TOP

Ssente ez’amangu ziri mu nsujju

By Musasi wa Bukedde

Added 13th March 2017

Hajji Hassan Katureebe,jjuuzi bwe yakungudde ensujju ezitowa kkiro 75 lwe yalaze zaabu ali mu kirime kino abantu kye babuusa amaaso.

Nsujju1 703x422

Hajji Katureebe ng'asitudde ensujju eri mu kkiro 25.

Bya FLORENCE TUMUPENDE

Hajji Hassan Katureebe, omulimi w’ensujju e Mbiriizi mu disitulikiti y’e Lwengo aliisa buti!

Jjuuzi bwe yakungudde ensujju ezitowa kkiro 75 lwe yalaze zaabu ali mu kirime kino abantu kye babuusa amaaso.

Hajji Katureebe agamba nti yatandika okulima ensujju n’ekigendererwa ky’okufuna ssente mu 2015, yatandika n’ebikolo 10 ku bugazi bwa katundu ka yiika nga mu bbanga ery’emyezi esatu yasobola okukungula ensujju 200 ezaavaamu 3,000,000/-.

Yadde yali takwatangako ku nsimbi zino naye yateeka amaddu ku bbali n’okwekutula ku mikwano emibi n’okwewala okukozesa abakozi ne yeekolera ne famire ye.

Agamba nti ensujju ze ziweeredde abaana be n’abazzukulu, aguzeemu ettaka lya yiika 20 okuva ku katundu ka yiika ke yatandika nako, azimbyemu amaka era aguzeemu emmotoka.

Ensujju azitunda mu South Sudan, Tanzania, Rwanda ne Kenya.

Hajji Katureebe agamba nti ensujju teriiko kyeya oba nkuba wabula kye yeetaaga ge mazzi kasita ogifukirira obulungi ekuwa essanyu erya nnamaddala.

Osobola okugirima sizoni bbiri mu mwaka bw’oba ofukirira.

 ajji atureebe ngalaga akadomola akagoba obuwukaku nsujju Hajji Katureebe ng’alaga akadomola akagoba obuwukaku nsujju

 

ENTEGEKA Y’ENSIGO

Hajji Katureebe agamba nti ensujju evaako ensigo ezisimbibwa eteekeddwa kuba nga y’eyo eyasooka okubala ku kikolo era eyo tebikkibwako ssubi ng’ensujju ez’okulya okutuusa ng’ekuliridde.

Oluginogayo ogiggyamu ebiryo byayo n’obitabula mu vvu ery’ekyoto eriwoze obulungi.

Evvu lino tebalitabulamu mazzi kuba ensigo zino oba ebiryo bibaako amazzi gaabyo agayamba evvu okukwatirako obulungi n’okuyambako ensigo okukala nga ne bw’otokozesa musana kiriyamba okukala.

ENSIMBA Y’ENSUJJU

Katureebe agamba nti ensujju ky’ekirime ekitawa mulimi buzibu n’okweraliikirira olw’ensonga nti tezifuuyirwa ddagala ka libe lya biwuka oba lya kigimusa.

Osooka kukabala nnimiro, nze nzisaamu obusa bw’ente oba kalimbwe oba obukuta obukola nnakavundira.

Weewale okukozesa obusa bw’embizzi, bulimu ggaasi ayokya ebirime.

Bw’omala pima obugazi bwa ffuuti 10 ku 10 okuva ku kannya k’osimye akagenda okuteekebwamu ensigo bbiri zokka.

Toyongeramu kigimusa, faayo ng’ensujju zitaddeko ekimuli kuba kino kitawaanyizibwa nnyo kalalankoma.

Kozesa eddagala lye tuyita Flying Insect ly’osiba mu kadomola oba akacupa eriwunya akaloosa akalungi akasikiriza akawuka kali okugwako.

Ensujju bw’eweza kkiro ttaano gibikkeko essubi kungulu kiyambeko okuziyiza omusana obutagiyingira munda.

Wabula ensujju y’okuggyamu ensigo z’okusimba eyo tebikkibwako ssubi. Ate abawoomerwa essunsa mwegendereze okukutula amatabi agawagikiddwaako ekimuli kuba ge gawanirira obuguju obukula ne buvaamu ensujju.

Ezitowa wakati wa kkiro 65-75 egulwa wakati wa 55,000/- ne 60,000/- ate ensigo okutandikira ku mpeke nnya (4) zigulwa wakati wa 20,000/- ne 50,000/-.

OKUFUKIRIRA

Hajji Katureebe agamba nti ensujju eno ekungulwa emirundi ena mu mwaka kw’oyo afukirira.

Ekulira emyezi esatu gyokka n’otandika okuliisa okukungula.

 eddi atovu owa ulima ugagga ngayigiriza abalimi ennima yensujju esinga Meddi Matovu owa Kulima Bugagga ng’ayigiriza abalimi ennima y’ensujju esinga.

 

Ensujju okubala kisinziira ku nsigo z’osimba

Bya PATRICK TUMWESIGYE

ABALIMI ba Kulima Bugagga babanguddwa ku nnima y’ensujju ey’omulembe okubasobozesa okufuna ssente ez’amangu naddala mu kaseera kano ak’enjala.

Abalimi okubangulwa, babadde bakyalidde mmemba munnaabwe Charles Kasamba mu nnimiro e Katale mu Wakiso ne babuulirwa engeri gye bayinza okusimbamu ensujju ne zibala.

Kasamba yayigirizza engeri y’okusima ekinnya ky’ogenda okusimbamu ensujju.

Osima ffuuti bbiri ku bbiri n’ossaamu ekigimusa oluvannyuma n’osimbamu ensigo ku mabbali kubanga bw’osimba wakati, ekinnya kiyinza okulegamamu amazzi ne kitta ensigo eyo.

Mu birala bye basomye mulimu okulaawa ensujju ekigireetera okubala ennyo, okusalira, n’okwawula ekimuli ekisajja n’ekikazi n’ekigendererwa ky’okumanya akaseera ke balina okulwanyisa kalalankoma atawaanya ennyo obuguju.

Ssentebe w’ekibiina kya Kulima Bugagga, Meddie Matovu yategeezezza nti olw’okwagala okukulaakulanya ebyobulimi n’okugaziya enfuna y’abalimi, yasalawo okutegeka emisomo gino mw’atwalira bammemba ku nnimiro za bannaabwe okuyiga obukodyo obw’enjawulo nga tebaggyibwako ssente.

Yakubirizza abalimi okwettanira okulima ensujju naddala mu kaseera kano ak’enjala kubanga kye kimu ku birime ebikula amangu ate nga kifunira omulimi naddala ssinga asimba ensigo ennungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mail 220x290

Muganda w’omubaka eyafa e Iganga...

ABAKYALA munaana be beesoweddeyo okuvuganya ku kifo ky’omubaka omukazi owa Iganga.

Nrmnabiserejenniferlynn 220x290

Aba NRM ababeera ebweru bakoze...

ABA NRM ababeera mu mawanga g’ebweru bakyusizza mu bakulembeze baabwe ne balonda ssentebe w’ettabi lyabwe e Misiri...

Unit 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUTAANO YAFULUMYE...

Mulindwa Muwonge alese ebiragiro 6 ebikakali ebitabudde abakungubazi n’abooluganda. Bato ba Zari boogedde ekisse...

Ziika9 220x290

Mulindwa Muwonge aziikiddwa wakati...

Mulindwa Muwonge aziikiddwa wakati mu biwoobe n'okwazirana okuva mu bannamwandu, abaana n'abooluganda.

Zika3 220x290

Nnyina wa Mulindwa Muwonge ayogedde:...

Nnyina wa Mulindwa Muwonge, Maria Namagembe akungubagidde mutabani we era akumye olumbe mu makaage agasangibwa...