TOP

‘Mwongere omutindo ku bye mulima’

By Musasi wa Bukedde

Added 17th July 2017

AKULIRA ebibiina by’obwannakyewa mu disitulikiti y’e Buikwe Muhammad Gita, akubirizza abalimi okwongera amaanyi mu kulima n’okujjumbira emisomo n’emyoleso olwo lwe bajja okusobola okutuukiriza ebigendererwa byabwe mu kulima n’okukungula ekiwera.

Pa 703x422

Samuel Kabuye, ku ddyo ng’alaga abalimi ezimu ku nsujju ze basimba.

Bino yabyogeredde mu mwoleso ogwategekeddwa ku ssomero lya Kikuba P/S ku kyalo Kizigo mu Buikwe gye buvuddeko nga gwamaze ennaku bbiri ng’abalimi boolesa ebintu eby’enjawulo wansi w’omulamwa, ‘Okugatta omutindo ku birime ly’ekkubo erireeta ssente mu bulimi’.

Gwetabiddwaamu abantu ssekinnoomu n’ebibiina eby’enjawulo okwabadde n’ekya Harvest Plus, Pumpkin Growers Association, Nina Olugero n’ebirala.

Bano baaleese ebirime eby’enjawulo okuli emicungwa, emiyembe, amapeera gattako abaayolesezza ensujju, lumonde, amatooke nga bonna batambulira ku mulamwa gumu gwa kugattako mutindo okusobola okufuna akatale akalungi ate nga kagazi.

Akulira ekitongole kya Nnina Olugero Foundation ekyakuliddemu okutegeka omwoleso guno, Samuel Kabuye, yagambye nti ekizibu ekiriwo kati balimi kwongera maanyi mu kugattako omutindo ku bye balima kuba akatale kati tekakyali kizibu wano mu Uganda n’ebweru.

N’awa ekyokulabirako ky’omuntu alima ensujju okusinga okugitunda nga nnamba asobola okugikaza ate n’ensigo n’azigattako omutindo n’afunamu ssente sinnakindi okuzikolamu wayini olwo n’afunamu ekiwera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mail 220x290

Muganda w’omubaka eyafa e Iganga...

ABAKYALA munaana be beesoweddeyo okuvuganya ku kifo ky’omubaka omukazi owa Iganga.

Nrmnabiserejenniferlynn 220x290

Aba NRM ababeera ebweru bakoze...

ABA NRM ababeera mu mawanga g’ebweru bakyusizza mu bakulembeze baabwe ne balonda ssentebe w’ettabi lyabwe e Misiri...

Unit 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUTAANO YAFULUMYE...

Mulindwa Muwonge alese ebiragiro 6 ebikakali ebitabudde abakungubazi n’abooluganda. Bato ba Zari boogedde ekisse...

Ziika9 220x290

Mulindwa Muwonge aziikiddwa wakati...

Mulindwa Muwonge aziikiddwa wakati mu biwoobe n'okwazirana okuva mu bannamwandu, abaana n'abooluganda.

Zika3 220x290

Nnyina wa Mulindwa Muwonge ayogedde:...

Nnyina wa Mulindwa Muwonge, Maria Namagembe akungubagidde mutabani we era akumye olumbe mu makaage agasangibwa...