TOP

‘Ekyama ky’obulimi kiri mu kuba na mazzi’

By Herbert Musoke

Added 3rd April 2017

ENKYUKAKYUKA y’obudde yajja era tulina okutambula nayo ng’abalimi n’abalunzi bwe tubeera baakusigala mu mulimu.

Kidiba1 703x422

Ekimu ku bidiba ebina Matovu bye yasima okumuyambako okufukirira.

KKAMPUNI ya Vision Group efulumya Bukedde, ekwataganye ne bbanka ya DFCU, ekitebe kya Budaaki mu Uganda ne kkampuni y’ennyonyi eya KLM okunoonya omulimi n’omulunzi asinga mu Uganda omwaka gwa 2016.

Abanaavuganya mu mpaka zino mujja kutuweereza amannya gaabwe ku omulimiasinga@newvision.co.ug oba 0752628931 tubatuukirire tubawandiikeko buli Mmande.

HERBERT MUSOKE leero aleese Patrick Matovu ne mukyala we, abalimi b’e Bbowa mu Luweero abawa ekyokulabirako ky’okulima olusuku n’okulunda embizzi.

ENKYUKAKYUKA y’obudde yajja era tulina okutambula nayo ng’abalimi n’abalunzi bwe tubeera baakusigala mu mulimu.

Omulimi n’omulunzi olina okutetenkanya amazzi ku ffaamu yo, owe ebisolo byo n’enkoko ate nga bw’ofukirira ennimiro yo.

Kino kye kiyambye Patrick Matovu ne mukyala we Priscilla Matovu abalimi b’e Bbowa mu Kagogo-Makulubita mu disitulikiti y’e Luweero.

 atovu ngatemera emu ku mbizzi ze ebigogo Matovu ng’atemera emu ku mbizzi ze ebigogo.

 

Bagamba nti ssinga tebaalina mazzi, omwaka oguwedde omusana lwe gwayaka ennyo kyali kibamala okuva ku bulimi. Bamatovu balina yiika 19, kwe balimira n’okulunda.

Ku zino nnya kuliko lusuku, mukaaga za kasooli, omunaana za mmwaanyi ate emu eri waka nga wano we balundira enkoko n’embizzi n’olusuku.

“Olw’okuba embizzi n’enkoko byetaaga amazzi ekiseera kyonna okubifunamu, nasimisa nayikondo ng’eno empa amazzi gonna agalabirira ffaamu ate mu nnimiro, nasimisaayo ddaamu nnya okufunamu amazzi g’okufukirira olusuku”, Matovu bw’annyonnyola.

Ng’oggyeeko nayikondo, Matovu alina ttanka etereka liita 80,000 gye yazimba kuba mu kyeya amazzi wansi gakendeera nga wano ttanka eno w’eyambira.

Ng’oggyeeko okusima ebidiba, Matovu asimbye emiti naddala emituba n’emigavu ku ffaamu ye okwongera okuwa ebisiikirize mu nnimiro ye n’okutaasa obutonde.

OKUTANDIKA

Nali nkozesebwa mu bitongole bya Gavumenti eky’okubala omusolo wabula n’ensalawo okutandika okulima mu 2001. Natandikira ku bitooke n’emmwaanyi ku yiika bbiri.

Ebitooke nsimba nsukusa kyokka bwe nzisigula nzisalira ddala olwo ne nzibikka mu ttaka okuzibuniza.

Wano ekitooke kibeera ng’ekirina omwana era bwe kimala okututunuka mu ttaka ne bwe kibeera ku musana kisigala kitinta ng’olowooza kya nkuba so nga ssinga okisalira waggulu kifa omutunsi ate nga nsinga kusimba mu kasana enkuba n’ebisanga nga bitojjera. Kati olusuku lwange lwa yiika nnya.

Ettaka lino liri ku kasozi ate nga mayinja. Kino kyasooka ne kintiisa naye natamdika mpola ne ndaba ng’amatooke gakola bulungi.

Olw’okuba nti nnimira ku kaserengeto, olusuku ndubikka n’ebisubi by’ekisaalu nga kino nakireka mu lutobazzi oluliraanye bye nsaawa buli mwezi gwa January, awasigadde ne nzisaawo ebisoolisooli n’ebikongoliro bye nfuna mu kasooli gwe nnima n’okugula ku kyuma.

Kino kinnyambye okukuuma amazzi mu ttaka, okukwata mukoka obutadduka nnyo kukuluggusa ttaka ate bwe bivunda bikola ng’ebigimusa ate n’okukola ettaka ku mayinja.

 u kkono atovu alaga ebikongoliro byakozesa okubikka olusuku Matovu alaga ebikongoliro by’akozesa okubikka olusuku.

 

Ebitooke nsinga kusimba Musakala, Mpologoma, Nakitembe n’ebirala, mbisimba mu mabanga nsobole okusimbamu ebijanjaalo.

Olw’okuba nti tuva mu kyeya, mbadde sitema matooke mangi, omwezi mbadde ntema enkota 20 ate mu kiseera kino ng’enkuba etandise nnyingidde 30 nga buli emu ngitunda 20,000/-.

Kitegeeza nti mu kyeya nafunanga 400,000/- ate kati nfuna 600,000/- omwezi.

Oluvannyuma nayongerako okulima kasooli nga mu kiseera kino nina yiika mukaaga. Ono mukozisa okukuba emmere gy’enkoko n’embizzi zange n’okulyako waka.

OKULUNDA

Mu 2002 natandika n’enkoko 400 era neeyigiriza ng’omuntu byonna ebikwata ku kulunda enkoko olw’okuba ekintu kye nayingiramu nali nkyagala. Wabula oluvannyuma ngenze neetaba mu misomo, okulambula abalunzi abalala n’okusoma ebitabo n’amawulire ebinnyambye okwongera ku kumanya kwange. Mu kiseera kino, nina enkoko 1,800.

Ekibi emmere yalinnye bbeeyi, bulandi ali mu 800/- olwo kkiro n’eggweera mu 1,400/- ng’otaddemu ebirala omuli mukene, cotton, Premix n’ebirala. Zino zimpa ttule z’amagi 48 buli lunaku ze ntunda ku 7,000/- buli emu ne nfuna 336,000/- olunaku.

Embizzi Oluvannyuma lw’emyaka ng’esatu nga nnunda enkoko, nayingira enkoko 1,000 olwo ne ntandika okulunda embizzi nga natandika n’embizzi nnya.

Nnunda embizzi kika kya Large White, nga mu kiseera kino nina embizzi 62.

Ku zino 12 zizaala n’ento 50. Embizzi zange ento nzitunda wakati wa 100,000/- ne 150,000/- ku mwezi esatu nga buli mwezi ntunda embizzi 15 ku 20 ate ayagala ey’eggwako ya kakadde.

Embizzi zange zigulibwa nnyo kuba abalunzi bangi abazettanira olw’olulyo lwazo ate ng’abajja wano okuzigula mbasomesa n’okubawa amagezi ku ndabirira y’embizzi ennungi okulaba nga bazifunamu.

Embizzi zange nzikuuma nga nnyonjo, nziwa eddagala ly’ebiwuka, okuzinaaza n’okwoza ebiyumba buli lunaku era nasima ebinnya amazzi gonna agava mu biyumba mwe gakuhhanira nga tegannatwalibwa mu lusuku.

EMMERE

Emmere y’embizzi n’enkoko ngyetabulira okukakasa nti zifuna ekiriisa ekisaanira era buli mutendera gwe zituukako emmere ngitabula mu ngeri ya njawulo okusinziira ku biriisa ebyetaagisa era nga ngitereka mu sitoowa gye nazimba okukakasa nti teyonooneka.

Mu ngeri y’emu, nkakasa nga sirina kye nnyonoona ku ffaamu era buli kye nnunda n’okulima kirina engeri gye kiriikiriza ekirala. Kasooli gwe nnima, gwe nkuba okutabula emmere y’enkoko n’embizzi ate ebikongoliro n’ebisoolisooli ne bibikka olusuku.

Kalimbwe n’obusa bye nzigya mu nkoko n’embizzi, mbitwala mu nnimiro ng’ebigimusa ate emigogo n’endagala gy’entemako amatooke mbiwa embizzi ng’emmere ne mbeera nga buli kimu kiriisa kinakyo.

FAMIRE OKWENYIGIRAMU

Muky. Priscilla Matovu, omusawo w’abantu ng’akolera Wakiso, agamba nti yasalawo okwegatta ku bba okutwala ffaamu mu maaso oluvannyuma lw’okukizuula nti mu bulimi n’obulunzi mulimi ssente ekiseera kyonna.

“Bwe tubeera tukola, bakama baffe batukubiriza okubaako ekintu ekirala ekituwa ssente kye tuba tutandika.

Wadde nga basawo bannange abasinga balowooza kutandika bulwaliro, nze nasalawo okwegatta ku baze kuba obulimi n’obulunzi bulimu ssente, mulimu ogusobola okukolebwa abaana, gumpummuza ebirowoozo ne nzira ku mulimu gw’obusawo nga nina ebirowoozo ebikkakkamu”, Muky. Matovu bw’agamba.

Ono agamba nti ng’oggyeeko ye, abaana bonna beenyigira mu mulimu guno ng’abali mu matendekero ga waggulu buli wiikendi bajja ate mu luwummula bonna babeerako kye bakola nga kino kikoleddwa okubakuza nga balina obulimi n’obulunzi mu bulamu bwabwe.

Matovu agamba nti alina abakozi 16 nga ku bano mukaaga basula ku ffaamu era n’okubalabirira kwonna kwe bakufunira omuli ebyokulya, obujjanjabi n’ebirala.

“Abakozi bano bonna mbaggya mu kyalo kino okuyamba naddala abavubuka okufuna emirimu kuba mbasasula.

Abakozi abalala 10 bakola mu nnimiro nga bava waabwe ate abalala mbasasula okusinziira ku kye bakoze kuba oluusi mpeza abakozi 30”, Matovu bw’agamba.

Ng’oggyeeko okufuna emirimu, abantu bangi abajja ku ffaamu okuyiga okulunda enkoko n’embizzi ate abalala ne bayiga okulima olusuku era bangi batandise okussa mu nkola bye basomye.

eetabulira emmere yenkokoYeetabulira emmere y’enkoko.

 

EBITABO

“Nze buli kamu akali ku ffaamu yange nkawandiika okusobola okumanya engeri ffaamu gy’etambulamu okutandikira ku bye ntunda, bye ngula okumanya ennyingiza n’ensaasaanya era nnina lisiiti zonna.

Mu ngeri y’emu mpandiika buli nkyukakyuka ebeera ku ffaamu gamba embizzi nga ziwase oba okuzaala, lwe nnyingiza enkoko, okuzigema, okutandika okubiika, ezifudde, lwe nsimbye, okukoola, amakungula lwe gatandise n’enkyukakyuka yaago.

Kino kimu ku binnyambye okukakasa nti ffaamu nsobola okugiteekerateekera n’okumanya entegeka y’ebiseera by’omu maaso okusobla okwongera okugifunamu.

OKUSOOMOOZEBWA

Okusoomoozebwa kwe tulina okusinga kyeya kuba omusana bwe gwaka oguyitiridde tufiirizibwa ekisusse.

Eno y’ensonga lwaki nfubye okusima ebidiba okufuna amazzi kyokka ssinga Gavumenti n’abagabirizi basobola okutufunira tulakita esima gamba n’essibwa ku ggombolola olwo abalimi abaagala okusima ne tugifunira awo.

Ensigo n’ebikozesebwa ebirala eby’ebicupuli bitufiiriza. Omwaka oguwedde aba Wealth Creation baatuwa ensigo za kasooli kyokka zonna tezaamera. Nasalawo okutandika okwekolera ensigo ze mpaako n’abalimi abalala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mukiibi1 220x290

Polofesa Lawrence Mukiibi afudde...

Polofesa Lawrence Mukiibi abadde akulira amasomero ga St. Lawrence schools afudde

Annet10 220x290

Okusabira omwoyo gw'omugenzi Kaweesi...

Okusabira omwoyo gw'omugenzi Kaweesi e Namugongo

Whatsappimage20170528at35703pm 220x290

Okuzza omulambo gwa Ivan Ssemwanga...

Gibadde miranga na kwazirana ng'omulambo gwa Ivan Ssemwanga gutuusibwa ku kisaawe Entebbe.

Nekesa2 220x290

Uganda nnene kwenkana wa omwabulira...

Nsisimuka ekiro ne ndowooza omwana wange Annet okufa nga embwa n’abulako n’awondera!

Njaga1 220x290

Omutunzi w'enjaga akwatiddwa ng'agitundira...

Ono abadde y’ettika enjaga ye okuva ku kyalo Wampala gyasula nagiretera ku bodaboda ne nnyama ye olwo nagitundira...