TOP

Omwoleso gw’ebyobulimi gwa Lwakutaano e Namboole

By Herbert Musoke

Added 13th February 2017

ABALIMI bakubiriziddwa okutandika n’ekitono kye balina mu nkola y’okufukirira okusobola okutambula n’embeera y’enkyukakyuka y’obudde eriwo mu kiseera kino.

Wawu1 703x422

Ennimiro y’emboga efukirirwa mu kyeya.

ABALIMI bakubiriziddwa okutandika n’ekitono kye balina mu nkola y’okufukirira okusobola okutambula n’embeera y’enkyukakyuka y’obudde eriwo mu kiseera kino.

Bwe yabadde ayogera eri abalimi mu bitundu bya Kapchorwa ne Bukedea mu misomo gy’okubangula abalimi mu kulima okwesigamiziddwa ku kufukirira, aluηηamya ku bulimi n’obulunzi ku kitebe kya Budaaki mu Uganda, Josephat Byaruhanga yagambye nti abalimi tebalina kulowooza kutandika na kinene kubanga okufukirira kwa bbeeyi.

“Ebyuma ebifukirira biri ku buseere, kiyinza okukutwalira ebbanga okukuηηaanya ssente okubigula wabula olina kutandika n’ekyo ky’olina”, Byaruhanga bwe yagambye.

Wouter Beekman, omukugu mu by’okufukirira okuva mu Budaaki eyabadde omusomesa omukulu, yalabudde ku kwagala okutandika n’ekinene n’agamba nti ssinga otandika n’ekitono osobola okufukiriza n’emikono n’ofunamu okusinga okulera engalo.

 mukugu okuva e udaaki outer eekman ngasomesa abalimi e ukedea engeri yokufukirira Omukugu okuva e Budaaki, Wouter Beekman ng’asomesa abalimi e Bukedea engeri y’okufukirira

Tandikira ku kitono okufukirira

Abalimi abasinga balindirira nkuba kutonnya okulima ekifi iriza. Naye ate mwenna mutuusiza mu kiseera kye kimu olwo bbeeyi y’ebirime n’egwa sso ng’alimye mu kyeya bbeeyi ebeera waggulu”, Beekman bw’agamba.

Yawadde ekyokulabirako nti ssinga osimba ennyaanya ez’omulembe ebikolo 100, kikwetaagisa ebidomola by’amazzi 15 buli lunaku okubifukirira olwo n’obufunako wakati wa 5000/- ne 10,000/- buli kimu. Kino kitegeeza nti osobola okufuna wakati wa 500,000/- ne 1,000,000/- z’otosobola kufuna mu kidibo.

Beekman yasomesezza n’okuwa abalimi amagezi naddala abo abaatandika edda okufukirira ku ngeri gye basobola okukozesa amazzi ge balina okusigala mu bizinensi.

“Waliwo ensobi ezikolebwa mu kuzimba n’okutambuza amazzi ng’omulimi ayingidde obulimi bw’okufukirira ekimuviirako okutuuka ekiseera nga takyasobola kufukirira olw’amazzi okukendeera naddala mu kyeya ate nga w’abeera yeetaaga okufukirira ennyo”, Beekman bw’agamba.

 ba olar ow nga boolesa ebyuma ebifukirira ebikozesa amaanyi genjuba Aba Solar Now nga boolesa ebyuma ebifukirira ebikozesa amaanyi g’enjuba.

Ono yagambye nti ekisooka olina okukakasa nti w’ogenda okusima waliwo amazzi. Kino osobola okukirabira ku miti gamba ng’emiyembe nga girina ebikoola ebya kiragala omukwafu kubanga emirandira gyagyo gikka ffuuti nga ttaano wansi.

“Abalimi abamu ebidiba babisimisa ngalo ne bibeera bimpi nga bino tebitera kuba na mazzi mangi. Mu mbeera eno, sima ebinnya ebiwera osobole okukuba amazzi okuva mu buli luzzi nga kino kigenda kukuyamba okufuna amazzi agakumala”, bwe yagambye.

Yawabudde ku nkola y’okukozesa ttanka ewanikibwa waggulu okutambuza amazzi okutuuka mu nnimiro gy’agamba nti eyongeza ku nsaasaanya ate ng’osobola okukozesa akuuma akakuba amazzi obutereevu mu payipu ezigatuusa mu nnimiro.

Joel Cherop bwe yabadde asomesa ku ffaamu ye ku kyalo Kachede mu Kapchorwa yawadde ekyokulabirako eky’ekitundu kimu kyakuna ekya yiika omusobola okugenda emboga 6,000 nga zino osobola okuzifukirira ng’okozesa akadomola (watering can).

 wa ultiple ndustries td nga basomesa enkozesa yekyuma ekifuuyira ngamazzi galinga nkuba Owa Multiple Industries Ltd, nga basomesa enkozesa y’ekyuma ekifuuyira ng’amazzi galinga nkuba.

Ssinga emboga zino ozitunda ku 1,000/- buli emu kitegeeza nti ofuna 6,000,000/- mu myezi esatu gyokka. Bano bagamba nti omulimi ayagala okugaggawala n’okugenda mu maaso, tandika na kitono kyokka ng’olina ebirooto ebinene era osseewo amakubo mw’osobola okuyita okutuuka ku bigendererwa byo.

Emisomo ku kufukirira Vision Group ng’eri wamu n’ekitebe kya Budaaki mu Uganda yategese emisomo gya mirundi esatu okuli ogwabadde e Kapchorwa ku ffaamu ya Joel Cherop, omuwanguzi w’empaka z’Omulimi Asinga 2014 ogwabaddewo ku Lwokuna nga February 9 n’ogwabadde e Bukedea ku ffaamu ya Alfred Okiring omu ku bawanguzi b’empaka z’Omulimi Asinga 2015 ku Lwokutaano nga February 10.

Omusomo omulala gwakubeerawo enkya ku Lwokubiri nga February 14 ku ffaamu y’akulira Vision Group e Namayumba mu Wakiso ng’eno abalimi mu bitundu ebyetooloddewo muyitibwa okujja mu bungi okuyigirizibwa engeri y’okufukirira okunoga ssente mu kyeya.

Emisomo gino gigobererwamu okubangula abalimi ku nnima eyeesigamiziddwa ku kufukirira ng’abakugu okuva mu Budaaki bazze okubangula abalimi okuyiga okufukirira ebirime okukozesa ebyuma eby’amaanyi n’enkola ennyangu.

mukugu okuva e udaaki outer eekman ngasomesa abalimi e ukedea engeri yokufukiriraOmukugu okuva e Budaaki Wouter Beekman ng’asomesa abalimi e Bukedea engeri y’okufukirira.

 

“Ffenna tulina okumanya nti enkyukakyuka mu mbeera y’obudde yajja mu nsi era tuli naye nga mu kiseera kino kye tulina okukola kwe kunoonya engeri gye tusobola okutambulira mu mbeera eriwo”, Byaruhanga bwe yagambye.

Abalimi mu bitundu bya Kapchorwa ne Bukedea basiimye kkampuni ya Vision Group etwala ne Bukedde ng’eri n’ebitongole eby’enjawulo okuva mu Budaaki okuli ekitebe kya Budaaki mu Uganda, bbanka ya DFCU ne kkampuni y’ennyini eya KLM olw’emisomo gy’okufukirira gye babatwalidde mu kitundu kyabwe.

David Buluma, omusomesa w’ebyobulimi n’obulunzi mu yunivasite e Busitema, agamba nti emyoleso nga gino giyamba okuzibula abantu amaaso n’okubaleetera okumanya kye balina okukola okusobola okweyimirizaawo.

“Twetaaga okubangula abantu baffe mu nnima ey’omulembe olwo lwe tunaasobola okukyusa obulimi okubuggya ku kulima kw’emmere y’okulya mu maka okudda ku bulimi bwa bizinensi ng’eno y’engeri yokka gye tusobola okukyusa Uganda tugituuse ku mutendera gwe tuyaayaanira”, Buluma bw’agamba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Zika3 220x290

Nnyina wa Mulindwa Muwonge ayogedde:...

Nnyina wa Mulindwa Muwonge, Maria Namagembe akungubagidde mutabani we era akumye olumbe mu makaage agasangibwa...

Si 220x290

Minisitule etongozza akuuma akakebera...

MU kaweefube wa Gavumenti ne minisitule y’ebyobulamu okulwanyisa obulwadde bwa mukenenya mu ggwanga, Gavumenti...

Mao1 220x290

Poliisi yezoobye n'aba DP: Mao...

Pulezidenti wa DP, Nobert Mao bamuggalidde.

Bre 220x290

Eyakubwa poliisi amasasi mu kwekalakaasa...

KYADDAAKI omukazi eyakubwa poliisi amasasi mu kwekalakaasa kwa ‘Walk to Work’ e Kajjansi afunye ku ssanyu kkooti...

Dfgkithwsaqxwrojpglarge 220x290

Aboogera ku by'ekkomo ku myaka...

PULEZIDENTI Museveni ayanukudde abagamba nti ayagala kukyusa Ssemateeka w’eggwanga aggye ekkomo ku myaka 75, n’ategeeza...