TOP
  • Home
  • Ebyobulimi
  • Eyawangula empaka z'omulimi asinga atandise okubangula abavubuka

Eyawangula empaka z'omulimi asinga atandise okubangula abavubuka

By Herbert Musoke

Added 3rd April 2017

Enock Ampumuza alondoola emirimu gya SKY, yagambye nti enteekateeka eno egenda kubeeramu bavubuka bokka abali wakati w’emyaka 14 ne 35 era balina okubeera nga bo benyini bennyigira butereevu ku kulima n’okulunda.

Bisagazi1 703x422

Abakungu ba NARO nga bakwasa Dr. Nambatya ebyuma by’anaakozesa okusomesa abavubuka.

Bya HERBERT MUSOKE

Dr. Diana Nambatya, omu ku bawanguzi b’empaka z’omulimi asinga ezitegekebwa kkampuni ya Vision Group, afunye enkolagana n’ebitongole ebigabirizi eby’enjawulo mwe banaayita okusomesa n’okutumbula obulimi bw’omu bibuga n’ettaka ettono naddala mu bakyala n’avubuka ng’ayita mu ffaamu ye eya Kwagala Farm e Kulambiro.

Okusinziira ku Dr. Nambatya, ekitebe kya Budaaki ekivujjirira empaka z’omulimi asinga n’eggwanga kya Yitale nga bayita mu nteekateeka ya Skilling Youths for Employment in Agribusiness (SKY) eri wansi wa AVSI baatandiseewo enkolagana egenda okumala emyaka etaano nga batendeka abavubuka okulimira awafunda n’okukozesa amagezi g’ekikugu okufuna mu bulimi n’obulunzi.

“Twagala okuyamba abavubuka abatalina mirimu okulaba nga beeyimirizaawo okuyita mu bulimi n’obulunzi era tugenda kubasomesesa n’okubawa ku buyambi obutonotono naddala nga tuyita mu kuvuganya eri abo abalabika nga basukkulumye ku bannaabwe nabo batuukirize ebirooto byabwe”, Dr. Nambatya bw’agamba.

Enock Ampumuza alondoola emirimu gya SKY, yagambye nti enteekateeka eno egenda kubeeramu bavubuka bokka abali wakati w’emyaka 14 ne 35 era balina okubeera nga bo benyini bennyigira butereevu ku kulima n’okulunda.

Mu ngeri y’emu bbanka y’ensi yonna eriko enteekateeka z’okuyamba abakyala mu bulimi n’obulunzi nga basomesebwa n’okubaako obuyambi obw’enjawulo obubaweebwa mu ngeri y’okuvuganya okulaba nga bamalawo ebbula ly’emmere mu maka n’okutumbula ennyingiza y’amaka gaabwe okulwanyisa obwavu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Teeka1 220x290

Kazibwe Kapo ‘Ow’emmundu ku ggombolola’...

BWE yayimba ‘Emmundu ku ggomboloola’ oluyimba omuli obubaka obubuulirira abasajja okuva ku bikolwa by’obwenzi,...

Kusaba1 220x290

Aba Victory Christian Centre, Bujingo...

AB'EKKANISA ya Victory Christian Centre, abaakuza Bujingo n'okumuteekateeka okufuuka omusumba bavumiridde enneeyisa...

Save1 220x290

Abasumba batadde akazito ku Paasita...

Paasita Aloysious Bujingo owa House of Prayer Ministries e Makerere Kikoni bamunoonyerezaako ku bya Bayibuli ezookebwa....

United1 220x290

Bano 13 abavunaaniddwa be batta...

KU basajja 13 abaaleeteddwa mu kkooti ne basomerwa omusango gw’okutta Kaweesi kuliko bana ababadde babeera ennyo...

Oty 220x290

Ssente ze yeekolera zimutunuzza...

ABASAWO ba poliisi kyabatwalidde akaseera okutaasa obulamu bw’omuvubuka eyanywedde omwenge n’aguyitiriza.