TOP
  • Home
  • Ebirala
  • Betway Powers ekansizza 5 okuttunka ne City Oilers mu nsero

Betway Powers ekansizza 5 okuttunka ne City Oilers mu nsero

By Musasi wa Bukedde

Added 19th May 2017

Betway Powers ekansizza abazannyi bataano ab'emifumbi okubiisanya ne City Oilers mu nsero sizoni eno eggulwawo leero ku Lwokutaano mu butongole ku Lwokutaano mu kisaawe kya MTN Arena e Lugogo

Powers3 703x422

Pulezidenti wa kiraabu ya Betway Power Patrick Obalim Ofono (wakati) mu ssuuti n'abamu ku bazannyi abapya abakansiddwa. Ekif: Fred Kisekka.

Bya Fred Kisekka

NGA kiraabu mu liigi y’eggwanga eya ‘Basketball’ zeesunga okutandika sizoni eno n'amaanyi, aba Betway Powers basabuukuludde abazannyi bataano bagiyambeko okutwala ekikopo.

Abanjuddwa mulimu; abateebi Sande Okot ne Diego Angemi abagiddwa mu UCU Canons ne KIU Titans, Sulaimani Bbale avudde mu Falcons, Francis Kasinde (Ndejje) ne Julius Wapera eyavudde mu Falcons.

Anorld Lando, omutendesi wa Betway Powers agambye ttiimu kati eggumidde naddala lw'amaze okukansa abazannyi ab’emifumbi abataali mu ttiimu ye sizoni ewedde n'ekoma ku munaabo, na'wera nti ekikopo kya sizoni eno kya Powers.

Betway Powers yamalira ku fayinolo sizoni ewedde wabula n'ekubwa City Oilers 4-1 ku nkontana 7 ze battunka.​

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kaaba1 220x290

Zari atulise n'akaaba bw'akubye...

Zari atulise n'akaaba bw'akubye ku mulambo gwa Ssemwanga eriiso: Abaana bamuwooyawooyezza

Lwana1 220x290

Balwanidde emmere ku mukolo gw'okuziika...

Balwanidde emmere ku mukolo gw'okuziika Ivana Ssemwanga e Kayunga

Koz1 220x290

Kintu Nnyago awadde ab'e Kyaddondo...

Kintu Nnyago awadde ab'e Kyaddondo East amagezi

Ba7 220x290

Ebyokwerinda binywezeddwa mu kuziika...

Ebyokwerinda binywezeddwa mu kuziika Ivan Ssemwanga: Aba 'Rich Gang' batudde mu tenti yaabwe bokka

Zari1 220x290

Zari n'abaana batuukidde mu byokwerinda...

Zari n'abaana batuukidde mu byokwerinda ebyamaanyi: Beebulunguddwa bakanyama