TOP
  • Home
  • Ebyobulimi
  • Yiga ekibalo ky’enkoko n’engeri ennyangu ey’okuzirunda

Yiga ekibalo ky’enkoko n’engeri ennyangu ey’okuzirunda

By Edward Sserinnya

Added 3rd April 2017

Ngenda kubala enkoko emu, oli waddembe okukubisaamu omuwendo gw’enkoko gw’oyagala okulunda oba gw’olunda naawe olabe oba ofunamu, ofuna kitono oba tofuna?

Bukoko1 703x422

Genderera ensengeka y’ekiyumba ky’enkoko bw’oba oyagala okuzifunamu.

Bya EDWARD SSERINNYA SSAALONGO

Robert Sserwanga owa Agrarian Systems Ltd, kkampuni eyeebuuzibwako ku byobulunzi n’obulimi esangibwa e Wakaliga, omu ku baasomesa ku nnunda y’enkoko mu musomo gwa Bukedde ogwa Yiiya Ssente ne mu Mwoleso gwa Harvest Money Expo ogwabadde e Namboole gye buvuddeko akuwa ekibalo ky’enkoko.

Agamba: Ngenda kubala enkoko emu, oli waddembe okukubisaamu omuwendo gw’enkoko gw’oyagala okulunda oba gw’olunda naawe olabe oba ofunamu, ofuna kitono oba tofuna?

Wadde hhenda kubala enkoko emu, naye nkuwadde ekiyumba kya nkoko 100 ez’amagi. Zino zigenda mu bugazi bwa ffuuti 10 ku 15.

Muno mujja kubaamu ebiriirwamu 5, ekinywerwamu kimu ekya otomatiki, naye bw’okola ebyabulijjo bijja kuba bisatu n’ekibiikirwamu kimu.

Bbeeyi ya bino ejja kusinziira ku kifo w’ogula n’omutindo gwabyo.

 obert serwanga agenda okusomesa ennunda yenkoko Robert Sserwanga agenda okusomesa ennunda y’enkoko.

 

Emitendera gy’enkoko z’amagi

Enkoko z’amagi zirimu emitendera esatu okuli; Obuto (chicks), ogwa wakati (Grower) n’ezibiika (layer), wano buli mutendera gulina ebyagwo.

Obuto Akakoko akamu kagula wakati wa 2,800/- ku 5,200/- okusinziira ku lulyo ne kkampuni ezitunda.

Wiiki bbiri nga tonnazireeta olina okuba ng’omaze okuteekateeka buluda. Mu buluda twagalamu ebbugumu ery’ekigero, empewo (eno erina okuba ng’eyamba bukoko kussa), emmere n’ekitangaala.

Emmere erina kuba ya mutindo ebisigadde ggwe omanyi by’onookozesa okubiteekamu naye ekikulu birina Yiga ekibalo ky’enkoko n’engeri ennyangu ey’okuzirunda okubaamu.

Obukoko 100 bujja kubeera mu kasenge ka buluda ka mita 5 ku 5, tokola kiyumba kigazi ekya buluda kuba ojja kutwala ssente nnyingi ate nga tekikuyamba.

Ogaziyaamu ng’enkoko bwe zikula ate gye zikoma okukula n’ebbugumu okukendeera.

Muno zijja kumalamu wiiki 4 zokka. Wabula wakati wa wiiki 4 ku 8, buli nkoko ejja kuba eridde kkiro 2, era ziba zirya ekika ky’emmere kimu ekya ‘Chick and duck’

Okugema wano buli nkoko ojja kugisaasaanyizaako 500/-.

Ky’olina okumanya ku mutendera guno, osaanye kugula mmere ntabule, ekikulu ogiguze mu bantu be weesiga nti bajja kukuwa emmere ennungi?

Kubanga okwetabulira tojja kutuukiriza nkoko bye zeetaaga. Buli kkiro ejja kuba wakati wa 1,400/- ku 2,400/-.

Awo nkusuniddeko busunizi, emitendera emirala ne kalonda yenna ku bulunzi bw’enkoko ez’ennyama n’ez’amagi okugeza ddi lw’osalawo okulunda enkoko ez’ennyama oba amagi?

Ziriwa ezisinga okufuna? Enzimba y’ekiyumba ku nkoko zombi eri etya? Ate endiisa? Omanyi bw’oyinza okukekkereza emmere ate n’oba ng’ofunamu?

Alunda ey’ennyama n’egejja ate ey’amagi n’etesala ku mbiika yaayo? Omanyi fomula z’emmere? Osobola okwetabulira? Ye paleti (emmere ey’obuweke) n’entabule obyawula?

Ye omanyi bwe bikola? Kiki ekisinga? Okulundira mu keegi oba mu kiyumba ekinene kiki ekisinga? Omanyi lwaki enkoko zisala amagi?

Ye lwaki ezizo zibiikira ebbanga ttono? Emitendera n’ebiseera n’endwadde z’olina okugema enkoko zo obimanyi?

Endabirira n’enzirukanya ya ffaamu okwo gattako engeri gy’olina okukwatamu abakozi n’obafunamu.

Naawe omulunzi w’embizzi tetukwerabidde, omanyi olulyo lw’embizzi olukola obulungi ku nnyama n’okuzaala?

Embizzi oziriisa otya? Obadde okimanyi nti waliwo engeri gy’oyinza okwongereza ku mmere y’embizzi ate ne zikola bulungi?

Enzimba y’ekiyumba ekekkereza ssente ogimanyi? Tekinologiya atagerera mbizzi mazzi omumanyi?

Enkola ya IMO ekiyumba ne kitawunya ate ng’okozesa ssente ntono wakusomesebwako, endwadde bw’oyinza okuzeerinda n’okuzeewala. Omusujja gw’embizzi okimanyi nti waliwo amagezi g’osobola okugusalira?

Okimanyi nti waliwo olulyo lw’embizzi ezaala obwana 25 n’okusoba buli mwaka?

Ebyo n’ebirala by’ogenda okuddibwamu ku Lwokusatu nga April 05, 2017 ne ku Lwokuna April 06, 2017 mu musomo ogutegekeddwa okukubangula ku nnunda y’embizzi n’enkoko ekola amagoba.

Gugenda kubeera ku Nsambya Sharing Hall gutegekeddwa Ssaalongo Robert Sserwanga owa Agrarian Systems okuyingira osasula 30,000/- .

Olunaku olusooka omusomo gwa nkoko ate enkeera ku Lwokuna nga April 6, baakusomesa ku mbizzi.

Emisomo gyombi gitandika ssaawa 3:00 ez’oku makya okutuuka ku 11:00 ez’akawungeezi. Okumanya ebisingawo n’okwewandiisa kubira Ssaalongo Sserwanga ku 0772495309 oba 0701301095.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mail 220x290

Muganda w’omubaka eyafa e Iganga...

ABAKYALA munaana be beesoweddeyo okuvuganya ku kifo ky’omubaka omukazi owa Iganga.

Nrmnabiserejenniferlynn 220x290

Aba NRM ababeera ebweru bakoze...

ABA NRM ababeera mu mawanga g’ebweru bakyusizza mu bakulembeze baabwe ne balonda ssentebe w’ettabi lyabwe e Misiri...

Unit 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUTAANO YAFULUMYE...

Mulindwa Muwonge alese ebiragiro 6 ebikakali ebitabudde abakungubazi n’abooluganda. Bato ba Zari boogedde ekisse...

Ziika9 220x290

Mulindwa Muwonge aziikiddwa wakati...

Mulindwa Muwonge aziikiddwa wakati mu biwoobe n'okwazirana okuva mu bannamwandu, abaana n'abooluganda.

Zika3 220x290

Nnyina wa Mulindwa Muwonge ayogedde:...

Nnyina wa Mulindwa Muwonge, Maria Namagembe akungubagidde mutabani we era akumye olumbe mu makaage agasangibwa...