TOP
  • Home
  • Ebyobulimi
  • Omulimi Umaru Ddumba ng’alaga engeri kasooli we gyya’iiriddwaamu akawuka.

Omulimi Umaru Ddumba ng’alaga engeri kasooli we gyya’iiriddwaamu akawuka.

By Musasi wa Bukedde

Added 10th April 2017

“Natandika okukafuyira eddagala nga kasooli wa wiiki bbiri nga mmanyi nti bwe buno obulwadde obwa bulijjo. Wabula buli ddagala lye nkozesezza ligaanye okukola, tugenda kufa enjala,” bwe yennyamidde.

Busaanyi1 703x422

Omulimi Umaru Ddumba ng’alaga engeri kasooli we gyya’iiriddwaamu akawuka.

Bya AMON MUKASA

AKAWUKA akalya kasooli keeyongedde okusensera emisiri e Mukono, emitima ne gibeewanika olw’okukozesa eddagala okukafuuyira kyokka ne litakola.

Embeera eno esinze kulabika mu ggombolola y’e Nabbaale naddala ku byalo Gonve, Kaabawala, Makukuba, Kizima, Nakanyonyi, Bukooza, Kakinzi n’ebirala akasaanyi gye kasaanyizzaawo emisiri gya kasooli.

Engeri akawuka gye kaliddemu kasooli mu kitundu kino evuddeko abakugu mu byobulimi okuva ku disitulikiti e Mukono ne mu minisitule y’ebyobulimi okutuukako mu kitundu.

Hajji Umaru Ddumba, omulimi ku kyalo Makukuba, omu ku basinze okukosebwa akawuka kano olwa yiika za kasooli 12 ze kaasaanyizzaawo yategeezezza abakugu nti buli kika kya ddagala ky’abadde akozesa okufuuyira akawuka tekimuyambye.

“Natandika okukafuyira eddagala nga kasooli wa wiiki bbiri nga mmanyi nti bwe buno obulwadde obwa bulijjo. Wabula buli ddagala lye nkozesezza ligaanye okukola, tugenda kufa enjala,” bwe yennyamidde.

Fred Mukulu, akulira ebyobulimi e Mukono yategeezezza nti akawuka kano kayitibwa Hummer, kalinga kasaanyi era nga kaalulwa akawojjolo akabiika amagi oluvannyuma ne kaalula ne katandika okulya.Yalabudde nti keekweka mu lulimi lwa kasooli nga kalya mu biseera ng’enjuba emaze okugwa okutuusa ku makya ku ssawa nga 12:30 ng’enjuba tennaba kuvaayo.

“Mulina okwegendereza n’eddagala lye mufuuyira kuba erisinga terikatta.

Eddagala lya Dudu-Fenos 440 likola era bw’obeera oligula weegendereze kuba waliwo ebicupuli naye lino liriko ekigambo Dudu-Fenos 440 Profenotos 400gms ne Cypermethrin 40mg. Mufuuyire ng’enjuba emaze okugwa ne ku makya ng’enjuba tennaba kuvaayo,’’ bwe yannyonnyodde.

Omwogezi wa Minisitule y’ebyobulimi, Consolata Acayo yategeezezza nti akawuka kano kati kasensende Disitulikiti 50 mu Uganda n’amawanga ga Afrika 10 omuli ne Kenya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

C111a580e9174d5997f3a6a40439e2b818 220x290

Raila Odinga addukidde mu kkooti...

RAILA Odinga yeefukuludde n’addukira mu kkooti ensukkulumu okuwakanya obuwanguzi bwa Uhuru Kenyatta ku bwapulezidenti...

Yaga 220x290

Omusajja ayagala kunzigyako mwana...

NZE Uwineza Adiah nnina emyaka 26 nga mbeera Lubaga. Okuva lwe nafuna olubuto, baze yagaana okuddamu okundabirira...

Ssenga1 220x290

Nina bulwadde ki?

NINA emyaka 25 naye seegattangako na mukazi yenna kuba buli lwe ngezaako okwegatta nkoma ku mulyango ne njiwa....

Leka 220x290

Owapoliisi yesse lwa bwavu

OMUSERIKALE wa poliisi eyawummula, Robert Mugume asangiddwa nga yeetuze.

Kadi2 220x290

Kadaga awabudde ku bbula ly'emirimu...

SIPIIKA Rebecca Kadaga ategeezezza nti ebbula ly’emirimu mu bavubuka ky’ekimu ku bisinze bikwatagana butereevu...