TOP
  • Home
  • Ebyobulimi
  • Engeri gy’osima ekidiba olembeke amazzi g’ekyeya

Engeri gy’osima ekidiba olembeke amazzi g’ekyeya

By Edward Sserinnya

Added 13th March 2017

Tokkiriza kwejjusa ng’enkuba eweddeyo kuba kati olina omukisa okulembeka waakiri liita 10 buli nkuba lw’etonnya, omusana gutuuke ng’owezezzaawo ku mazzi.

Kidiba1 703x422

Ekimu ku bidiba ebitereka amazzi ky’oyinza okusima ku ssente entono.

Bya EDWARD SSERINNYA

ENKUBA k’etandise okutonnya, buli mulimi alowoolereza mu kusiga. Naye enkuba k’etonnye naawe tandika okweraliikirira ekiseera bw’eneeba eweddeyo.

Tokkiriza kwejjusa ng’enkuba eweddeyo kuba kati olina omukisa okulembeka waakiri liita 10 buli nkuba lw’etonnya, omusana gutuuke ng’owezezzaawo ku mazzi.

Nga bw’oli mu kusimba, wandibadde olowooza ne ku ngeri gy’oyinza okuterekamu amazzi ate gakuyambe mu biseera eby’ekyeya.

Amazzi gano g’otereka kati ssinga ogakozesa mu kyeya kijja kukuyamba okulima okwate akatale kuba abalimi bangi tebalina busobozi bulima mu musana.

Godfrey Kigoye, asomesa ebyobulimi ate nga musimi wa bidiba mu Katende Harambe Rural Urban Training Center e Nsawo-Namugongo agamba nti, waliwo engeri ennyangu omulimi mw’ayinza okuyita n’afuna ekidiba mw’atereka amazzi ku ssente entono, oba sinakindi okukyesimira.

Kigoye agamba nti okusima ekidiba ekisookerwako tekyetaaga ssente nnyingi, katutwale ekyokulabirako ky’ekidiba ekya ffuuti 10 ku 10 mu bugazi n’obuwanvu.

Kino kisobola okutereka amazzi agasoba mu liita 20,000, kino okukisima oba weetaaga 500,000/- zokka.

Ekidiba kw’ozimba ennyumba osobola okukozesa akakadde kamu n’ekitundu ate ky’ozimbisa seminti okozesa ezisoba mu bukadde obusatu.

 
 yinza okulembeka amazzi ngokozesa ekiveera Oyinza okulembeka amazzi ng’okozesa ekiveera.

 

 OKUSIMA EKIDIBA

Kigoye agamba olina okuba n’ekifo w’ogenda okukisima era kisime nga kya nsonda, kino kiyamba okwanguya ekiveera okutuulamu obulungi mu kinnya ky’oba osimye.

Olumala okusima ekidiba, funa ekiveera. Obugazi bw’ekiveera ekyogeddwaako waggulu, kiba kya ffuuti 70, wabula zino ogula ffuuti 10 emirundi 70 olwo ne bakitunga kuba teri kiveera kiweza ffuuti 70 nga kiri wamu.

Kasita bamala okutunga ekiveera, teekamu amasanda omuba muyise ewuzi kisobozese amazzi obutakiyitamu.

Ng’oyaliirira ekiveera mu kidiba, sima omufulejje nga gwetooloola ekidiba kyonna ate wansi gukke yinsi musanvu, muno mugwamu ekiveera n’otuuzaako amatoffaali ne kiba nga tekisobola kugwamu nga mutandise okugendamu amazzi.

Kyokka oyinza okusima n’okuzimba ekidiba ne sseminti.

Bashir Mayiga owa Bwasandeku Mixed Farm e Kalungu, agamba yasima ekidiba n’akizimba ne seminti ng’asobola okulembekamu liita emitwalo 7, kyamumalako 3,500,000/-.

Ebidiba bya mirundi ebiri

Kigoye agamba nti, waliwo ekidiba ng’amazzi kifuna ga mukoka, gano omugaso gwago guba gwa kufukirira.

Ng’osima ekidiba eky’ekika kino, omukutu oguleeta amazzi nga ganaateera okuyiwa mu kidiba, simawo obunnya bubiri bwa ffuuti ssatu ku ssatu, buno bujja kuyamba okusengejja amazzi agagenda mu kidiba, era faayo okubolongoosaamu ettaka buli lwe bujjula.

Ku kidiba kino, osobola okwaliirirako emiti n’ozzaako ettaka n’olekawo ekituli w’osenera amazzi, era osobola n’okulimirako enva endiirwa, oba ebintu ebirala ebikula nga tebisimba nnyo mirandira mu ttaka.

Ekibi ekikiriko, bw’oyiwako ettaka emiti gikaddiwa mangu era Ky’ekiseera okulembeka amazzi okwetegekera ekyeya kirungi kulimirako sizoni nga nnya zokka.

Ekidiba ekyokubiri

Amazzi gaba gava ku nnyumba, era okozesa engogo ne payipu okusobola okugatuusa mu kinnya, mu mbeera eno osobola okuzimba ku kidiba kino ennyumba n’eba nga wansi waliyo mazzi ate nga waggulu okolerayo emirimu gyo emirala gamba nga sitoowa, ate ku mabaati engeri gy’eteba mpanvu nnyo osobola okwanikayo ebintu nga muwogo n’ebirala.

Wabula n’engeri endala ey’okugula ttanka nayo ekuyamba okutereka amazzi, g’enkuba.

Ssinga oba olina w’osobola okufuna amazzi oyinza n’okukozesa ppampu n’ogasindika mu kidiba era gebeeramu.  

Lwaki osaanidde okuba n’ekidiba?  

Kigoye agamba, ekidiba kiyambako ssinga olima ebirime omusana ne gukukwata oba okukusobozesa okulima mu biseera by’omusana banno we baba nga tebasobola kusimba olwo ggwe n’ofuna akatale.

Engeri y’okukuuma amazzi mu nnimiro

Osobola okutemamu ensalosalo amazzi ne gaba nga tegayitamu buyisi

Ssinga ekirime kiba kibikkwa, oyinza okubikka.

Okusimba emiti mu nnimro egireeta obugimu ng’emituba kiyambako okukuuma amazzi n’engeri endala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bombersbrazeville2copy 220x290

Tikiti ezitwala ttiimu y'ebikonde...

Wade ng'ebula ennaku 4 empaka za Africa Boxing Championships ziggyibweeko akawuuwo e Congo Brazeville, ekibiina...

Musevenipik 220x290

Museveni alagidde layini z'amasimu...

Pulezidenti Museveni alagidde amasimu gazzibweko: Ayongezzaayo okwewandiisa okutuusa nga 30 August.

Africain01 220x290

Owa Tunisia kufiira ku KCCA FC...

Omutendesi wa Club Africain eya Tunisia Chiheb Ellili aweze nga bwe bazze n'ekigendererwa kimu kyokka kya kukuba...

Mwebe 220x290

Fayinolo ya Uganda Cup eyongeddwaayo...

AKAKIIKO ka FUFA akategeka empaka kajjuludde olunaku olubadde olw’okuzannyibwako fayinolo y’empaka za Uganda Cup...

Duka1 220x290

Ssebatta awonye ddukadduka w’amabanja:...

FRED Ssebatta awonye ddukadduka w’amabanja, Gen. Salim Saleh bw’amuwadde kavvu oluvannyuma lw’okumusindira ennaku...