TOP

Yiika ya jjajja ebbudde amaka gange

By Musasi wa Bukedde

Added 20th February 2017

Abavubuka mukomye okweyiwa mu bibuga nti munoonya ssente n’obulamu obulungi, mudde mu byalo mwettanire obulimi obuteketeeke obulungi ssente gye zaasigalidde kati.

Musanje1 703x422

Bamusanje essanyu lye balina liva mu ntuuyo za nnimiro.

Bya JOHN BOSCO SSERUWU

KU myaka 29 gyokka Daniel Musanje omutuuze w’e Kalungu, Lukaya Town Council mu Kalungu, akyusizza endowooza z’abavubuka banne mu kitundu bw’abalaze nti kisoboka okufuna mu bulimi nga ne bwe kuba kwa musana osobola okufukirira ebirime n’osigala ng’ofuna amakungula amalungi.

Alina famire omuli mukyala we, Florence Kasozi 24, muto we n’abaana baabwe basatu ng’emirimu bagikolera ku bugazi bwa yiika nnya.

Agamba: Oluvannyuma lwa Bukedde TV ne Bukedde olupapula okutuggyirayo abamu ku balimi abalaze enjawulo mu bitundu byabwe, emyaka ng’ebiri emabega, n’asalawo okufuula obulimi omulimu era sejjusa.

alt=''

 

 

 

Nalinga nsuubula mbuzi mu kyalo ne nzitunda e Lukaya ku Road Toll naye nalaba nga bwe ngattako obulimi ate nja kuba nnyongera ku nnyingiza yange.

Nze ne mukyala wange twatandika ne yiika emu eyampeebwa jjajja omugenzi, kwe twasimba ebitooke n’emmwaanyi wabula embeera y’obudde ekyukakyuka n’etuyisa bubi kuba ebyasooka byakala byonna omusana era katono nzigweemu amaanyi.

Olw’okuba twali tumaliriridde nayongera okuyiiya, kwe kufuna pikipiki ku bbeeyi entonotono ne ntandika okusomba amazzi nga bwe tufukirira ebirime mu musana era mu bbanga lya myezi bwezi enjawulo yali etandise okulabika mu nnimiro yaffe n’okutuusa kati tetuddanga mabega.

ENGERI GYE NNWANYISA EKYEYA

Mu wiiki nfukiriramu emirundi ebiri nga nkeera ku ssaawa 9:00 ogw’ekiro ne ntandika okusomba ebidomola by’amazzi 250.

Buli mulundi ku pikipiki nsibako ebidomola kkumi (10), bwe ngateeka mu kinnya mwe twayalirira ekiveera okumpi n’ennimiro.

Bye nfukirira mulimu, ebitooke, emmwaanyi, muwogo ne kasooli.

Ssinga oba wagimusa bulungi n’obusa obukaze obulungi, kuba bumala ebbanga ddene mu ttaka ate nga n’okubikka tokwerabidde amazzi galwamu.

Emirimu egisinga tugikola nga famire era omukyala mpagi luwaga naddala mu kulabirira olusuku, ng’ayambibwako abaana lwe batagenze ku ssomero, wadde tulina n’abakozi babiri.

Okubeera awo nga sirina mulimu gwe nkola kye nasooka okugaana, era abalala gye babeerera mu biduula akawungeezi, nze onsanga nsomba bisubi bya kubikka nnimiro kuba obudde buba buweweevu.

NNEEMALIRA KU NVA NDIIRWA -MUKYALA

Muky. Musanje agamba: Nga bwe nnina obuvunaanyizibwa okuyiiyiza abantu bange, ku bye tulima nasalawo kulima enva endiirwa nga doodo, nnakati, ejjobyo n’ebirala mbirima mu bungi.

Embuzi ze twali tulunda nga tetunnatandika kulima twazongerako nga kati tulinawo 20.

Zino bwe zigejjamu nga tuzitunda era buli mbuzi etundibwa emitwalo 18 okudda waggulu ng’eno ya kkiro 20.

Buli mwezi tuyinza okutunda embuzi nga ttaano gy’emitwalo 90.

 akola nga famire Bakola nga famire .

 

BYE TUFUNYE MU KWEWAAYO

  1. Omwezi tuyingiza ssente eziri wakati w’emitwalo 80 ne 90 okuva mu lusuku ne muwogo.
  2. Tusobodde okuzimba ennyumba y’amaka.
  3. Tuguze yiika z’ettaka endala bbiri ne tugaziya we tulimira, mpozzi n’okulundirako ente zaffe n’embuzi.
  4. Abantu bangi omuli n’abansinga bajja ku nnimiro yaffe okunneebuuzaako wadde nga nange mbaako bye mbayigirako.

BYE TUTUNUULIDDE

Tusuubira okugula mmotoka eneetuyambako ku mirimu kuba pikipiki gye tulina egenda enafuwa ate nga n’emirimu gyeyongedde obungi gye tukomye okugaziwa.

Tulowooza ku ky’okugula ettaka eddala okuteekako faamu okwongera ku bungi bw’ente n’embuzi bye tulina mu kiseera kino.

OKUSOOMOOZEBWA

1 Abacupula eddagala erifuuyira ebirime awamu n’ebigimusa batuyisa bubi, kuba tuligula ssente nnyingi, kyokka terikola, awo gavumenti we yandituyambidde n’ebalwanisa.

2 Obutaba na bikozesebwa eby’omulembe naddala mu kufukirira, ebigimusa n’amagezi ag’ekikugu.

3 Ababbi b’emmere, batukoze bubi kuba tebakomye ku kubba kwokka, wabula n’okwonoona kuba bw’asanga mu lusuku nga temuli matooke makulu, amato gonna agaleka ku ttaka ng’agatemyetemye.

4 Emmwaanyi zo ababbi batema miti ne banogera wansi ekitufi iriza kuba emmwaanyi etwala ebbanga ddene ne ssente.

 

OBUBAKA

Okusookera ddala Bannayuganda mbawa amagezi balekere awo okutwala obulimi ng’omulimu ogwa wansi kuba busobolera ddala okukyusa embeera z’omuntu, ekitundu n’eggwanga lyonna.

Abavubuka mukomye okweyiwa mu bibuga nti munoonya ssente n’obulamu obulungi, mudde mu byalo mwettanire obulimi obuteketeeke obulungi ssente gye zaasigalidde kati.

Embeera y’ekyeya ng’eno abavubuka abakyalina amaanyi tugyeyambise nga tufukirira ebirime naddala ebikula amangu ng’ennyaanya n’enva endiirwa kuba bya ttunzi.

Abafumbo muyige okukolera awamu nga famire kuba bwe bweggasi obusookerwako bwe muba baakufuna mu bye mukola.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mazzi1 220x290

Omukozi atuuse okwezza omwami wo...

Ky‛olina okumanya, abaana abo be muleeta ng‛abakozi abamu babeera n‛ebigendererwa eby‛okufumbirwa naye ng‛abasajja...

Liz1 220x290

Abanoonya; Njagala musajja Muzungu...

Obutabeera na musajja kye kisinze okumalako emirembe

Baagalana1 220x290

Munno muyambeko ku mirimu gy’awaka...

Omulundi oguwedde nnabalaga nga bwe mwesuuliddeyo ogwannaggamba ku buvunaanyizibwa bwammwe.

Ova1 220x290

Okulwawo okwegatta kigumbawaza...

Baazudde nti buli musajja bw’alwawo okwegatta waliwo embeera y’omubiri mu kisawo ekitereka enkwaso ze gye kizaala...

Ho1 220x290

Omubaka Ssempala akyalimu endasi......

Omubaka Ssempala akyalimu endasi...