TOP

Ebyobufuzi bya FUFA byolekedde okuziika Villa

By Musasi wa Bukedde

Added 20th April 2017

OMUPIIRA gwa Uganda gazzeemu ensasagge, Denis Mbidde, omu ku bamyuka Moses Magogo (pulezidenti wa FUFA), bwe yagambye nti kiraabu zigula emipiira ekiyinza okuttattana omutindo gw’omupiira!

Yaga1 703x422

Mbidde, omu ku bakungu abakulidde mu mupiira, yagambye nti kiraabu okugula emipiira ziyita mu bamu ku baddiifiri n'alabula nti singa tekinogerwa ddagala omupiira gwakusereba.

Abawagizi ba Villa bangi baavuddeyo ne banenya Mbidde, gwe baasindika mu FUFA okubakiikirira era n’aweebwa okumyuka pulezidenti wa FUFA avunaanyizibwa ku liigi, okulumiriza ttiimu yaabwe n'endala, okugula emipiira!

Mu nsi yonna, abawagizi tebaagala bantu bavaayo ne boogerera bubi kiraabu zaabwe kubanga baziwagira kufuna ssanyu.

Naye tusaanye tumanye enjawulo wakati w’abawagizi n’abakungu. Abawagizi bwe boogera obubi ku kiraabu, kikoma awo naye abakungu ku bakungu, ensonga eba erina okukwatibwa n’obwegendereza, esalirwe amagezi.

Nkimanyi nti Mbidde ayagala kuvuganya ku ntebe ennene eya SC Villa omwaka ogujja era abasinga balowooza nti eno y’ensonga lwaki atandise okulaga obunafu bwa Ben Misagga, afubye okuzza Villa ku maapu.

Abagoberera ensonga za Villa mujjukira nti Mbidde ne Mohammad Bazirengedde bakkaanya ne Misagga era ye (Mbidde) n'asindikibwa mu FUFA ate Bazirengedde n’aweebwa obumyuka bwa Misagga okutuusa lwe yamugoba.

Buli ebyobufuzi bya FUFA lwe bituuka, ensonga nnyingi zitandika okuvaayo era Villa nga kiraabu esaanye yeenyweze kubanga waliwo abalowooza nti Misagga waakwesimba ku Magogo.

Ekirala, kiki ekigaanyi Mbidde okukomawo mu FUFA ng'ate alina obusobozi? Lawrence Mulindwa bwe yalaga omusika we (Magogo), abamu balowooza nti ne Magogo ajja kukola kye kimu ng'awangudde okulonda okujja, kye sisuubira kubanga pulezidenti wa FIFA, Infantino yamusuubiza obuwagizi naye bwe yamulaga n'ajeemera CAF.

Akulira emirimu mu FUFA, Edgar Watson asaanye aveeyo agatte abakungu abasatu; Magogo, Misagga ne Mbidde kuba bonna bawagizi ba Villa.

Magogo naye asaanye akimanye nti olw'okuba Mulindwa teyavuganyizibwa emirundi ebiri, naye tajja kuvuganyizibwa. Magogo okulaga nti ayagala nnyo KCCA FC okusinga Villa, makwekansaamu ga byabufuzi.

Akulira FUFA ayagala kiraabu zonna kyenkanyi. Kiraabu bwe zinaabeeramu ebyobufuzi bya FUFA, zaakusigala ku ttaka!

kateregaya@yahoo.com 0701077016

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bombersbrazeville2copy 220x290

Tikiti ezitwala ttiimu y'ebikonde...

Wade ng'ebula ennaku 4 empaka za Africa Boxing Championships ziggyibweeko akawuuwo e Congo Brazeville, ekibiina...

Musevenipik 220x290

Museveni alagidde layini z'amasimu...

Pulezidenti Museveni alagidde amasimu gazzibweko: Ayongezzaayo okwewandiisa okutuusa nga 30 August.

Africain01 220x290

Owa Tunisia kufiira ku KCCA FC...

Omutendesi wa Club Africain eya Tunisia Chiheb Ellili aweze nga bwe bazze n'ekigendererwa kimu kyokka kya kukuba...

Mwebe 220x290

Fayinolo ya Uganda Cup eyongeddwaayo...

AKAKIIKO ka FUFA akategeka empaka kajjuludde olunaku olubadde olw’okuzannyibwako fayinolo y’empaka za Uganda Cup...

Duka1 220x290

Ssebatta awonye ddukadduka w’amabanja:...

FRED Ssebatta awonye ddukadduka w’amabanja, Gen. Salim Saleh bw’amuwadde kavvu oluvannyuma lw’okumusindira ennaku...