TOP

Uganda ne Rwanda zirwanira kukiika mu mpaka za CHAN

By Hussein Bukenya

Added 12th August 2017

AKAKUKU ka Uganda ne Rwanda mu mupiira kaakuttuka leero (Lwamukaaga), ttiimu zombi bwe zinaaba zirwanira ekifo okukiika mu mpaka z’Afrika eza CHAN ezeetabwamu abaguzannyira awaka.

Thats 703x422

Benard Muwanga (ku kkono), Ismail Watenga, Moses Waiswa, Shafik Kagimu ne Derrick Nsibambi abaazannya South Sudan gye baakuba ggoolo 5-1 e Lugogo okuyitamu okusanga Rwanda gye bazannya leero.

Leero mu za CHAN Uganda - Rwanda, 10:00 Kitende, St Mary’s Stadium

Uganda Cranes y’esoose okukyaza Rwanda mu mupiira gw’oluzannya olusooka ng’anaawangula emipiira gyombi (ogwa leero n’ogw’okuddihhana e Rwanda), waakuyitamu buteerevu.

Uganda yeetaaga okuwangula ne ggoolo eziwera ekendeeze ku puleese nga baddihhanye.

Omutendesi wa Cranes ow’ekiseera, Moses Basena n’omumyuka we Fred Kajoba, bagumu nti ttiimu gye balina nnungi era esobola okuwangula omupiira gwa leero n’okuwandulamu Rwanda.

“Emipiira wakati wa Uganda ne Rwanda giba mizibu naye tetulina kutya leero kuba abazannyi tubateeseteese bulungi ate nabo bamanyi obukulu bw’omupiira guno ne kye gutegeeza gye bali. Rwanda ekaluba naye naffe tuli b’amaanyi,” Basena bwe yagambye.

Guno gwe mupiira gw’ekigendererwa ogusoose eri abatendesi ab’ekiseera Basena ne Kajoba abaakwasibwa ttiimu oluvannyuma lwa Micho Sredojevich okulekulira.

Micho yayamba Uganda okuyitamu okuzannya mu za CHAN emirundi 2 mu 2014 ne 2016.

N’owa Rwanda awAGa Nga baakatuuka mu Uganda ku Lwokuna, Antonie Hey atendeka Rwanda yaweze nti wadde Uganda ebasinga ekifo mu nsengeka za FIFA, ebyo tebikola era bazze kugiswaliza mu maaso g’abawagizi baayo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Leka 220x290

Owapoliisi yesse lwa bwavu

OMUSERIKALE wa poliisi eyawummula, Robert Mugume asangiddwa nga yeetuze.

Kadi2 220x290

Kadaga awabudde ku bbula ly'emirimu...

SIPIIKA Rebecca Kadaga ategeezezza nti ebbula ly’emirimu mu bavubuka ky’ekimu ku bisinze bikwatagana butereevu...

Dhyljrxcaaw1zm 220x290

Museveni asisinkanye minisita wa...

MINISITA wa German ow’ensonga z’ebweru asisinkanye Pulezidenti Museveni n’asaba amawanga g’ebweru okuyamba Uganda...

Speaker703422 220x290

Kadaga ayambalidde Gavt' ku kwonoona...

SIPIIKA Rebecca Kadaga ayambalidde minisitule y’obutonde bw’ensi n’alumiriza nti tekoze kimala kussaawo kaweefube...

Gaana703422 220x290

Mutebile yeerwanyeeko ku kuggalawo...

GAVANA wa bbanka Enkulu Tumusiime Mutebile agambye nti ssi kituufu nti Bank of Uganda yayanguyiriza okweddiza Crane...