KCCA FC olw'okulemererwa okubasasula ssente ze bakkaanyaako nga bagiguza Saddam Juma.