TOP

Okwongera omutindo ku birime kunzizizza engul

By Musasi wa Bukedde

Added 31st July 2017

Nimidde Vanilla emyaka 15 kyokka ensimbi ezivaamu ntono naye simusaawa, nkimanyi nti waakiri bbeeyi ye esinga ku y’ebirime ebirala.

Vanilla2 703x422

Kaggwa ne mukyala we mu vanilla waabwe.

KKAMPUNI ya Vision Group efulumya Bukedde, ekwataganye ne bbanka ya DFCU, ekitebe kya Budaaki mu Uganda ne kkampuni y’ennyonyi eya KLM okunoonya omulimi n’omulunzi asinga mu Uganda omwaka gwa 2017.

Abanaavuganya mu mpaka zino mujja kutuweereza amannya gaabwe ku omulimiasinga@newvision.co.ug oba 0752628931 tubatuukirire tubawandiikeko buli Mmande.

PADDY NSOBYA leero aleese David Kaggwa ow’e Busagazi ng’alaga ebirungi ebiri mu kwongera omutindo ku birime.

 OKUZIMBA obukolero obutono obwongera omutindo ku birime kye kimu ku biyambye abalimi b’e Buikwe okwongera ku nnyingiza yaabwe.

David Kaggwa ow’e Busagazi mu ggombolola y’e Buikwe mulimi ate azimbye ekyuma ekyongera omutindo ku by’alima. Agamba nti enkola eno ey’okutega ebiri emuyambye okweggya mu bwavu.

“Nima Vanilla, muwogo, n’omuwemba era bino bye birime mwe nzigya ensimbi.

Nimidde Vanilla emyaka 15 kyokka ensimbi ezivaamu ntono naye simusaawa, nkimanyi nti waakiri bbeeyi ye esinga ku y’ebirime ebirala.

kyuma aggwa kye yaguze okusunsula ebirimeEkyuma Kaggwa kye yaguze okusunsula ebirime.

 

Kati mpeza yiika ya vanilla. Mu mbeera eno Katonda mwatuyambidde omutindo ne gusituka, bbeeyi n’eddamu n’erinnya ne tufuna ensimbi okubaako ke twekolera okuggya obulimi ku ddaala ery’okulima obulimi, okubutuusa ku kwongera omutindo ku bye tulima.

Kuva dda nga ndi mulimi, naye nga bye nnima tebijja oba oluusi ng’akatale kabula ebirime ne mbitunda ddondolo.

Nalimanga kasooli, muwogo lumonde, n’ebirala. Mu 2002 nasalawo okubaako ekirime kimu ekivaamu ensimbi kye neesibako. Nasalawo okutandika okulima vanilla.

Vanilla yali tannakula, bbeeyi n’egwa nnyo muli ne mpulira bubi o kyokka saamusaawa olw’abantu abaatugumya nti bbeeyi yali ejja kuddamu okulinnya.

Ku kulima vanilla nayongerako okulima omuwemba n’emmere ey’okulya n’okutunda naddala muwogo anti vanilla taliibwa ate takulirawo.

Ekyalo kyaffe eky’e Busagazi kiri wala n’ebibuga nga Lugazi omuli amasannyalaze omusobola n’okubeera n’ebyuma ebyongera omutindo ku birime.

Abantu baali beetaga ebintu bino kyokka nga babiggya lugendo ate nga ndaba obuwunga bwa ssente nnyingi. Nasalawo okuyiiya nfune ssente nzimbe akuuma k’obuwunga naye ne zimbula, okutuusa jjuuzi omutindo gwa vanilla lwe gusituse ne nfuna ssente omulundi gumu 35,000,000/- ne ngula ekyuma.

Ku kyalo tetulina masannyalaze naye tukozesa mafuta. Muwogo n’omuwemba kati mbikubamu obuwunga ne ntunda.

Abalimi ba kasooli ku kyalo nabo kati nze mbakubira obuwunga.

Tukuba kasooli, muwogo, soya, omuwemba n’obulo bwe wabaawo abulina. Buli kkiro tugikubira 200/-.

Omwezi nkola 900,000/- ku kyuma kino okukubira obukubizi abalimi abalala obuwunga mu birime byabwe.

Ensawo ya kasooli ngikubira 20,000/-. Kino tekimalaawo na liita ya mafuta eya 4,000/- eno. Mu lukungula lwa vanilla oluddako, ngenda kutandika okupaakinga obuwunga bwa muwogo n’omuwemba.

 aggwa muwogo amukaza namukuba mu kyuma Kaggwa muwogo amukaza n’amukuba mu kyuma.

 

Vanilla annyambye nnyo okusobola okwongera omutindo ku bye nnima ate ne balimi bannange bye balima ku kyalo.

Omutindo gwa vanilla Vanilla asobodde okutubbulula lwa mutindo. Omutindo kw’alimirwa ne kwakungulirwa bye bivaamu vanilla omulungi. Vanilla kirime kirimirwa mu mbeera ya kibirabira. Tayagala nnyo musana mungi.

Nsimba emituba n’emikookoowe mu nnimiro nga giwadde amabanga ga ffuuti 40x40. Vanilla ye musimba mu mabanga ga ffuuti 10x10. Embowabowa nsimba za ffuuti mukaaga obuwanvu.

Vanilla taliira wansi wabula emirandira giriira kungulu. Ennimiro terimibwa muddo kuggwaamu kuba omusana gusobola okwokya emirandira.

Omuddo tukuula mukuule na ngalo. Vanilla atandika okubala ku myaka esatu. Vanilla tafuuyirwako ddagala lyonna okutta ebiwuka ate ennimiro yeegimusa yokka n’omuddo n’ebikoola ebiva ku mituba n’emikookoowe.

Bw’okozesa ebigimusa ebirala oyinza okutta omutindo.

Sizoni ewedde nakungula kkiro 100 n’omusobyo, buli kkiro ne ngitunda 250,000/- mu ba Uganda Vanilla.

Ssente zino ze zinnyambye okuzimba ekyuma okwongera omutindo ku birime byange ebirala, ne ngula n’ettaka okusobola okugaziya ennimiro.

Obuzibu bwa vanilla obuzibu bwa vanilla obusinze obunene be babbi.

 anilla akaziddwa Vanilla akaziddwa.

 

Embowabowa bazikandula kuba kati buli lumu lugula wakati wa 7,000/- ne 10,000/-. Vanilla yennyini basooba ne bayingira mu ssamba ekiro ne bamubba.

Aba UVAN baatuyambako okutuwa obukuumi naye twagala ne Poliisi eyongeremu amaanyi okutuwa obukuumi.

Banzibako kkiro 200 ne nfiirwa era tebabeera ba UVAN kutudduukirira kutuwa bakuumi sandikuttemu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Yaga 220x290

Omusajja ayagala kunzigyako mwana...

NZE Uwineza Adiah nnina emyaka 26 nga mbeera Lubaga. Okuva lwe nafuna olubuto, baze yagaana okuddamu okundabirira...

Ssenga1 220x290

Nina bulwadde ki?

NINA emyaka 25 naye seegattangako na mukazi yenna kuba buli lwe ngezaako okwegatta nkoma ku mulyango ne njiwa....

Leka 220x290

Owapoliisi yesse lwa bwavu

OMUSERIKALE wa poliisi eyawummula, Robert Mugume asangiddwa nga yeetuze.

Kadi2 220x290

Kadaga awabudde ku bbula ly'emirimu...

SIPIIKA Rebecca Kadaga ategeezezza nti ebbula ly’emirimu mu bavubuka ky’ekimu ku bisinze bikwatagana butereevu...

Dhyljrxcaaw1zm 220x290

Museveni asisinkanye minisita wa...

MINISITA wa German ow’ensonga z’ebweru asisinkanye Pulezidenti Museveni n’asaba amawanga g’ebweru okuyamba Uganda...