TOP

Ekibalo ky’embuzi okuzifunamu amagoba

By Herbert Musoke

Added 15th May 2017

Embuzi ng’ekika kya Numbian, esobola okukuwa liita bbiri olunaku kyokka olw’okuba twagala abaana abalungi, tuggyamu liita emu naye engeri gye tulina ennyingi tusobola okufuna liita 10 olunaku nga tukama ku makya kwokka.

Mbuzi1 703x422

Ggobango ng’aliisa embuzi ze.

KKAMPUNI ya Vision Group efulumya Bukedde, ekwataganye ne bbanka ya DFCU, ekitebe kya Budaaki mu Uganda ne kkampuni y’ennyonyi eya KLM okunoonya omulimi n’omulunzi asinga mu Uganda omwaka gwa 2017. Abanaavuganya mu mpaka zino mujja kutuweereza amannya gaabwe ku omulimiasinga@newvision.co.ug oba 0752628931 tubatuukirire tubawandiikeko buli Mmande.

HEBERT MUSOKE leero aleese Ismail Ggobango ow’e Ddamba mu ggombolola y’e Muduuma ng’alaga ekibalo ky’okufuna amagoba mu mbuzi.

OKULUNDA embuzi kimu ku bintu Bannayuganda bye banyooma nga balowooza temuli ssente.

Wabula Ismail Ggobango Kakungulu 29, omulunzi w’embuzi n’okulima obutunda e Ddamba - Kibumbiro mu ggombolola y’e Muduuma mu disitulikiti y’e Mpigi agamba nti endowooza eno nkyamu kuba embuzi bugagga bwennyini!

Ono agamba nti omuntu ayagala okufuna mu mbuzi olina okuzirunda nga bizinensi ng’oziwa obudde okuzitegeera n’okuzirowooleza ekiseera kyonna omuli okulonda olulyo olulungi, okuzijjanjaba, okuziriisa obulungi, okukuuma obuyonjo n’ebirala.

“Embuzi nnyangu za kulunda, zifuna kuba ente ennansi erya kkiro 30 ku 40 olunaku ate embuzi erya kkiro ssatu zokka.

Ssinga ofuna olulyo olulungi embuzi esobola okuzitowa okutuuka ku kkiro 60 ate n’ente ennansi era ebeera mu kkiro ezo era n’egula bbeeyi y’emu n’embuzi kuba ezange nzitunda ddoola 200 (eza wano 700,000/-) ku myezi mukaaga”, Kakungulu bw’annyonnyola.

 ngero gobango gye yazimbamu ebiyumba byembuzi Engero Ggobango gye yazimbamu ebiyumba by’embuzi

 

ATANDIKA OKULIMA N’OKULUNDA

Natandika nga njagala kulima butunda kuba nalimako akatunda nga nkyali ewa jjajja e Masaka akaakola obulungi ddala.

Ettaka lino yiika munaana nazigula nga njagala kussaawo kisaawe n’ebisulo by’abaana abasambi b’omupiira be ntendeka n’okuyambako kyokka nga ssente ez’okutambuza n’okuyimirizaawo ttiimu siziraba kwe kusalawo okutandika okulima era ebiriwoozo byagenda ku butunda.

Wabula ettaka lino lya luyinja, kyali kinneetaasa ebigimusa kya nnakavundira ebyali eby’obuseere nga kigenda ku mbeerera kizibu okufuna mu bulimi bwe nali njagala okuyingiramu kuba bwe nabuuza obusa bw’ente ng’akamotoka ka ELF, bakatunda 150,000/- n’entambula ya 50,000/- okutuuka ku ffaamu ate nga kinneetaagisa obumotoka 10 emirundi esatu omwaka.

Nasalawo okutandika okulunda embuzi kuba zino nakizuula nga zirya kitono, zikula mangu, zirina akatale kyokka ng’ekisinga obusa bwazo bukola bulungi nnyo ekigimusa okusinga obw’ente.

Natandika n’embuzi Enzungu 10 nga buli emu nagigula 500,000/-.

Mu kiseera kino nfuna obusa bye nali neetaaga kuba buli wiiki bbiri nfuna ka ELF ak’obusa bwe nkozesa okuliikiriza obutunda bwange ne bumpa kiralu!

EMBUZI

Mu kiseera kino nnina embuzi 78 zonna okuva ku nto okutuuka ku nkulu.

Gye buvuddeko katono naakatunda embuzi ennume 15 ku ddoola 200 (eza wano 700,000/-) buli emu ne nfuna 10,500,000/-. Zino maleeto ez’ekika kya Tennessee.

Edda zaabanga mbuzi za mu nsiko, Abazungu baakolamu embuzi gye bayita Texmaster. Zikula mangu ate ekuwa amata n’ennyama.

Ebika ebirala mulimu; Toggenburg okuva mu Sweden, Senene, Angola, Nubian ne Gloria.

Abantu abasinga tebatunuulira nnyo mbuzi ng’ekintu ekisobola okuvaamu ssente naye ng’ate zirimu ssente empitirivu ssinga omanya ekibalo kyazo.

Okugeza ssinga olunda embuzi ennansi, n’obeera n’embuzi 25, zikuwa embuzi 100 omwaka.

Ssinga buli kabuzi okatunda 100,000/- kitegeeza nti ofuna obukadde 10.

Ate bw’obala Enzungu bw’obeera toguzizza mulunzi abagula olulyo n’oguza asala ennyama, ku mwaka ebeera mu kkiro 25 ku 40, embuzi 25 zikuwa embuzi 10o n’okusobamu kuba waliwo ezizaala abaana abasatu oluzaala, mu mwaka bw’otunda embuzi 100 ku 250,000/- ofuna obukadde 25.

Nze nsinga kutunda mbuzi nnume eri abaagala okufuna olulyo olwa maleeto. Ntunda buli luvannyuma lwa myezi mukaaga nga nsobola okutunda embuzi 18 ku 20 nga buli emu ku ddoola 200.

Nfunamu n’amata kuba malungi nnyo gakola nga ddagala kuba galimu ebirungo bya Zinc, Iron n’ebirala.

Embuzi ng’ekika kya Numbian, esobola okukuwa liita bbiri olunaku kyokka olw’okuba twagala abaana abalungi, tuggyamu liita emu naye engeri gye tulina ennyingi tusobola okufuna liita 10 olunaku nga tukama ku makya kwokka.

Embuzi zino era zimpa obusa nga buno mbukozesa okulima obutunda n’olusuku kuba nze ndi ku mayinja n’ebinnya mbisimisa nsuuluulu. Buli wiiki nfuna ka loole nga kano bwe nkaguza abalima obutungulu, enva endiirwa n’ebirala kaloole ELF kali wakati wa 300,000/- ne 500,000/- ate olina okutubuulira mu budde.

ENDABIRIRA

Embuzi zange nazizimbira ekiyumba kye nakubisa amakooko era zisula waggulu kuba obunnyogovu bwa wansi buzireetera okulwala obulwadde bw’okukaluubirizibwa okussa olw’empewo olwo ne nziteerawo we ziriira n’okunywera.

Ekiyumba kino nkirongoosa buli lunaku okukakasa nga nkuuma obuyonjo.

Kino era kituyamba okulunda embuzi nnyingi mu kafo katono kuba ekiyumba kyange kya ffuuti 30X15 kyokka mugendamu embuzi eziwera 150.

Zino tuzitemeratemera ebisagazi, ekimyula, ebigogo n’omuddo omulala kuba ekirungi ku mbuzi tezisosola.

Wabula olw’okuba ettaka liweddewo, nina enteekateeka z’okusimba yiika y’omuddo gwe ngenda okuliisa embuzi zange.

 gobango ngakebera embuzi ye eyolulyo Ggobango ng’akebera embuzi ye ey’olulyo

 

OBUTUNDA

Mu 2015 natandika okulima obutunda ne yiika emu. Mu kutandika nasaasaanya ku bikondo, akatimba n’abakozi kuba endokwa nazeekolera kuba mu kiseera ekyo nga buli ndokwa ya 3,000/- ate nali njagala katunda kannansi.

Wano nagenda ewaffe e Masaka ne ngulayo ekitundu ky’ekkutiya y’obutunda ku 400,000/- ne neesimbira obwange kuba nalaba ng’endokwa zigenda kuntwalako obukadde nga 9.

Endokwa z’obutunda zisobola okumala mu nassalebeedi emyaka ebiri nga zirina ebikoola bibiri olwo bw’ozisimba obutunda bwo bumala omwaka gumu gwokka ne bukutuka.

Obutunda bwange buli kinnya nsimba obutunda busatu. Kino tukikola kuba obutunda tebuwangaala noolwekyo wano mbeera nfunamu okusinga asimba ekikolo ekimu.

Okugeza ssinga buli kikolo kibeera kya kukuwa obutunda 30, kitegeeza buli kikolo nfunamu obutunda 90.

Mu ngeri y’emu ssinga ekikolo ekimu kifa, osigazaawo ekirala mu kifo ky’okulekawo ebbanga nga wano tusimba ffuuti 5X5 kuba akatunda akannansi (Masaka) keetaaga bbanga ttono.

Mu kiseera kino nina yiika nnya ez’obutunda nga nkungula mu ssatu era sizoni ewedde nafunamu ddoola 10,000 (Obukadde 36).

Wabula olw’omusana omungi nasaasaanya nnyo okufukirira obutunda bwange bwe nalaba pulezidenti Museveni ng’asindika amazzi ku kagaali okufukirira ebitooke bye nange ne ntandika okugasombera mu mmotoka yange ekika kya Probox era nasaasaanya obukadde 15.

 ga bakuba ekikoola mu butunda bwabwe Nga bakuba ekikoola mu butunda bwabwe

 

ABAKOZI

Sirina bakozi bankalakkalira, emirimu egisinga tugyekolera ne mukyala wange n’abaana baffe.

Wabula mu biseera ebimu emirimu we gibeerera emingi naddala okulima mu butunda n’okukuba ekikoola, tufunayo abakozi be tusasula 30,000/- buli omu olunaku.

Bakolera wiiki bbiri, kino tukikola buli luvannyuma lwa myezi 2 oba 3.

Buli kye nkola nkikola ne famire yange naddala mukyala wange Aidah Nabbuto n’abaana bange kuba mutabani wange omukulu alina emyaka 10 naye amanyi okukuba embuzi empiso, okuziwa omuddo n’ebirala.

Abaana bange bonna mbakuzizza nga bamanyi omugaso gw’okulima n’okulunda kuba nabo balina ebyabwe bye balunda ng’obumyu.”

 katunda nga kabaze Akatunda nga kabaze

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

No Matching Document

Emboozi endala

Ivannamirembendijjo19 220x290

Ssemwanga aweerezza Buganda n'omutima...

Charles Bwenvu, minisita wa Kabaka omubeezi ow’ensonga za Buganda ebweru, yategeezezza nti Ssemwanga yawaako Obwakabaka...

E0a830087c06467f84a8750da60b2ba9 220x290

Entaana ya Ssemwanga ewedde okuyooyootebwa:...

Ekiri e Kayunga: Entaana ya Ssemwanga ewedde okuyooyootebwa, abakungubazi bakyesomba okwetaba mu kuziika

Kayungadorahnajjembamukiragalanessengawassemwangacissynakiwalangabakaaba 220x290

Ebyabaddewo ng'omulambo gwa Ssemwanga...

Ebyabaddewo ng'omulambo gwa Ssemwanga gutuusibwa ku biggya e Kayunga: Biwoobe

Pala 220x290

Ebyobugagga bya Ssemwanga biwuniikirizza...

Rashid Nsimbe, avunaanyizibwa ku mutindo gw’ebisomesebwa mu masomero ga Ssemwanga, yategeezezza nti mu byobugagga...

Semwanganamirembe30 220x290

Omugagga Kirumira addiza omuliro...

Omugagga Godfrey Kirumira olwakutte omuzindaalo n’akoma ku booluganda lwa Ssemwanga babikke ku mpisa zaabwe ensiiwuufu...